Oluyimba 133
Noonya Katonda Akununule
Printed Edition
1. ’Mawanga geekobye
Okuziyiza Kristo.
Ekiseera ky’obufuzi
Bw’abantu kiweddeko.
Bugenda kuvaawo;
’Bwa Katonda buddewo;
Kristo aggyewo ’balabe be.
Kya kubaawo mangu nnyo.
(Chorus)
Noonya Yakuwa Katonda,
Y’ajja okukununula.
Noonyanga
obutuukirivu bwe;
Londawo obufuzi bwe.
Ajja kukununula ggwe
Olw’amaanyi ge.
2. ’Bantu babuulirwa,
’Mawulire ’malungi.
Kaakano okusalawo
Kusigadde gye bali.
Ebizibu bingi,
Naye tuleme kutya.
Yakuwa atulumirirwa;
Ajja kutwanukula.
(Chorus)
Noonya Yakuwa Katonda,
Y’ajja okukununula.
Noonyanga
obutuukirivu bwe;
Londawo obufuzi bwe.
Ajja kukununula ggwe
Olw’amaanyi ge.
(Era laba 1 Sam. 2:9; Zab. 2:2, 3, 9; Nge. 2:8; Mat. 6:33.)