ESSUULA 17
‘Amagezi ga Katonda nga ga Buziba!’
1, 2. Ekigendererwa kya Yakuwa eky’olunaku olw’omusanvu kye kiruwa, era amagezi ge gaali gagenda kugezesebwa gatya ku ntandikwa y’olunaku olwo?
OMUNTU, ekitonde eky’ekitiibwa ekyasembayo okutondebwa ku lunaku olw’omukaaga, yafiirwa ekitiibwa kye yalina. Yagwa mu mitawaana! Yakuwa yali agambye nti ‘byonna bye yakola,’ nga mw’otwalidde n’abantu, byali ‘birungi nnyo.’ (Olubereberye 1:31) Kyokka ku ntandikwa y’olunaku olw’omusanvu, Adamu ne Kaawa baasalawo okwegatta ku Sitaani mu kumujeemera. Baafuuka abantu aboonoonyi, abatatuukiridde, era oluvannyuma bandifudde.
2 Ekigendererwa kya Yakuwa eky’olunaku olw’omusanvu kyalabika ng’ekyali kigenda okugwa obutaka. Olunaku olwo, okufaananako na ziri omukaaga ezaasookawo, lwali lwa kumala emyaka nkumi na nkumi. Yakuwa yali alulangiridde okuba olutukuvu, era we lwandiggweereddeko, ensi yonna yandibadde efuuse olusuku lwe olujjudde abantu abatuukiridde. (Olubereberye 1:28; 2:3) Naye oluvannyuma lw’obujeemu obwaliwo, ekyo kyandisobose kitya okubaawo? Katonda yandikoze ki? Wano amagezi ga Yakuwa gaali gagenda kugezesebwa, oboolyawo mu ngeri esingirayo ddala.
3, 4. (a) Lwaki engeri Yakuwa gye yakwatamu ensonga y’obujeemu mu obwali mu Edeni eyoleka amagezi ge amangi ennyo? (b) Bwe twekenneenya ebikwata ku magezi ga Yakuwa, kintu ki ekikulu kye tutegeera?
3 Yakuwa alina kye yakolawo amangu ddala. Yasalira abajeemu omusango, era mu kiseera kye kimu n’amanyisa ekintu kino ekikulu: ekigendererwa kye eky’okumalawo ebizibu ebyali bizzeewo. (Olubereberye 3:15) Ekigendererwa kya Yakuwa kyali kya kutwala enkumi n’enkumi z’emyaka, okuva mu kiseera ky’abantu abaasooka okutuukira ddala mu biseera eby’omu maaso. Ekigendererwa ekyo kyangu okutegeera kyokka nga kigazi nnyo, ne kiba nti omusomi wa Bayibuli ayinza okumala obulamu bwe bwonna ng’akyekenneenya. Ate era ekigendererwa kya Yakuwa mu buli ngeri kijja kutuukirira. Bwe kinaatuukirira, ebintu ebibi byonna, ekibi, n’okufa bijja kukoma. Abantu abeesigwa bajja kufuuka abatuukiridde. Bino byonna bijja kubaawo ng’olunaku olw’omusanvu terunnaba kuggwaako. Bwe kityo, ekigendererwa kya Yakuwa eri ensi n’abantu kijja kutuukirizibwa mu kiseera kyennyini ekituufu!
4 Mazima ddala amagezi ga Yakuwa gatuleetera okumussaamu ennyo ekitiibwa. Omutume Pawulo yagamba nti: ‘Amagezi ga Katonda, nga ga buziba!’ (Abaruumi 11:33) Bwe twekenneenya ebintu ebitali bimu ebikwata ku magezi ga Katonda, tutegeera ekintu kino ekikulu ennyo: omuntu ne bw’ayiga ebintu bingi nnyo ku Yakuwa, bitono nnyo by’asobola okutegeera ku magezi ge ag’ebuziba. (Yobu 26:14) Ka tusooke twekenneenye engeri eno ewuniikiriza.
Amagezi ga Katonda Kye Ki?
5, 6. Kakwate ki akaliwo wakati w’okumanya n’amagezi, era okumanya kwa Yakuwa kwenkana wa?
5 Amagezi n’okumanya byawukana. Ng’ekyokulabirako, kompyuta zisobola okutereka obubaka bungi obusobola okutuyamba okumanya ebintu ebitali bimu, naye tetuyinza kugamba nti zirina amagezi. Wadde kiri kityo, okumanya n’amagezi birina akakwate. (Engero 10:14) Ng’ekyokulabirako, singa obadde oyagala okuweebwa amagezi ku kujjanjaba obulwadde obw’amaanyi, wandyebuuzizza ku muntu amanyi ekitono kabekasinge atamanyidde ddala bikwata ku bya bujjanjabi? N’akatono! N’olwekyo, omuntu okusobola okubeera n’amagezi aga nnamaddala, kimwetaagisa okuba n’okumanya okutuufu.
