Oluyimba 110
Ebikolwa bya Katonda eby’Ekitalo
Printed Edition
1. Katonda wange ommanyi nze,
Bwe nneebaka ne bwe ngolokoka.
Okebera ebirowoozo byange,
Enjogera yange
n’amakubo gange.
Wandaba bwe nnali ntondebwa;
Amagumba gange wagalaba.
Wandaba nga sinnaba kuzaalibwa.
Ntendereza ’maanyi go
n’obuyinza bwo.
Okumanya kwo nga kwa kitalo nnyo!
Ekyo nze nkimanyi bulungi nnyo.
Ne bwe mba mbuutikiddwa enzikiza,
Omwoyo gwo guba guntuukako.
Wa gye nnyinza okukwekweka,
Ne mba nga sirabibwa ’maaso go?
Waggulu oba wansi Emagombe,
Tewali kifo gye nnyinza kukwekweka.
(Era laba Zab. 66:3; 94:19; Yer. 17:10.)