Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Ezera
EKITABO kya Ezera kitandika n’ebigambo ebikomekkereza kitabo ky’Ebyomumirembe eky’Okubiri. Omuwandiisi waakyo ye Kabona Ezera. Kabona ono bwe yali awandiika ekitabo kino yatandika n’ekiragiro kya Kabaka Kuulo ow’e Buperusi eky’okuleka Abayudaaya abaali mu Babulooni okuddayo ku butaka. Ekitabo kino bwe kiba kimaliriza, kyogera ku ngeri Ezera gye yayambamu abantu okwetukuza olw’okuba baali beenyigidde mu bikolwa ebibi eby’ab’amawanga. Okutwalira awamu, ebyo ebiri mu kitabo kya Ezera byaliwo mu bbanga lya myaka 70—okuva mu 537 okutuuka mu 468 B.C.E.
Mu kuwandiika ekitabo kino, Ezera yalina ekiruubirirwa eky’okulaga abantu engeri Yakuwa gye yatuukirizaamu ekisuubizo kye eky’okuggya abantu be mu buwambe e Babulooni, n’okubalaga engeri okusinza okw’amazima gye kwazzibwawo mu Yerusaalemi. N’olwekyo bwe yali awandiika, ebyo bye yasinga okuteekako essira. Ekitabo kya Ezera kyogera ku ngeri yeekaalu gye yaddamu okuzimbibwa n’engeri okusinza okw’amazima gye kwazzibwawo wadde ng’abantu ba Yakuwa baali baziyizibwa era nga baalina n’ensobi ze baali bakoze. Ebyo ebiri mu kitabo kino bya muganyulo gye tuli kubanga naffe tuli mu kiseera eky’okuzzaawo okusinza okw’amazima. Bangi beekuluumulira ku ‘lusozi lwa Mukama,’ era ensi yonna eneetera ‘okujjula okumanya ekitiibwa kya Mukama.’—Isaaya 2:2, 3; Kaabakuuku 2:14.
YEEKAALU EDDAMU OKUZIMBIBWA
Nga bakolera ku kiragiro kya Kuulo eky’okuddayo ku butaka, Abayudaaya nga 50,000 abali mu buwaŋŋanguse baddayo e Yerusaalemi nga bakulemberwa Gavana Zerubbaberi, oba Sesubazzali. Amangu ddala nga baakatuuka, baddamu okuzimba ekyoto era ne bawaayo ssaddaaka eri Yakuwa.
Mu mwaka oguddako, Abaisiraeri batandika okuzimba omusingi gw’ennyumba ya Yakuwa. Abalabe baabwe batandika okubataataaganya era oluvannyuma bayimiriza omulimu ogwo. Wadde omulimu gw’okuzimba yeekaalu guyimiriziddwa, nnabbi Kaggayi ne Zekkaliya bakubiriza abantu okuddamu okugizimba. Bwe banoonya mu nnyumba eterekebwamu ebitabo, basangamu ekiwandiiko ekigamba nti Kabaka Kuulo ‘yateeka etteeka; olw’ennyumba ya Katonda eri e Yerusaalemi.’ (Ezera 6:3) Abalabe baabwe bwe bakitegeera nti ekiragiro ky’okuzimba yeekaalu kyava eri Kuulo Kabaka w’e Buperusi, balekera awo okubaziyiza. N’ekivaamu omulimu gw’okuzimba gugenda mu maaso era yeekaalu emalirizibwa.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:3-6—Abaisiraeri abaagaana okuddayo mu Yerusaalemi baalina okukkiriza kutono? Ekiyinza okuba nga kye kyaviirako abamu obutaddayo, kwe kuba nti baali tebaagala kuleka bya bugagga bwabwe oba okusinza okulongoofu baali tebakutwala ng’ekintu ekikulu. Kyokka, ate era waliwo n’ensonga endala eziyinza okuba nga ze zaalemesa abamu okuddayo. Okusooka, olugendo lwe baalina okutambula lwali luweza mayiro 1,000 era ng’omuntu kimutwalira emyezi ena oba etaano okulutambula. Ate era okusobola okukkalira mu nsi eyali emaze emyaka 70 ng’eri matongo n’okuzimba amayumba kyali kyetaagisa omuntu omulamu obulungi era nga wa maanyi. N’olwekyo obulwadde, obukadde n’obuvunaanyizibwa bw’amaka byalemesa abamu okuddayo.
2:43—Abanesinimu be baani? Abanesinimu be bantu abaakolanga emirimu gy’omu yeekaalu naye nga tebaali Baisiraeri. Mu bano mwalimu bazzukulu b’Abagibyoni abaaliwo mu kiseera kya Yoswa n’abalala “Dawudi n’abakulu be baawaayo olw’okuweereza Abaleevi.”—Ezera 8:20.
