LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 10/12 lup. 1
  • Osobola Okubuulira mu Biseera eby’Akawungeezi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Osobola Okubuulira mu Biseera eby’Akawungeezi?
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Similar Material
  • Oyinza Okukyusa mu Nteekateeka Yo?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Okubuulira Nnyumba ku Nnyumba
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Kozesa Bulungi Ebiseera Byo ng’Oli mu Buweereza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Okunoonya Abo Abasaanira
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
km 10/12 lup. 1

Osobola Okubuulira mu Biseera eby’Akawungeezi?

1. Okusinziira ku kitabo ekimu, ddi omutume Pawulo lwe yabuuliranga nnyumba ku nnyumba?

1 Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa Daily Life in Bible Times, omutume Pawulo yabuuliranga nnyumba ku nnyumba “okuva ku ssaawa 10 ez’olweggulo, okutuusiza ddala ekiro.” Tetuli bakakafu obanga eno y’enteekateeka yennyini Pawulo gye yagobereranga, naye kye tumanyi kiri nti Pawulo ‘yakolanga ebintu byonna olw’amawulire amalungi.’ (1 Kol. 9:19-23) Alina okuba nga yakyusakyusanga mu nteekateeka ze asobole okubuulira nnyumba ku nnyumba mu kiseera abantu abasinga obungi we baabeereranga awaka.

2. Miganyulo ki egiri mu kubuulira mu biseera eby’akawungeezi?

2 Wakati mu wiiki, ababuulizi mu bitundu bingi batera okubuulira nnyumba ku nnyumba mu biseera eby’oku makya. Naye kiri kitya mu kitundu ky’obuulirmu? Payoniya omu agamba nti: “Si kyangu kusanga bantu waka emisana. Abantu abasinga obungi babeerawo mu biseera eby’akawungeezi.” Olw’okuba abasajja batera okuba awaka mu biseera eby’akawungeezi, bw’obuulira mu biseera ebyo, osobola okubatuusaako amawulire amalungi. Mu biseera ng’ebyo, abantu baba beetegefu okuwuliriza olw’okuba tebaba na bya kukola bingi. Bwe kiba nga kinaaba kya muganyulo, abakadde bayinza okuteekateeka enkuŋŋaana z’okubuulira mu biseera eby’akawungeezi.

3. Tuyinza tutya okukozesa amagezi nga tubuulira mu biseera eby’akawungeezi?

3 Kozesa Amagezi: Kyetaagisa okukozesa amagezi ng’obuulira mu biseera eby’akawungeezi. Ng’ekyokulabirako, singa osanga omuntu ng’alina ky’akola, era nga tayagala kumutataaganya, kiba kirungi okumusaba oddeyo olunaku olulala. Bw’okonkona ku luggi lw’omuntu, yimirira w’asobola okukulabira obulungi, weeyanjule mu bwangu, era mutegeeze ensonga ekututte. Si kirungi kugenda mu maka g’abantu ng’obudde buzibye. (2 Kol. 6:3) Weewale ebitundu ebiyinza okuba eby’omutawaana ng’obudde butandise okuziba.​—Nge. 22:3.

4. Mikisa ki gye tufuna bwe tubuulira mu biseera eby’akawungeezi?

4 Emikisa Egivaamu: Okuwa abantu obujulirwa, kituleetera essanyu lingi. Ate era gye tukoma okuwa obujulirwa gye tukoma okufuna akakisa ak’okuyamba abantu ‘okulokolebwa n’okutegeerera ddala amazima.’ (1 Tim. 2:3, 4) Osobola okukyusakyusa mu nteekateeka zo kikusobozese okubuulira mu biseera eby’akawungeezi?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share