Okubikkulirwa—Okutuukirizibwa kw’Ebikirimu Kunaatera Okutuuka ku Ntikko!
1 “Alina omukisa oyo asoma, n’abo abawulira ebigambo by’obunnabbi buno, era n’abakwata ebiwandiikiddwa mu bwo: kubanga ekiseera kiri kumpi.” (Kub. 1:3) Ebigambo ebyo biraga obukulu bw’ekitabo ky’Okubikkulirwa, naddala olw’okuba nti tuli mu kiseera kyennyini obunnabbi bungi obukirimu mwe bulina okutuukirizibwa. N’olwekyo, tujja kwekenneenya ebiri mu kitabo Revelation—Its Grand Climax At Hand! mu Kusoma Ekitabo okw’Ekibiina okutandika nga Jjanwali 8, 2007.
2 Okuva lwe twasembayo okusoma ekitabo kino Revelation Climax mu Kusoma Ekitabo okw’Ekibiina, ensi ekyuse nnyo. (1 Kol. 7:31) Ate era, ababuulizi b’amawulire g’Obwakabaka bangi abatafunanga mukisa kusoma kitabo kya Okubikkulirwa nga bakiva lunyiriri ku lunyiriri. Okusoma ekitabo Revelation Climax kujja kutuyamba ffenna okuba obulindaala nga tulinda ebijja mu maaso.—Kub. 16:15.
3 Fuba okubeerangawo buli wiiki. Bye tunaayiga bijja kutuyamba okubeera obulindaala n’okwewala ebizibu Yesu bye yayogerako ng’awandiikira ebibiina omusanvu ebiyinza okutuleetera okuddirira mu by’omwoyo n’obutenyigira kimala mu kubuulira.—Kub. 1:11, 19.
4 Tegeka Bulungi: Bw’oba otegeka, soma mu kitabo ky’Okubikkulirwa ennyiriri ezigenda okwekenneenyezebwa. Wekkaanye engeri buli lunyiriri gye lunnyonnyoddwamu. Fuba okulaba nti by’oyize obitegeera era nti bikutuuka ku mutima. (Nek. 8:8, 12) Twala ekiseera okufumiitiriza era weebuuze: ‘Kino kinjigiriza ki ku Yakuwa n’okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kye? Nsobola ntya okweyisa mu ngeri etuukana n’ekigendererwa kye era ne nnyamba n’abalala?’
5 Kati emyaka giri 92 bukya ‘olunaku lwa Mukama’ lutandika mu 1914. (Kub. 1:10) Mu biseera ebitali bya wala, ensi yonna ejja kuyuuguuma ng’ebyalagulwa mu kitabo ky’Okubikkulirwa bituukirizibwa. Okusoma ekitabo Revelation Climax kujja kutuzzaamu amaanyi era kunyweze okukkiriza kwaffe nti “olutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna” n’ensi empya ddala biri kumpi.—Kub. 16:14; 21:4, 5.