ESSOMO 24
Okulonda Ebigambo
ENGERI emu enkulu gye tuwuliziganyaamu n’abalala kwe kukozesa ebigambo. Kyokka, ebigambo byaffe okusobola okubaako ekigendererwa kye bituukiriza, twetaaga okubironda n’obwegendereza. Ekigambo ekituukirawo mu mbeera emu kiyinza obutatuukirawo mu mbeera endala. Ebigambo bwe bitakozesebwa bulungi biyinza ‘okuleeta obulumi.’ Bw’otakozesa bulungi bigambo, kiba kyoleka nti tofaayo ku balala. Ebigambo ebimu birina amakulu ga mirundi ebiri, amakulu agamu nga geesisiwaza oba nga gafeebya. (Nge. 12:18; 15:1) Ku luuyi olulala, “ekigambo ekirungi,” kwe kugamba ekigambo ekizzaamu amaanyi, kisanyusa omutima gw’oyo gwe kigambiddwa. (Nge. 12:25) Omuntu ne bw’abeera mugezi atya, kiba kimwetaagisa okufuba okusobola okufuna ebigambo ebituufu eby’okukozesa. Baibuli etutegeeza nti Sulemaani yanoonya “ebigambo ebikkirizibwa” era ‘ebituufu.’—Mub. 12:10.
Mu nnimi ezimu, omuntu bw’aba ayogera n’abo abamusinga obukulu oba n’ab’obuyinza, waliwo ebigambo by’akozesa, ate bw’aba ng’ayogera n’abo bwe benkanya emyaka oba b’asinga obukulu alina ebigambo ebirala by’akozesa. Bw’atakola bw’atyo kiba kiraga nti talina mpisa. Ate era tekisaanira okweyogerako nga weewa ekitiibwa ekirina okuweebwa abalala. Ku bikwata ku kuwa abalala ekitiibwa, emitindo gya Baibuli gisingira wala nnyo amateeka g’abantu oba empisa z’omu kitundu. Baibuli ekubiriza Abakristaayo ‘okuwa buli muntu ekitiibwa.’ (1 Peet. 2:17) Abo abakolera ku kubuulirira kuno boogera n’abantu ab’emyaka gyonna mu ngeri eraga nti babawa ekitiibwa.
Kya lwatu, abantu bangi abatali Bakristaayo ab’amazima, bakozesa olulimi olubi. Bayinza okuba balowooza nti okukozesa ebigambo eby’engeri eyo kyongera amaanyi mu bye baba boogera. Ku luuyi olulala, okukozesa ebigambo ng’ebyo kiyinza okwoleka nti tebamanyiiyo bigambo bimala. Omuntu bw’aba nga yalina omuze ogw’okukozesa olulimi olubi nga tannayiga makubo ga Yakuwa, kiyinza okumuzibuwalira okulekayo omuze ogwo. Naye kisoboka okuguvvuunuka. Omwoyo gwa Katonda guyinza okuyamba omuntu okulongoosa mu ngeri gy’ayogeramu. Kyokka, omuntu ng’oyo ateekwa okuba omwetegefu okuyiga ebigambo ebirungi, kwe kugamba, ebigambo ebisaana era ebizimba ate n’abikozesa bulijjo ng’ayogera.—Bar. 12:2; Bef. 4:29; Bak. 3:8.
Ebigambo Ebyangu Okutegeera. Ekimu ku bintu ebikulu ebifuula enjogera y’omuntu okuba ennungi kwe kukozesa ebigambo ebitegeerekeka. (1 Kol. 14:9) Singa abakuwuliriza tebategeera bigambo by’oyogera, oba ng’ayogera gye bali mu lulimi olugwira.
Ebigambo ebimu biyinza kutegeerwa bantu ab’ekika ekimu. Bayinza okuba nga babikozesa buli lunaku nga boogera bokka na bokka. Naye bwe babikozesa mu mbeera we bitasaanira abalala bayinza obutabitegeera. Ate era, ne bw’okozesa ebigambo ebyangu okutegeera, singa olandagga, ebirowoozo by’abakuwuliriza bijja kuwuguka.
