-
Weeyongere Okubuulira Abalala Ebikolwa bya Yakuwa eby’EkitaloObuweereza bw’Obwakabaka—2004 | Febwali
-
-
16. Kiki ekiyinza okukolebwa okuyamba abo abaaliwo ku Kijjukizo okukulaakulana mu by’omwoyo?
16 Weeyongere Okuyamba Abo Abaaliwo ku Kijjukizo: Mu wiiki eziddirira Ekijjukizo, abo abaaliwo ku Kijjukizo bayinza okwetaaga obuyambi obulala. Mu abo muyinza okubaamu abo abaali bajjumbira ennyo enkuŋŋaana naye nga kati bajja bbalirirwe. Abakadde bajja kuba bulindaala okukakasa nti abali ng’abo tebabuusibwa maaso, nga bagezaako okuzuula ensonga eyabaviirako okulekera awo okukulaakulana mu by’omwoyo. Ggumiza obukulu bw’ebiseera bye tulimu. (1 Peet. 4:7) Bayambe okulaba emiganyulo egiri mu kugondera okubuulirira okuli mu kyawandiikibwa okukwata ku kukuŋŋaana awamu n’abantu ba Katonda obutayosa.—Beb. 10:24, 25.
-
-
Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa KatondaObuweereza bw’Obwakabaka—2004 | Febwali
-
-
Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda
Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Febwali 23, 2004. Omulabirizi akubiriza essomero ajja kukubiriza essomero mu ddakiika 30 nga lyesigamiziddwa ku ebyo ebyasomebwa okuva mu wiiki eya Jjanwali 5 okutuuka nga Febwali 23, 2004. [Eby’okwetegerezebwa: Bwe watabaawo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okukola okunoonyereza okukwo okusobola okufuna eky’okuddamu.—Laba ekitabo Ministry School, emp. 36-7.]
ENSONGA EZ’OKWOGERAKO
1. Kiki kye tuyinza okukola okukakasa nti amakulu g’ebyo bye twogera geeyoleka bulungi abatuwuliriza basobole okubiganyulwamu? [be lup. 158 but. 2-4]
2. Lwaki tulina okulonda ebigambo byaffe n’obwegendereza? [be lup. 160 kat. 1 n’akasanduuko ak’okubiri]
3. Kintu ki ekikulu ekyetaagibwa mu kwogera okulungi ekiragibwa mu 1 Abakkolinso 14:9, era tuyinza tutya okukikozesa nga tuyigiriza? [be lup. 161 but. 1-4]
4. Nga bwe kiragibwa mu Matayo 5:3-12 ne mu Makko 10:17-21, ngeri ki eyeeyoleka mu kuyigiriza kwa Yesu gye tuyinza okukoppa? [be lup. 162 kat. 4]
5. Bwe tuba mu buweereza oba nga tulina kye tuddamu mu nkuŋŋaana, lwaki twandifubye okukozesa ebigambo ebyoleka enneewulira era ebitegeerekeka amangu? (Mat. 23:37, 38) [be lup. 163 kat. 3–lup. 164 kat. 1]
EMBOOZI 1
6. Omulamwa gw’emboozi gwe guluwa, era guyinza gutya okukozesebwa mu kulonda n’okuteekateeka ebyogerwa? [be lup. 39 kat. 6–lup. 40 kat. 1]
7. (a) Kitegeeza ki okuba abayonjo mu by’omwoyo, era lwaki obuyonjo mu by’omwoyo butwalibwa okuba ekintu ekikulu ennyo okusinga obuyonjo obulala bwonna? (b) Abakristaayo bayinza batya okwewala okutwalirizibwa empisa ezitali nnongoofu ezicaase mu nsi leero? [w02 2/1 emp. 5-6]
8. Mu misingi gyonna egisangibwa mu Baibuli giruwa egisinga obukulu? [w02 2/15 lup. 5 but. 1, 4, 6]
9. Kitegeeza ki okulumirirwa abalala, era Yesu yayoleka atya engeri eno? [w02 4/15 lup. 25 but. 4-5]
10. Engero 11:11 lukwata lutya ku bibiina by’abantu ba Yakuwa? [w02 5/15 lup. 27 but. 1-3]
OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI
11. ‘Omuti gw’obulamu’ ogwogerwako mu Olubereberye 2:9 gukiikirira ki?
12. Lwaki mukyala wa Lutti yafiirwa obulamu bwe? (Lub. 19:26) [w90 4/15 lup. 18 kat. 10]
13. Mu bunnabbi obuli mu Olubereberye essuula 24, (a) Ibulayimu, (b) Isaaka, (c) omuddu wa Ibulayimu Eryeza, (d) eŋŋamira ekkumi ne (e) Lebbeeka, baakiikirira baani?
14. Katonda yali yateekateeka dda byonna ebyandituuse ku Yakobo ne Esawu? (Lub. 25:23)
15. Mu ngeri ki Laakeeri gye yali ekyokulabirako ekirungi eky’omuntu eyafuba ennyo era n’asiimibwa Yakuwa? (Lub. 30:1-8) [w02 8/1 emp. 29-30]
-