Oluyimba 105
Eggulu Lyoleka Ekitiibwa kya Katonda
Printed Edition
1. Eggulu litendereza Yakuwa.
’Bwengula bwoleka nnyo ekitiibwa kye.
Buli lukya ’ttendo lidda gy’ali.
’Mmunyeenye ’zaaka ekiro Zoolesa ’maanyi ge.
2. Etteeka lya Yakuwa lya bulamu,
Era liruŋŋamya ’bakulu n’abato.
’Biragiro bye bya nnamaddala.
’Kigambo kye kirongoofu; Kituwoomera nnyo.
3. Okutya Yakuwa kwa lubeerera.
Era ’mateeka ge gasinga ne zzaabu.
By’alagira bikuuma ’bantu be.
Tukuume ekitiibwa kye Era n’ettuttumu.
(Era laba Zab. 111:9; 145:5; Kub. 4:11.)