6 Yakuwa alina okumanya okutaliiko kkomo. Nga “Kabaka ow’emirembe n’emirembe,” ye yekka abadde omulamu emirembe gyonna. (Okubikkulirwa 15:3) Mu kiseera ekyo kyonna ekitabalika, abadde amanyi byonna ebigenda mu maaso. Bayibuli egamba nti: “Tewali kitonde kyonna ekitalabika mu maaso ge, naye ebintu byonna byeruliddwa era birabibwa oyo gwe tugenda okunnyonnyola bye twakola.” (Abebbulaniya 4:13; Engero 15:3) Olw’okuba ye Mutonzi, Yakuwa amanyi bulungi byonna bye yatonda, era alabye ebikolwa by’abantu okuviira ddala ku ntandikwa. Akebera buli mutima gwa muntu n’amanya buli kimu ekimukwatako. (1 Ebyomumirembe 28:9) Okuva Katonda bwe yatutonda nga tulina eddembe ly’okwesalirawo, asanyuka bwe tusalawo mu ngeri ey’amagezi mu bulamu bwaffe. Oyo “awulira okusaba” awuliriza okusaba kwa nnamungi w’abantu mu kiseera kye kimu! (Zabbuli 65:2) Era obusobozi bwa Yakuwa obw’okujjukira tebukoma.
7, 8. Yakuwa ayoleka atya okutegeera n’amagezi?
7 Yakuwa takoma ku kumanya bumanya bintu. Era amanyi n’engeri ebintu ebitali bimu gye bikwataganamu, bwe kityo n’afunira ddala ekifaananyi ekituufu ku kintu. Yeekenneenya bulungi ensonga n’ayawula ekirungi ku kibi, ekikulu ku kitali kikulu. Ate era talaba ekyo kye tuli kungulu kyokka, wabula alaba n’ekyo kye tuli munda. (1 Samwiri 16:7) Bwe kityo, Yakuwa alina okutegeera, n’obusobozi bw’okwekenneenya obulungi ensonga, era engeri ezo zisingira ewala okumanya. Kyokka era amagezi gasingira wala engeri ezo.
8 Okuba n’amagezi kitegeeza okukozesa okumanya n’okutegeera n’obaako ky’okolawo. Mu butuufu, ebimu ku bigambo ebiri mu Bayibuli ebivvuunulwa “amagezi,” obutereevu bitegeeza “okukola okuvaamu ebibala” oba “amagezi ag’omuganyulo.” N’olwekyo, amagezi ga Yakuwa tegali mu bigambo bugambo, ga muganyulo era gakola. Nga yeeyambisa okumanya kwe okungi n’okutegeera kwe okw’ekitalo, Yakuwa asalawo mu ngeri esingayo obulungi ng’akozesa enkola ezisingayo obulungi. Ago ge magezi aga nnamaddala! Mu butuufu ebigambo bya Yesu bino bituukirawo ku Yakuwa: “Ebintu eby’obutuukirivu omuntu by’akola bye biraga nti wa magezi.” (Matayo 11:19) Byonna Yakuwa bye yatonda byoleka amagezi ge amangi.
Ebitonde Byoleka Amagezi ga Katonda
9, 10. (a) Yakuwa alina magezi ga ngeri ki, era agoolesa atya? (b) Akatoffaali kooleka katya amagezi ga Yakuwa?
9 Omuntu omukugu bw’akola ekintu ekirabika obulungi era ekikola obulungi, kikwewuunyisa? (Okuva 31:1-3) Yakuwa kennyini ye nsibuko y’amagezi ng’ago. Kabaka Dawudi yayogera bw’ati ku Yakuwa: “Nkutendereza kubanga nnakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa era ey’ekitalo. Emirimu gyo gya kitalo nnyo, ekyo nkimanyi bulungi.” (Zabbuli 139:14) Mazima ddala, gye tukoma okuyiga ku mubiri gw’omuntu, gye tukoma okuwuniikirira olw’amagezi ga Yakuwa.
