Oluyimba 93
“Ekitangaala Kyammwe Kyakenga”
Printed Edition
1. Twalagirwa Kristo ’Kwakaayakana,
Abantu balabe Ekitangaala.
Ebyawandiikibwa Bituganyudde.
’Bikolwa ebirungi Ka tubyoleke.
2. Tubuulira ’bantu Ku Bwakabaka;
Tubawa essuubi, Ne tubagumya.
’Byawandiikibwa bye Tukolerako;
’Bigambo bye twogera Binog’o munnyo.
3. ’Bikolwa ’birungi Bwe tubyoleka,
Bibeera nga luulu; Bisikiriza.
Tukole ’kituufu, Twakaayakane,
Tube nga tusanyusa Katonda waffe.
(Era laba Zab. 119:130; Mat. 5:14, 15, 45; Bak. 4:6.)