Oluyimba 19
Ekisuubizo kya Katonda eky’Olusuku Lwe
Printed Edition
1. Katonda ye yasuubiza nti,
Walibaawo ’lusuku lwe,
Bw’aliggyawo obubi bwonna,
Okukaaba ko n’okufa.
(CHORUS)
Ensi yonna eribeera
Olusuku lwa Katonda.
Yesu Kristo bw’alikola,
Nga Katonda bw’ayagala.
2. Omwana we alizuukiza,
’Bafu ku nsi eno mangu.
Bw’atyo Yesu yasuubiza nti:
‘Olibeera mu Lusuku.’
(CHORUS)
Ensi yonna eribeera
Olusuku lwa Katonda.
Yesu Kristo bw’alikola,
Nga Katonda bw’ayagala.
3. Yesu naye yalusuubiza
Era kati ye Kabaka.
Twebaza nnyo Katonda waffe,
N’omutima gwaffe gwonna.
(CHORUS)
Ensi yonna eribeera
Olusuku lwa Katonda.
Yesu Kristo bw’alikola,
Nga Katonda bw’ayagala.
(Era laba Mat. 5:5; 6:10; Yok. 5:28, 29.)