10 Ng’ekyokulabirako, obulamu bwo bwatandika ng’eggi lya maama wo n’erya taata wo geegasse ne gavaamu akatoffaali kamu. Mangu ddala akatoffaali ako kaatandika okweyawulamu ne kavaamu obulala bungi. Ggwe, eyavaamu ku nkomerero, olina obutoffaali obusoba mu buwumbi emitwalo kkumi. Obutoffaali obwo busirikitu ne kiba nti obutoffaali nga 10,000 bugya ku mutwe gwa ppini. Kyokka, buli kamu kaakolebwa mu ngeri ya kitalo nnyo. Akatoffaali kaakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa okusinga ekyuma kyonna oba ekkolero lyonna eryakolebwa omuntu. Bannasayansi bagamba nti akatoffaali kalinga ekibuga ekirina bbugwe; kalina awafulumirwa n’awayingirirwa, enteekateeka y’eby’entambula, eby’empuliziganya, ekkolero ly’amasannyalaze, n’amakolero amalala, aw’okusuula kasasiro, eby’okwerinda, ne gavumenti eya wakati mu makkati waako. Okugatta ku ekyo, akatoffaali kayinza okwekolamu akatoffaali akalala akakafaananira ddala mu ssaawa ntono nnyo!
11, 12. (a) Kiki ekireetera obutoffaali bw’omwana eyakatondebwa mu lubuto lwa nnyina okweyawulayawula, era kino kituukana kitya ne Zabbuli 139:16? (b) Obwongo bw’omuntu bulaga butya nti ‘twakolebwa mu ngeri ey’ekitalo’?
11 Kya lwatu nti obutoffaali bwonna tebufaanagana. Obutoffaali bwe bugenda bweyawulayawulamu ne buwera, bufuna emirimu egy’enjawulo. Obumu bufuuka butoffaali obw’obusimu, obulala bufuuka bwa magumba, binywa, musaayi, oba bwa maaso. Okweyawulayawula okwo kwawandiikibwa mu biwandiiko eby’ensikirano ebiyitibwa DNA (Endagabutonde) ebiri munda mu katoffaali. Dawudi yaluŋŋamizibwa okwogera bw’ati eri Yakuwa: “Amaaso go gandaba nga ndi mu lubuto lwa mmange; ebitundu by’omubiri gwange byonna byawandiikibwa mu kitabo kyo.”—Zabbuli 139:16.
12 Ebitundu ebimu eby’omubiri byakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa ennyo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bwongo. Abamu babwogeddeko ng’ekintu ekyakolebwa mu ngeri esingirayo ddala okwewuunyisa mu butonde bwonna. Bulimu obutoffaali obw’obusimu ng’obuwumbi 100, omuwendo oboolyawo ogwenkanankana n’emmunyeenye eziri mu kibinja ky’emmunyeenye mwe tuli. Buli kamu ku butoffaali obwo kavaako enkumi n’enkumi z’obulandira obweyunga ku butoffaali obulala. Bannasayansi bagamba nti obwongo bw’omuntu busobola okutereka byonna ebiri mu bitabo ebiri mu materekero g’ebitabo agali mu nsi yonna era nti obusobozi bw’obwongo obw’okutereka ebintu tebuyinza kupimibwa. Wadde nga bannassaayansi bamaze emyaka mingi nnyo nga bayiga ebikwata ku bwongo ‘obwakolebwa mu ngeri ey’ekitalo,’ bagamba nti tebayinza kutegeerera ddala mu bujjuvu engeri gye bukolamu.
13, 14. (a) Enkuyege n’ebitonde ebirala biraga bitya nti ‘birina amagezi agaabitonderwamu,’ era ekyo kituyigiriza ki ku Oyo eyabitonda? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti ebintu ng’ekiyumba kya nnabbubi byoleka amagezi ga Yakuwa?
13 Kyokka abantu kyakulabirako kimu kyokka ekyoleka amagezi ga Yakuwa ge yakozesa okutonda. Zabbuli 104:24, wagamba nti: “Bye wakola nga bingi, Ai Yakuwa! Byonna wabikola n’amagezi. Ensi ejjudde ebintu bye wakola.” Amagezi ga Yakuwa geeyolekera mu byonna bye yatonda. Ng’ekyokulabirako, enkuyege ‘erina amagezi agaagitonderwamu.’ (Engero 30:24) Enkuyege zirina enteekateeka ennungi. Ezimu zirabirira ebiwuka ebimu, era oluvannyuma ne zibirya nga gy’obeera ebiwuka ebyo bisolo ebirundibwa. Enkuyege endala nnimi, era zirina ebimera bye zirima. Waliwo ebitonde ebirala bingi ebyakolebwa nga bisobola okukola ebintu ebyewuunyisa. Ensowera esobola okwebonga mu bbanga mu ngeri eyeewuunyisa, ennyonyi yonna ekoleddwa omuntu gy’etayinza kwebongamu. Ebinyonyi ebisengukira mu bifo ebirala byeyambisa emmunyeenye oba mmaapu eyabitonderwamu, okumanya gye bigenda. Bannasayansi bamala emyaka mingi nga bayiga ebikwata ku nneeyisa y’ebitonde ebyo. Oyo eyabitonda ng’ateekwa okuba nga mugezi nnyo!