2:55—Baani abaali batabani b’abaddu ba Sulemaani? Bano be basajja abaali baaweebwa emirimu egy’enjawulo naye nga tebaali Baisiraeri. Abamu bayinza okuba baali bawandiisi oba abakoppolozi b’omu yeekaalu, ate ng’abalala bakola ng’abaami abakulu.
2:61-63—Abaisiraeri abaali bagenda okuddayo ku butaka baalina Ulimu ne Sumimu ebyali byetaagibwa nga baagala okufuna eky’okuddamu okuva eri Yakuwa? Abo abaali bagamba nti bali mu lunyiriri lwa bakabona naye nga tewali bukakafu bukiraga, bandibadde bakozesa Ulimu ne Sumimu. Mu kitabo kye, Ezera alaga nti Ulimu ne Sumimu bye byokka ebyandibayambye okukakasa obanga ddala bali mu lunyiriri lwa bakabona. Ulimu ne Sumimu bikoma kwogerwako mu kitabo kya Ezera. Abayudaaya bagamba nti tebyaddayo kukubwako kimunye okuva yeekaalu lwe yazikirizibwa mu 607 B.C.E.
3:12—Lwaki ‘abakadde bwe baalaba ennyumba ya Yakuwa eyasooka’ baakaaba? Abasajja abo baakaaba kubanga bajjukira yeekaalu amakula eyaliwo mu kusooka Sulemaani gye yali azimbye. Bwe baalaba omusingi gwa yeekaalu empya ne bagugeraageranya ne yeekaalu eri eyasooka, baalaba nga tegulina bwe guli. (Kaggayi 2:2, 3) Bandisobodde okuzimba yeekaalu eno n’eba nnungi nnyo ng’eyasooka? Kino kiteekwa okuba nga kyabanakuwaza nnyo era ne bakaaba amaziga.
3:8-10; 4:23, 24; 6:15, 16—Kyabatwalira emyaka emeka okuzimba yeekaalu empya? Baatandika okuzimba omusingi gwa yeekaalu mu 536 B.C.E. nga guno gwe gwali ‘omwaka ogw’okubiri kasookedde bakomawo’ ku butaka. Omulimu gw’okuzimba gwayimirizibwa mu 522 B.C.E., mu kiseera ky’obufuzi bwa Kabaka Alutagizerugizi. Mu 520 B.C.E., mu mwaka gw’obufuzi bwa Kabaka Daliyo ogw’okubiri bakkirizibwa okuddamu okuzimba yeekaalu eyo. Mu mwaka ogw’obufuzi bwe ogw’omukaaga, mu 515 B.C.E., baamaliriza okugizimba. (Laba akasanduuko akalina omutwe “Bakabaka ba Buperusi Okuva mu 573 Okutuuka 468 B.C.E.”) Bwe kityo, kyabatwalira emyaka 20 okumaliriza yeekaalu.
4:8–6:18—Mu kusooka, ennyiriri zino zaawandiikibwa mu Lulamayiki. Lwaki?—Kino kiri bwe kityo kubanga zirimu amabaluwa okuva mu bakungu ba gavumenti ze baawandiikira bakabaka n’ezo bakabaka ze baawandiika nga babaddamu. Ebbaluwa ezo Ezera yazikoppolola mu biwandiiko ebyali mu Lulamayiki, olwali olulimi olutongole mu Buperusi era nga lwe lwakozesebwanga abasuubuzi. Ezera 7:12-26, Yeremiya 10:11, ne Danyeri 2:4b–7:28 nazo mu kusooka zaawandiikibwa mu Lulamayiki.
Bye Tuyigamu:
1:2. Ebyo Isaaya bye yali yalagula emyaka nga 200 emabega byatuukirira. (Isaaya 44:28) Kino kyakakasa nti obunnabbi bwa Yakuwa tebusobola kugwa butaka.
1:3-6. Mu kiseera kino, waliwo Abajulirwa ba Yakuwa abatasobola kwenyigira mu buweereza bwa kiseera kyonna oba abatasobola kugenda kubuulira mu bitundu obwetaavu gye busingako. Okufaananako Abaisiraeri abaasigala mu Babulooni, Abajulirwa abo bawagira bannaabwe abasobola okwenyigira mu buweereza obw’engeri eyo era bafuba okubaako kye bawaayo okusobola okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.
3:1-6. Mu 537 B.C.E., mu mwezi ogw’omusanvu (ogwayitibwanga Tishri, wakati wa Ssebutemba ne Okitobba ku kalenda yaffe), Abayudaaya abeesigwa abaali bazzeeyo ku butaka baawaayo ssaddaaka yaabwe eyasooka. Mu 607 B.C.E., mu mwezi ogw’okutaano (gwe baayitanga Ab, wakati wa Jjulaayi ne Agusito ku kalenda yaffe) Kabaka Nebukadduneeza yawamba Yerusaalemi era n’akyokya omuliro. (2 Bassekabaka 25:8-17) Nga bwe kyali kyalagulwa, emyaka 70 Yerusaalemi gye kyamala nga kiri matongo gyaggwaako mu kiseera ekyo kyennyini. (Yeremiya 25:11; 29:10) Kino kiraga nti buli kintu kyonna Yakuwa ky’asuubiza kituukirira.
