OLUYIMBA 145
Ekisuubizo ky’Olusuku lwa Katonda
Printed Edition
	- 1. Katonda ye yasuubiza nti - Walibaawo ’lusuku lwe, - Bw’aliggyawo ebibi byonna, - Okukaaba ko n’okufa. - (CHORUS) - Ensi yonna eribeera - Olusuku lwa Katonda - Yesu Kristo bw’alikola - Nga Katonda bw’ayagala. 
- 2. Omwana we anaazuukiza - ’Bafu ku nsi eno mangu. - Bw’atyo Yesu yasuubiza nti: - ‘Olibeera mu Lusuku.’ - (CHORUS) - Ensi yonna eribeera - Olusuku lwa Katonda - Yesu Kristo bw’alikola - Nga Katonda bw’ayagala. 
- 3. Yesu naye yalusuubiza - Era kati ye Kabaka. - Twebaza nnyo Katonda waffe, - N’omutima gwaffe gwonna. - (CHORUS) - Ensi yonna eribeera - Olusuku lwa Katonda - Yesu Kristo bw’alikola - Nga Katonda bw’ayagala. 
(Laba ne Mat. 5:5; 6:10; Yok. 5:28, 29.)