Oluyimba 29
Okutambulira mu Bugolokofu
Printed Edition
	1. Onnamule, Yakuwa Katonda.
Obwesigwa bwange obwekenneenyenga.
Onkebere era ongezese;
Era olongoose omutima gwange.
(CHORUS)
Mmaliridde, Okutambulira
emirembe gyonna Mu bugolokofu.
2. Siituula na bantu abalimba.
Sikolagana na banyooma ’mazima.
Tonsaanyawo awamu n’ababi;
Ng’obaggyawo abo abalya enguzi.
(CHORUS)
Mmaliridde, Okutambulira
emirembe gyonna Mu bugolokofu.
3. Njagala nnyo ’kuba mu nnyumba yo.
Nja kuwagiranga, nze okusinza kwo.
Ekyoto kyo nja kukyetooloola,
Biwulirwe mu nsi yonna bye nkwebaza.
(CHORUS)
Mmaliridde, Okutambulira
emirembe gyonna Mu bugolokofu.
(Era laba Zab. 25:2.)