Omwogezi afaayo ku balala, akozesa ebigambo ebisobola okutegeerwa n’abo abalina obuyigirize obutono. Ng’akoppa Yakuwa, alaga nti afaayo ne ku ‘bantu aba wansi.’ (Yob. 34:19) Singa omwogezi akiraba nti kimwetaagisa okukozesa ekigambo abamuwuliriza kye batamanyi, alina okukikozesa mu ngeri eneebasobozesa okutegeera amangu kye kitegeeza.
Ebigambo ebyangu okutegeera bwe bikozesebwa amakulu gavaayo mangu. Ebirowoozo bwe bisengekebwa mu bigambo ebitonotono era ebyangu okutegeera ensonga evaayo bulungi. Kyokka awamu kiyinza okukwetaagisa okukozesa ebigambo ebingiko okusobola okuggyayo ensonga. Naye bwe wabaawo ensonga z’oyagala abakuwuliriza bajjukire, kozesa ebigambo ebyangu okutegeera era tolandagga.
Ebigambo eby’Enjawulo era Ebituufu. Kisoboka okufuna ebigambo ebirungi. Buli lw’oba oyogera ku nsonga y’emu tokozesa bigambo bye bimu, fuba okufunayo eby’enjawulo. Mu ngeri eyo ojja kwogera mu ngeri esikiriza era nga ya makulu. Oyinza otya okwongera ku bungi bw’ebigambo by’omanyi?
Bw’oba osoma, lamba ebigambo byonna by’otategeera bulungi, era okebere amakulu gaabyo mu nkuluze y’olulimi lwo. Londayo ebimu ku bigambo ebyo, era fuba okubikozesa we bisaanira. Fuba okubyatula obulungi era obikozese mu ngeri entuufu era etaawugule birowoozo by’abakuwuliriza. Bw’oyongera ku bigambo by’obadde omanyi, kijja kukusobozesa okukozesa ebigambo ebitali bimu ng’oyogera. Naye osaanidde okwegendereza kubanga omuntu bw’ayatula obubi ebigambo oba n’abikozesa bubi, abamuwuliriza bajja kukitwala nti by’ayogerako tabitegeera.
Ekigendererwa ky’okwongera ku bigambo bye tumanyi kwe kutusobozesa okwogera n’abalala mu ngeri etegeerekeka obulungi, so si okubawuniikiriza. Okukozesa ebigambo ebizibu era nga biwanvu kireetera abawuliriza okulowooza ku mwogezi mu kifo ky’okulowooza ku ebyo by’ayogera. Ekiruubirirwa kyaffe kyandibadde kutuusa bubaka obw’omuganyulo eri abalala era n’okwogera mu ngeri eneebaleetera okwagala okutuwuliriza. Jjukira olugero lwa Baibuli: “Olulimi lw’ab’amagezi lwogera okumanya nga bwe kisaana.” (Nge. 15:2) Okukozesa ebigambo ebirungi, ebituukirawo era ebitegeerekeka obulungi, kireetera bye twogera okuba eby’omugaso era ebisikiriza.
Ng’oyongera ku bigambo by’omanyi, kakasa nti okozesa ebigambo ebituufu. Ebigambo bibiri biyinza okuba n’amakulu ge gamu kyokka nga gaawukanamu katono era nga biyinza okukozesebwa mu mbeera ez’enjawulo. Kino bw’okitegeera, ojja kusobola okwogera mu ngeri etegeerekeka era ojja kwewala okwogera ebigambo ebyesittaza abakuwuliriza. Wuliriza n’obwegendereza abantu aboogera obulungi. Enkuluze ezimu ziwa olukalala lw’ebigambo ebirina amakulu ge gamu era n’ebyo ebirina amakulu agaawukana. N’olwekyo, bw’ozikozesa ojja kuzuula ebigambo eby’enjawulo nga birina amakulu ge gamu era n’ebyo ebirina amakulu agaawukana. Kino kiyamba nnyo ng’onoonya ekigambo ekituufu eky’okukozesa mu mbeera emu. Nga tonnaba kukozesa kigambo kyonna, kakasa nti omanyi amakulu gaakyo, engeri y’okukyatulamu, era ne ddi lwe kirina okukozesebwa.
