OLUYIMBA 69
Weeyongere Okubuulira Obwakabaka!
Printed Edition
1. Tubuulire abantu bonna
Mu nsi ku Bwakabaka.
Tuyambenga abawombeefu,
Twolese okwagala.
Nkizo ’kuweereza Katonda;
Tubuulira ’kigambo kye.
Weeyongere okubuulira;
Manyisanga erinnya lye.
(CHORUS)
Weeyongere ’maaso
’kubuulira Obwakabaka.
Weeyongere ’kunywerera
ku ludda lwa Yakuwa.
2. Ffenna tweyongera mu maaso
Wamu n’ensigalira.
Abakadde n’abavubuka
Tunywezezza ’mazima.
Amawulire amalungi
Buli muntu ageetaaga.
Katonda y’atuwa amaanyi;
Ye nsonga lwaki tetutya!
(CHORUS)
Weeyongere ’maaso
’kubuulira Obwakabaka.
Weeyongere ’kunywerera
ku ludda lwa Yakuwa.
(Laba ne Zab. 23:4; Bik. 4:29, 31; 1 Peet. 2:21.)