Oluyimba 129
Okunywereza Ddala Essuubi Lyaffe
Printed Edition
1. ’Bantu baludde nga bali mu nzikiza.
Batawaanye ng’abagoba empewo.
Kyeraze lwatu nti boonoonyi bonna.
Alokola banne taliiwo.
(CHORUS)
’Bwakabaka bwa Katonda bujja!
Omwana we ajja kutununula.
Mangu nnyo obubi bunaavaawo;
’Ssuubi lino ffe lye tunywereddeko.
2. ‘Luli kumpi olunaku lwa Katonda,’
Bakomye ’kutugamba nti ‘Ng’aludde!’
Anaalokola ’bitonde ’bisinda.
Ka ffenna ’wamu tumutende.
(CHORUS)
’Bwakabaka bwa Katonda bujja!
Omwana we ajja kutununula.
Mangu nnyo obubi bunaavaawo;
’Ssuubi lino ffe lye tunywereddeko.
(Era laba Kaab. 1:2, 3; Zab. 27:14; Yo. 2:1; Bar. 8:22.)