Abavubuka Abaakaayakana ng’Ettabaaza
1. Baibuli eraga etya nti Abakristaayo bandibadde ba njawulo, era ebigambo ebyo bikwata bitya ku bavubuka Abakristaayo leero?
1 Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mmwe muli musana gwa nsi.” (Mat. 5:14, 16) Okufaananako ekibuga ekiri ku ntikko y’olusozi, nabo bandibadde baakaayakana era nga ba njawulo. Leero, abavubuka bangi Abakristaayo ‘baakaayakana ng’ettabaaza mu nsi’ nga booleka empisa ennungi era nga banyiikirira omulimu gw’okubuulira.—Baf. 2:15; Mal. 3:18.
2. Osobola otya okubuulira abasomesa bo ne bayizi banno?
2 Ku Ssomero: Oyinza otya okubuulira ku ssomero? Abavubuka abamu bakozesa ekiseera eky’okukubaganya ebirowoozo mu kibiina ku nsonga ng’okwekamirira amalagala, obutakkiririza mu kutondebwa n’Okutta okw’Ekikungo. Mwannyinaffe omu eyagambibwa okubaako by’awandiika ku bikolwa bya bannalukalala yakozesa akakisa ako okuwa obujulirwa ku Bwakabaka bwa Katonda era n’alaga nti bwe bwokka obujja okumalawo ekizibu ekyo. Ebyo mwannyinaffe bye yawandiika byakwata nnyo ku musomesa we, era byaviirako mwannyinaffe oyo okweyongera okubuulira ku ssomero.
3. Engeri gye weeyisaamu ku ssomero eyinza etya okukuleetera okwakayakana?
3 Engeri endala gy’oyinza okwakayakanamu ng’ettabaaza, kwe kuba n’empisa ennungi, okwambala obulungi era n’okwekolako mu ngeri esaana. (1 Kol. 4:9; 1 Tim. 2:9) Abayizi n’abasomesa bwe balaba ng’engeri gye weeyisaamu ya njawulo, abamu bayinza okusikirizibwa okuyiga amazima era ekyo kikusobozesa okutandika okubayigiriza Baibuli. (1 Peet. 2:12; 3:1, 2) Kiyinza obutaba kyangu okwoleka empisa ennungi, naye bw’onoofuba, Yakuwa ajja kukuwa emikisa mingi. (1 Peet. 3:16, 17; 4:14) Ate era, okusobola okusikiriza abalala okwagala okumanya amazima, oyinza okusoma ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli mu kiseera eky’okuwummulamu oba oyinza okubiteeka mu kifo abalala we basobola okubiraba.
4. Miganyulo ki egiva mu kubuulira ku ssomero?
4 Okwakaayakana ng’ettabaaza ku ssomero kijja kunyweza okukkiriza kwo era kikuleetere okwenyumiriza mu kuweereza Yakuwa. (Yer. 9:24) Ate era kiba kya bukuumi gy’oli. Mwannyinaffe omu yagamba, “Omuganyulo gwe nfunye mu kubuulira bayizi bannange, kwe kuba nti tebampikiriza kukola bintu bikontana na Baibuli.”
5. (a) Abavubuka abamu bagaziyizza batya ku buweereza bwabwe? (b) Biruubirirwa ki eby’eby’omwoyo by’olina?
5 Okugaziya ku Buweereza: Engeri endala abavubuka gye baakaayakanamu ng’ettabaaza, kwe kugaziya ku buweereza bwabwe. Oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo gye, omuvubuka omu yagenda okuweereza mu kifo awali obwetaavu obw’amaanyi obw’abalangirizi b’Obwakabaka. Ekibiina kye yagendamu kyalimu ababuulizi batono n’omukadde omu yekka. Yawandiikira mukwano gwe ng’agamba nti, “ndi eno nyumirwa bulamu. Okubuulira kunzizzaamu nnyo amaanyi! Twogerera eddakiika nga 20 mu buli maka ge tuba tugenzeemu kubanga abantu baagala okuwuliriza bye tubabuulira. Mazima ddala, nnandyagadde buli muvubuka akole kino kye nkola naye awulireko nga nze bwe mpulira. Tewaliiwo kirungi kisinga kuweereza Yakuwa na byonna bye tulina.”
6. Kiki ekikuleetera okwenyumiriza mu bavubuka abali mu kibiina kyo?
6 Nga tubeenyumiririzaamu nnyo mwe abavubuka abaakaayakana ng’ettabaaza mu nsi! (1 Bas. 2:20) Bwe muweereza Yakuwa n’omutima gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe yonna, n’ebirowoozo byammwe byonna era n’amaanyi gammwe gonna, mujja kukungula “emirundi kikumi mu biro ebya kaakano . . . ne mu mirembe egigenda okujja obulamu obutaggwaawo.”—Mak. 10:29, 30; 12:30.