4:1-3. Abayudaaya abeesigwa baagaana abantu abaali basinza ba katonda ab’obulimba okubazimbirako kubanga bandibadde ng’abagattika enzikiriza. (Okuva 20:5; 34:12) Ne leero abasinza ba Yakuwa beeyawulira ddala ku ddiini ez’obulimba.
5:1-7; 6:1-12. Yakuwa asobola okukola kyonna ekisoboka n’ayamba abaweereza be okutuukiriza ky’ayagala.
6:14, 22. Bwe tubeera abanyiikivu mu buweereza, Yakuwa ajja kutuwa emikisa.
6:21. Bwe baalaba ng’omulimu gwa Yakuwa gugenda bukwaku, Abasamaliya abaali babeera mu Buyudaaya n’Abaisiraeri abaakomawo ku butaka abaali beenyigira mu bikolwa eby’ekikaafiiri, baalekayo ebikolwa byabwe ebibi. Naffe twandikoze omulimu ogwatuweebwa Katonda ogw’okulangirira amawulire g’Obwakabaka tusobole okuyamba abantu okuleka ebikolwa byabwe ebikyamu.
EZERA AKOMAWO E YERUSAALEMI
Omwaka gwa 468 B.C.E era waakayita emyaka ng’ataano kasookedde yeekaalu eweebwaayo eri Yakuwa. Ezera akomawo ku butaka awamu n’Abaisiraeri abamu abaali bakyasigadde e Babulooni. Ajja ne ssente nnyingi awamu n’ebintu n’ebirala ebimuweereddwa. Bw’atuuka e Yerusaalemi, asangayo mbeera ki?
Abakungu bamugamba nti: “Abantu ba Isiraeri ne bakabona n’Abaleevi tebeeyawudde na mawanga ag’omu nsi nga bakola okugoberera emizizo gyabwe.” Ate era beeyongera ne bamugamba nti, “omukono gw’abakulu n’abafuga gwe gusinze okwonoona bwe gutyo.” (Ezera 9:1, 2) Kino Ezera kimuggya enviiri ku mutwe. Kyokka abakungu bamugumya ne bamugamba nti ‘guma omwoyo obeeko ky’okolawo.’ (Ezera 10:4) Ezera akubiriza abantu okulekera awo okukolagana n’ab’amawanga era abantu bakikola.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
7:1, 7, 11—Ennyiriri zino zonna zoogera ku Alutagizerugizi eyayimiriza omulimu gw’okuzimba yeekaalu? Nedda. Ekigambo Alutagizerugizi linnya oba kitiibwa ekyakozesebwanga ku bakabaka ababiri aba Buperusi. Omu ku bakabaka bano ayinza okuba yali Gawumata oba Baridiya, eyawa ekiragiro ky’okulekera awo okuzimba yeekaalu mu 522 B.C.E. Ezera we yajjira mu Yerusaalemi Alutagizerugizi eyaliwo mu kiseera ekyo ye Longimanusi.
7:28–8:20—Lwaki Abayudaaya bangi abaali mu Babulooni tebaali beetegefu kugenda Yerusaalemi na Ezera? Abayudaaya abaasooka okuva e Babulooni baali bamaze emyaka egisukka mu 60 nga bali ku butaka naye abantu baali bakyali batono nnyo mu Yerusaalemi. Bwe kityo omuntu okuddayo e Yerusaalemi yalinga alina okutandika obulamu obuppya ate ng’embeera teyali nnyangu n’akamu. Ensi yali njavu ate nga mu Babulooni waaliyo eby’obugagga bingi. Ate era, ekkubo lye baalina okuyitamu baali basobola okufuniramu akabi. N’olwekyo Omuntu okukkiriza okuddayo e Yerusaalemi kyali kimwetaagisa okuba n’okukkiriza okw’amaanyi, obuvumu era ng’atwala okusinza okulongoofu ng’ekintu ekikulu. Olaba ne Ezera yasooka kusaba Yakuwa amuwe amaanyi n’obuvumu okusobola okutindigga olugendo olwo! Amaka agasukka mu 1,500—oboolyawo nga bano be bantu nga 6,000—bakkiriza okuddayo ku butaka Ezera bwe yabazzaamu amaanyi. Ate era Ezera bwe yeeyongera okukubiriza abantu okuddayo e Yerusaalemi, abaleevi 38 n’Abanesinimu 220 baayanukula omulanga gwe.