Ebigambo ebiweera ddala amakulu gennyini biba birungi okusinga ebyo ebirina amakulu amangi. Ng’ekyokulabirako omwogezi ayinza okugamba: “Mu kiseera ekyo, abantu bangi baalwala.” Oba ayinza okugamba: “Emyezi mitono nnyo oluvannyuma lwa Ssematalo I, abantu 21,000,000 baafa olw’obulwadde bwa Sseseba.” Weetegereze enjawulo ebaawo omwogezi bw’annyonnyola ky’aba ategeeza bw’agamba nti “mu kiseera ekyo,” “abantu bangi,” era nti “baalwala”! Okusobola okukozesa ebigambo ebiggyayo ensonga gy’oyagala okutegeeza, kikwetaagisa okuba ng’omanyi bulungi ky’ogenda okwogerako era n’olonda n’obwegendereza ebigambo by’ogenda okukozesa.
Ate era okukozesa ebigambo ebituufu kikuyamba obutalandagga. Bw’olandagga ensonga enkulu zibuutikirwa. Okukozesa ebigambo ebyangu okutegeera kisobozesa abalala okufuna amakulu g’ebyo by’oyogera n’okujjukira ensonga enkulu. Era kiyamba omuntu okufuna okumanya okutuufu. Okuyigiriza kwa Yesu Kristo kwali kulungi kubanga yakozesanga ebigambo ebyangu okutegeera. Mukoppe. (Laba ebyokulabirako ebiri mu Matayo 5:3-12 ne mu Makko 10:17-21.) Weemanyiize okukozesa ebigambo ebirondeddwa obulungi.
Ebigambo Ebyoleka Ebbugumu, Enneewulira, Amaanyi. Ng’oyongera ku bigambo by’omanyi, tokoma ku kumanya bumanya bigambo bippya naye era gezaako okumanya amakulu ge byoleka. Ng’ekyokulabirako, eriyo ebigambo ebyoleka amaanyi, ebbugumu, ekisa, oba okukubiriza.
Baibuli erimu ebyokulabirako bingi ebikwata ku nsonga eno. Okuyitira mu nnabbi Amosi, Yakuwa yagamba: ‘Munoonye obulungi so si obubi. Mukyawenga obubi mwagalenga obulungi.’ (Am. 5:14, 15) Nnabbi Samwiri yagamba Kabaka Sawulo: ‘Mukama akuyuzizzaako obwakabaka bwa Isiraeri leero.’ (1 Sam. 15:28) Ng’ayogera ne Ezeekyeri, Yakuwa yakozesa ebigambo omuntu by’ayinza okusigala ng’alowoozaako bwe yagamba: ‘Ennyumba yonna eya Isiraeri ba kyenyi kikalubo era ba mutima mikakanyavu.’ (Ezk. 3:7) Ng’ayogera ku kwonoona kwa Isiraeri, Yakuwa yabuuza: ‘Omuntu alinyaga Katonda? Naye mmwe munnyaga nze.’ (Mal. 3:8) Ng’ayogera ku ngeri okukkiriza kwa banne gye kwagezesebwa nga bali mu Babulooni, Danyeri yagamba nti ‘Nebukadduneeza n’alyoka yeejuumuulira ddala,’ kubanga Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego tebaasinza kibumbe kye, era yalagira basibibwe basuulibwe mu ‘kikoomi ekyaka n’omuliro.’ Okutuyamba okutegeera nti omuliro gwali gwa maanyi nnyo, Danyeri yagamba nti kabaka yalagira abasajja be bongere omuliro mu ‘kikoomi kyake emirundi musanvu okukira bwe kyali kyase’ ne kiba nti abasajja ba kabaka bwe baakisemberera ennimi z’omuliro zaabookya ne bafa. (Dan. 3:19-22) Bwe yali ng’ayogera n’abantu b’omu Yerusaalemi ng’ebulayo ennaku ntono nnyo attibwe, Yesu yayoleka enneewulira gye yalina ng’ayogera nti: ‘Emirundi emeka gye nnayagalira ddala okukuŋŋaanya abaana bo, ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo munda w’ebiwaawaatiro byayo, ne mutayagala! Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa.’—Mat. 23:37, 38.
