Oluyimba 87
Tufuuse Muntu Omu
Printed Edition
1. Ono ggumba lyange era
Nnyama yange; Sikyali nzekka.
Katonda ’mpadde munnange,
Gwe nnaabanga naye.
Ffe tufuuse Muntu omu;
Yakuwa ky’ayagala tube.
Ng’omusajja n’omukazi,
Kati tuli maka.
Tujja kuweereza Katonda.
N’obuyambi bwe,
tujja kwagalana nnyo.
Nga bwe tulayidde ffembi,
Ka kibeerere ddala kityo.
Tumuweese ekitiibwa,
Era nange nkwagale nnyo.
(Era laba Lub. 29:18; Mub. 4:9, 10; 1 Kol. 13:8.)