9:1, 2—Lwaki tekyali kirungi n’akamu Abaisiraeri okuwasa abawala b’abamawanga? Eggwanga eryo eryali likomezeddwawo ku butaka lye lyalina okusinza okw’amazima era lyalina okulaba nti okusinza okwo tekwonoonebwa okutuusa Masiya lwe yandizze. N’olwekyo bwe baawasa abawala b’ab’amawanga, okusinza okwo kwali kuyinza okwonooneka. Olw’okuba abamu baali bawasizza abakazi abaali basinza bakatonda ab’obulimba, kyali kisobola okuviirako eggwanga lyonna okwetabika n’amawanga amakaafiiri. N’ekyandivuddemu okusinza okulongoofu kwandiggwereddewo ddala. Kati olwo, Masiya yandijjiridde b’ani? N’olwekyo tekyewuunyisa nti ezera yanyolwa olw’embeera gye yasanga mu Yerusaalemi!
10:3, 44—Lwaki Abaisiraeri baagoba abakazi bonna wamu n’abaana be baali babazaddemu? Singa abaana baali basigadde, abakazi abo baandikomyewo olw’abaana baabwe. Ate era abaana abo baali beetaaga okubeera ku lusegere lwa bamaama bwabwe.
Bye Tuyigamu:
7:10. Ezera yatuteerawo eky’okulabirako ekirungi kubanga yalinga munyiikivu mu kusoma n’okuyigiriza abalala Ekigambo kya Katonda. Bwe yalinga tannasoma Mateeka ga Yakuwa, yasookanga kusaba. Ng’asoma Amateeka ago yafangayo nnyo okumanya Yakuwa ky’agamba. Oluvannyuma yakoleranga ku ebyo bye yasomanga era n’abikozesanga okuyigiriza abalala.
7:13. Yakuwa ayagala abo abamuweereza n’okwagala.
7:27, 28; 8:21-23. Ezera yalaga nti alina obwesige mu Yakuwa n’amusaba amusobozese okutuuka obulungi e Yerusaalemi, era n’aba mwetegefu okuteeka obulamu bwe mu kabi olw’okuweesa Katonda ekitiibwa. Mu kukola kino yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi.
9:2. Tusaanidde okukitwala nga kikulu nnyo okuwasa “mu Mukama waffe.”—1 Abakkolinso 7:39.
9:14, 15. Okukwana ababi kisobola okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.
10:2-12, 44. Abantu abaali bawasizza abawala okuva mu b’amawanga beenenya era ne bagoba abakazi abo. Ekyo kye baakola kyali kya kulabirako kirungi gye tuli.
Yakuwa Atuukiriza Ebisuubizo Bye
Ng’ekitabo kya Ezera kya mugaso nnyo gye tuli! Yakuwa yaggya abantu be e Babulooni n’abazzaayo ku butaka e Yerusaalemi era ne basobola okuzzaawo okusinza okw’amazima mu kiseera kyennyini ekyali kyayogerwako mu bunnabbi. Ekyo tekinyweza okukkiriza kwaffe mu Yakuwa n’ebisuubizo bye?
Lowooza ku abo abaateekawo ekyokulabirako ekirungi aboogerwako mu kitabo kya Ezera. Ezera ne banne abaakomawo e Yerusaalemi ne bazzaawo okusinza okulongoofu baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi eky’okwemalira ku Katonda. Ekitabo kino kyogera ku kukkiriza ku abo abataali Bayudaaya abaali batya Katonda n’abo abaalaga obwetoowaze ne beenenya. Mazima ddala ebyo ebiri mu kitabo kya Ezera byongera okukakasa nti “ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi.”—Abaebbulaniya 4:12.
[Ekipande/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
BAKABAKA BA BUPERUSI OKUVA MU 573 OKUTUUKA 468 B.C.E.
Kuulo Omukulu (Ezera 1:1) yafa mu 530 B.C.E.
Kambisesi, oba Akaswero (Ezera 4:6) 530-22 B.C.E.
Alutagizerugizi—Baridiya (Ezera 4:7) 522 B.C.E. (Yattibwa oluvannyuma
oba Gawumata lw’okufugira emyezi musanvu gyokka)
Daliyo I (Ezera 4:24) 522-486 B.C.E.
Alutagizerugizi Longimanusi (Ezera 7:1) 475-24 B.C.E.
[Obugambo obuli wansi]
a Zaakisisi tayogerwako mu kitabo kya Ezera. Ayogerwako nga Akaswero mu kitabo kya Eseza.
[Ekifaananyi]
Akaswero
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Kuulo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Ejjinja okwali ekiragiro kya Kuulo eky’okuleka Abaisiraeri okuddayo ku butaka
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Cylinder: Photograph taken by courtesy of the British Museum
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Omanyi ensonga lwaki Ezera yali musomesa mulungi?