OLUYIMBA 129
Tujja Kweyongera Okugumiikiriza
Printed Edition
	- 1. Yesu yayita - Mu kugezesebwa kungi; - Naffe tuyinza - ’Kugumiikiriza nga ye. - Teyaggwaamu maanyi; - Yagumiikiriza. - (CHORUS) - Okugumiikiriza - Kikulu nnyo ddala. - Katonda atwagala; - Tujja kumunywererako ddala. 
- 2. Wadde nga tuli - Mu bulumi bungi kati; - ’Maaso waliyo - ’Bulamu obweyagaza. - Tugumiikirize; - Tujja kubufuna. - (CHORUS) - Okugumiikiriza - Kikulu nnyo ddala. - Katonda atwagala; - Tujja kumunywererako ddala. 
- 3. Tetujja kutya - Wadde okubuusabuusa. - Tumaliridde - Okubeera abeesigwa. - Yo enkomerero - Eri kumpi ddala. - (CHORUS) - Okugumiikiriza - Kikulu nnyo ddala. - Katonda atwagala; - Tujja kumunywererako ddala. 
(Laba ne Bik. 20:19, 20; Yak. 1:12; 1 Peet. 4:12-14.)