ESSOMO 29
Eddoboozi Eddungi
BY’OYOGERA si bye byokka ebireetera abantu okukwatibwako, naye era n’engeri gy’obyogeramu. Tewandyagadde okuwuliriza omuntu ayogera mu ddoboozi eddungi, eryoleka omukwano n’ekisa, okusinga oyo ayogera mu ddoboozi eryoleka obutafaayo oba obukambwe?
Omuntu okusobola okubeera n’eddoboozi eddungi, tekyesigama ku ngeri gy’ayogeramu kyokka, naye era ne ku ngeri ze. Omuntu bwe yeeyongera okumanya ebiri mu Baibuli era n’abissa mu nkola, enkyukakyuka zaakola zeeyolekera ne mu ngeri gy’ayogeramu. Eddoboozi lye lisobola okwoleka engeri ng’okwagala, essanyu n’ekisa. (Bag. 5:22, 23) Bw’aba ng’alumirirwa abalala, ekyo kijja kweyolekera mu ddoboozi lye. Omuntu bw’aba ng’asiima abalala, ebigambo by’ayogera n’eddoboozi ly’akozesa, bijja kukyoleka. (Kung. 3:39-42; 1 Tim. 1:12; Yuda 16) Ne bw’oba ng’olulimi olwogerwa tolutegeera, tekiyinza kukubeerera kizibu kulaba njawulo eriwo wakati w’omuntu ayogeza amalala, atafaayo ku balala, avumirira era ayogeza obukambwe, n’omuntu ayogera mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala.
Oluusi, omuntu okuba n’eddoboozi ebbi kiyinza okuba nga kyava ku bulwadde oba ku kizibu ekirala kye yazaalibwa nakyo. Ekizibu ng’ekyo kiyinza okuba nga kya maanyi nnyo era nga tekiyinza kumalibwawo mu nteekateeka y’ebintu eno. Kyokka, eddoboozi lye liyinza okulongookamu, bw’ayiga okukozesa obulungi ebitundu by’omubiri ebimusobozesa okwogera.
Okusooka, kikulu okutegeera nti amaloboozi g’abantu gaawukana. Tosaanidde kukoppa ddoboozi lya muntu mulala. Wabula, fuba okulongoosa eriryo. Kiki ekiyinza okukuyamba okukola ekyo? Waliwo ebintu bibiri ebikulu.
Ssa Bulungi. Eddoboozi lyo okusobola okuvaayo obulungi, weetaaga omukka ogumala era n’okussa obulungi. Bwe kitaba kityo, liyinza obutavaayo bulungi, era by’oyogera ne bitategeerekeka bulungi.
Ekitundu ekisinga obunene eky’amawuggwe tekiri waggulu mu kifuba; amagumba g’ebibegabega ge galeetera ekitundu kino ekya waggulu okulabika ng’ekinene. Wabula ekitundu ky’amawuggwe ekiriraanye ekisembe, kye kisinga okuba ekinene. Ekisembe kyekutte ku mbiriizi eza wansi, era kye kyawula ekifuba ku lubuto.
Singa osika omukka n’ojjuza ekitundu ky’amawuggwe ekya waggulu kyokka, tojja kusobola kussa bulungi. Eddoboozi lyo terijja kuba lya maanyi, era ojja kukoowa mangu. Okusobola okussa obulungi, olina okutuula oba okuyimirira obusimba. Bw’oba osika omukka, fuba okulaba nti togaziyaako kitundu kya waggulu eky’ekifuba kyokka. Sooka ojjuze ekitundu ekya wansi eky’amawuggwe go. Ekitundu ekyo bwe kimala okujjula, embiriizi zo eza wansi zijja kugaziwa eruuyi n’eruuyi. Mu kiseera kye kimu, ekisembe kijja kukka wansi, mpolampola kisindike olubuto era ojja kuwulira ng’omusipi oba engoye z’oyambadde nga zeeyongera okukunyweza. Wadde owulira bw’otyo, amawuggwe tegali mu lubuto wabula gali mu mbiriizi. Okusobola okukakasa kino, teeka omukono gwo ku mbiriizi zo eza wansi. Kati sika omukka mungi. Bw’ogusika mu ngeri ennungi, olubuto terujja kudda munda era n’ebibegabega tebijja kusituka. Wabula, ojja kuwulira ng’embiriizi zo zisitukamu katono ate ne zigaziwa.