Bw’olonda obulungi ebigambo byo, osobola okuyamba abakuwuliriza okukuba ekifaananyi ku by’oyogerako. Singa okozesa ebigambo ebiweera ddala ekifaananyi kyennyini, bajja “kulaba” era “bakwate” ku ebyo by’oyogerako, “balege” era “bawunyirize” ku mmere gy’oyogerako, era “bawulire” amaloboozi g’abantu b’onnyonnyolako era babategeere. Abakuwuliriza bajja kussaayo omwoyo ku ebyo by’oyogerako olw’okuba obaweera ddala ekifaananyi kyennyini.
Ebigambo ebiyamba abantu okukuba ekifaananyi, biyinza okubaleetera okuseka oba okukaaba. Bisobola okuzzaamu endasi, okuyamba oyo abadde aterebuse ne yeeyongera okwagala okuba omulamu era n’okwagala Omutonzi we. Abantu okwetooloola ensi yonna bakwatiddwako ebigambo ebiwa essuubi ebisangibwa mu Byawandiikibwa nga Zabbuli 37:10, 11, 34; Yokaana 3:16; ne Okubikkulirwa 21:4, 5.
Bw’osoma Baibuli n’ebitabo ‘by’omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ ojja kulaba nti bikozesa ebigambo eby’enjawulo. (Mat. 24:45) N’olw’ekyo, bw’oba osoma londamu bye wandyagadde okukozesa, era obyeyambise mu njogera yo eya bulijjo.
Okwogera ng’Ogoberera Amateeka Agafuga Olulimi. Abantu abamu bakimanyi nti tebatera kugoberera mateeka agafuga olulimi nga boogera. Naye kiki kye basaanidde okukola?
Bw’oba ng’okyali mu ssomero, fuba okuyiga amateeka agafuga olulimi era n’enkozesa entuufu ey’ebigambo. Bw’obaako n’etteeka ly’otategeera bulungi, buuza omusomesa wo. Faayo okugayiga gonna. Ggwe olina ekiruubirirwa abayizi abalala kye batalina. Oluubirira okubeera omubuulizi omulungi ow’amawulire amalungi.
Ate singa oli muntu mukulu era ng’olulimi lw’okozesa kati si lwe lulimi lwo oluzaaliranwa? Oboolyawo tewayigirizibwa na lulimi lwo. Toggwaamu maanyi. Wabula, fuba nnyo okulwogera obulungi ng’olina ekigendererwa eky’okulukozesa ng’obuulira amawulire amalungi. Tusobola okuyiga amateeka mangi agafuga olulimi bwe tuwuliriza abalala nga boogera. N’olwekyo, wuliriza n’obwegendereza ng’aboogezi aboogera obulungi bawa emboozi. Bw’oba osoma Baibuli n’ebitabo ebigyogerako, weetegereze ebigambo ebikozesebwa n’engeri gye bikozesebwamu. Koppa engeri ebigambo ebyo gye bikozeseddwamu era obikozese ng’oyogera.
Bannakatemba n’abayimbi abatutumufu bayinza okukozesa enjogera ekontana n’amateeka agafuga olulimi. Abantu batera okukoppa enjogera yaabwe. Abakukusa enjaga n’abamenyi b’amateeka oba abalala abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, batera okuba n’enjogera yaabwe, ng’ebigambo babiwa amakulu agaawukana ku ga bulijjo. Tekiba kya magezi Abakristaayo okukoppa enjogera yaabwe. Singa tukoppa enjogera yaabwe, kiyinza okuviirako abalala okututeeka mu ttuluba ly’abantu ng’abo.—Yok. 17:16.
Weemanyiize okukozesa enjogera ennungi buli lunaku. Singa teweemanyiiza kwogera bulungi, tojja kusobola kwogera bulungi ng’owa emboozi. Naye singa okozesa enjogera ennungi bulijjo, kijja kukwanguyira okwogera obulungi ng’owa emboozi ku pulatifoomu oba ng’obuulira abalala.