Oluyimba 17
Mugende mu Maaso, Mmwe Abajulirwa!
1. Mu nnaku zino ez’enkomerero,
Abantu ba Katonda bamalirivu.
Wadde Sitaani yeecwacwanye,
Katonda waffe atuwa amaanyi.
(CHORUS)
Mugende mu maaso, mmwe Abajulirwa!
Musanyuke mu mulimu gwa Katonda!
Mumanyise Olusuku lwa Katonda,
Emikisa gyalwo ginaatera.
2. Abalwanyi ba Ya tebagayaala;
Ensi tebagezaako kugisanyusa.
Tebalina mabala gaayo,
Bakuuma obugolokofu bwabwe.
(CHORUS)
Mugende mu maaso, mmwe Abajulirwa!
Musanyuke mu mulimu gwa Katonda!
Mumanyise Olusuku lwa Katonda,
Emikisa gyalwo ginaatera.
3. Obwakabaka bwa Ya bugaaniddwa;
Linnya lye ’kkulu lisiigiddwa enziro.
Tufeeyo okulitukuza,
N’okulirangirira mu nsi yonna.
(CHORUS)
Mugende mu maaso, mmwe Abajulirwa!
Musanyuke mu mulimu gwa Katonda!
Mumanyise Olusuku lwa Katonda,
Emikisa gyalwo ginaatera.
(Era laba Baf. 1:7; 2 Tim. 2:3, 4; Yak. 1:27.)