Bw’omala ekyo, kola ku ngeri y’okufulumyamu omukka. Omukka togufulumiza ku sipiidi. Gufulumye mpolampola. Tosiba binywa bya mu mumiro. Ekyo kijja kuviirako eddoboozi lyo obutaba ddungi. Ebinywa by’omu lubuto n’eby’omu mbirizi ebiba byereeze bye biwaliriza omukka okufuluma, ate kyo ekisembe ne kibaako kye kikola ku sipiidi omukka ogwo gye gufulumirako.
Ng’omuddusi bwe yeegezaamu nga yeetegekera embiro, n’omwogezi ayinza okuyiga okussa obulungi nga yeegezaamu. Yimirira busimba osike omukka osobole okujjuza ekitundu ekya wansi eky’amawuggwe go, mpolampola genda ng’ofulumya omuka mutonotono nga bw’obala okuva ku emu okugenda waggulu okutuuka nga tokyasobola. Ekyo nga kiwedde, weegezeemu okusoma mu ddoboozi ery’omwanguka nga bw’ossa mu ngeri y’emu.
Kkakkanya Ebinywa Ebyereeze. Ekintu ekirala ekikulu ekinaakusobozesa okubeera n’eddoboozi eddungi kwe kukkakkana! Kijja kukwewuunyisa okulaba enkyukakyuka z’onookola singa onooyiga okwogera ng’oli mukkakkamu. Bw’otokkakkana, ebinywa byo bijja kwereega.
Bw’obeera n’endowooza ennuŋŋamu ku abo abakuwuliriza, ojja kusobola okukkakkana. Bw’oba oyogera n’abantu mu buweereza bw’ennimiro, kijjukire nti omanyi ebintu bingi eby’omuganyulo ebikwata ku bigendererwa bya Yakuwa by’oyinza okubabuulira k’obe nga Baibuli waakagisomera emyezi mitono. Ate era kijjukire nti ogenze gye bali olw’okuba beetaaga okuyambibwa, ka babe ng’ekyo bakimanyi oba nedda. Ku luuyi olulala, bw’oba ng’owa emboozi mu Kizimbe ky’Obwakabaka, abasinga obungi ku abo ababa bakuwuliriza Bajulirwa ba Yakuwa. Mikwano gyo, era bakwagaliza birungi byerere. Teriyo boogezi balala ku nsi ababa n’ababawuliriza ab’omukwano nga ffe.
Fuba okulaba nti okkakkanya ebinywa byo eby’omu mumiro. Jjukira nti mu ddookooli lyo mulimu obububi obukankana omukka bwe gubuyitako. Ng’eddoboozi ly’endingidi bwe likyukakyuka singa omuntu aleega oba naalegulula akaguwa kaayo, bwe lityo n’eddoboozi ly’omuntu bwe likyukakyuka singa aleega oba akkakkanya ebinywa bye eby’omu mumiro. Obububi obuli mu ddookooli bwe buba nga tebwereeze, eddoboozi liba lya wansi. Ebinywa eby’omu mumiro bwe biba tebyereeze omukka guyita bulungi mu nnyindo era ekyo kiyinza okukusobozesa okwogera mu ddoboozi eddungi.
Laba nti omubiri gwo gwonna guli mu nteeko—amaviivi go, emikono gyo, ebibegabega byo, n’ensingo. Ekyo kijja kusobozesa eddoboozi lyo okuvaayo obulungi. Eddoboozi lyo lisobola okuwulikika obulungi singa ebinywa by’omubiri gwo biba tebyereeze. Ennyindo, ekifuba, amannyo, n’ekitundu ekya waggulu eky’omu kamwa byonna birina kye bikola ku ngeri eddoboozi gye liwulikikamu. Era ebitundu ebyo byonna biyinza okukuyamba okulongoosa eddoboozi lyo. Singa oteeka ekintu ekizito ku ggita, eddoboozi lyayo terijja kuvaayo bulungi. Era n’ebinywa by’omubiri ebyekutte ku magumba, bwe byereega, eddoboozi terisobola kuvaayo bulungi. Eddoboozi bwe liba nga livaayo bulungi, ojja kusobola okulikyusakyusa era n’okwogera ng’oyoleka enneewulira ez’enjawulo. By’oyogera bijja kusobola okutuuka ku bantu bangi abakuwuliriza nga tokangudde nnyo ddoboozi lyo.