Oluyimba 92
“Buulira Ekigambo”
1. Katonda ’tuwadde ffenna
Ekiragiro ky’okugondera.
Beera mwetegefu bulijjo
’Kunnyonnyola essuubi ly’olina.
(CHORUS)
Buuliranga,
Bawulirenga bonna!
Buulira,
Enkomerero ejja.
Buulira,
Yamba abawombeefu
Buulira,
Wonna wonna!
2. Ebizibu tubiraba;
Tuziyizibwa, tujolongebwa.
Wadde abamu tebasiima,
Tusigala twesiga Katonda.
(CHORUS)
Buuliranga,
Bawulirenga bonna!
Buulira,
Enkomerero ejja.
Buulira,
Yamba abawombeefu
Buulira,
Wonna wonna!
3. Emikisa tugiraba,
N’obwetaavu bw’okuyigiriza.
Tumanyisa obulokozi,
Tutukuza ’linnya lya Yakuwa.
(CHORUS)
Buuliranga,
Bawulirenga bonna!
Buulira,
Enkomerero ejja.
Buulira,
Yamba abawombeefu
Buulira,
Wonna wonna!
(Era laba Mat. 10:7; 24:14; Bik. 10:42; 1 Peet. 3:15.)