Oluyimba 111
Alibayita
Printed Edition
1. Obulamu bulinga olufu,
Kuba buggwaawo mangu.
Ababaddewo kati tuvaawo,
Maziga ge tuleka.
Omuntu bw’afa alikomawo?
Katonda agamba nti:
(CHORUS)
Abafu; Alibayita
Babeere abalamu.
Kuba ayagala nnyo
’Mulimu gw’engalo ze.
Kkiriza; teweewuunya ggwe,
Katonda aliyita,
Era tuliddawo nga
’Mulimu gw’engalo ze.
2. Mikwano gya Katonda bwe bafa,
Baba bakyajjukirwa.
Bonna abajjukirwa Katonda,
Bo bajja kuzuukira.
’Bulamu obwo bulibeera mu
Lusuku lwa Katonda.
(CHORUS)
Abafu; Alibayita
Babeere abalamu.
Kuba ayagala nnyo
’Mulimu gw’engalo ze.
Kkiriza; teweewuunya ggwe,
Katonda aliyita,
Era tuliddawo nga
’Mulimu gw’engalo ze.
(Era laba Yok. 6:40; 11:11, 43; Yak. 4:14.)