14 Bannasayansi bayize bingi okuva ku ebyo Yakuwa bye yatonda. Waliwo n’essomo lya ssaayansi erikwata ku kukoppa ebintu ebyatondebwa. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba weewuunya nnyo bw’otunuulira ekiyumba kya nnabbubi. Kyokka ye munnassaayansi bw’akitunuulira alaba nti kyakolebwa mu ngeri ya kitalo. Wuzi z’ekiyumba ekyo zirabika ng’ennafu, naye ziba ŋŋumu okusinga ekyuma, era za maanyi okusinga wuzi eziba mu kyambalo ekitayitamu masasi. Ŋŋumu kwenkana wa? Teeberezaamu ng’ekiyumba kya nnabbubi kigaziyiziddwa okwenkana akatimba akakozesebwa okuvuba. Ekiyumba ekyo kiba kigumu nnyo ne kiba nti kisobola okuziyiza ennyonyi y’abasaabaze okukiyitamu! Mazima ddala, Yakuwa yakola ebintu ebyo byonna ‘mu magezi.’
Ebisolo birina “amagezi agaabitonderwamu.” Ani yabiwa amagezi ago?
Amagezi mu Ngeri Gye Yateekateekamu Emmunyeenye ne Bamalayika
15, 16. (a) Emmunyeenye zituyigiriza ki ku magezi ga Yakuwa? (b) Ekifo kya Yakuwa ng’Omuduumizi ow’Oku Ntikko alina obuyinza ku bamalayika abangi ennyo kiraga ki ku magezi ge?
15 Amagezi ga Yakuwa geeyolekera mu byonna bye yatonda. Emmunyeenye ze twayogerako mu Ssuula 5, zaategekebwa bulungi mu bwengula. Olw’amagezi ga Yakuwa ageeyolekera mu “mateeka ag’omu bwengula,” emmunyeenye zaategekebwa bulungi mu bibinja byazo, ate nabyo ne bitegekebwa mu gabinja aganene ennyo. (Yobu 38:33, The New Jerusalem Bible) Tekyewuunyisa nti Yakuwa ayogera ku bitonde eby’omu ggulu nga “eggye”! (Isaaya 40:26) Kyokka waliwo eggye eddala eryoleka amagezi ga Yakuwa mu ngeri esingawo.
16 Nga bwe twalaba mu Ssuula 4, Katonda ayitibwa “Yakuwa ow’eggye” olw’ekifo kye ng’Omuduumizi ow’Oku Ntikko, ow’eggye ly’obukadde n’obukadde bw’ebitonde eby’omwoyo. Buno bujulizi obulaga amaanyi ga Yakuwa. Kyokka era bulaga n’amagezi ge. Mu ngeri ki? Lowooza ku kino: Yakuwa ne Yesu bulijjo baba n’eby’okukola. (Yokaana 5:17) N’olwekyo, kya magezi okugamba nti ne bamalayika abaweereza Oyo Asingayo Okuba Waggulu nabo bulijjo baba n’eby’okukola. Era kijjukire nti ba waggulu nnyo, bagezi nnyo, era ba maanyi nnyo okusinga abantu. (Abebbulaniya 1:7; 2:7) Kyokka Yakuwa awadde bamalayika abo bonna eby’okukola bingi okumala obuwumbi n’obuwumbi bw’emyaka. ‘Bakolera ku kigambo kye’ era ‘bagondera eddoboozi lye’ nga basanyufu. (Zabbuli 103:20, 21) Amagezi ge nga ga kitalo!
Yakuwa Ye ‘Wa Magezi Yekka’
17, 18. Lwaki Bayibuli egamba nti Yakuwa ye ‘wa magezi yekka,’ era lwaki amagezi ge gatuwuniikiriza?
17 Okusinziira ku ebyo bye tulabye, tekyewuunyisa nti mu Bayibuli Yakuwa atenderezebwa ng’oyo asingayo okuba ow’amagezi. Ng’ekyokulabirako, egamba nti Yakuwa ye ‘wa magezi yekka.’ (Abaruumi 16:27) Yakuwa yekka y’alina amagezi mu bujjuvu. Ye Nsibuko y’amagezi aga nnamaddala. (Engero 2:6) Eyo ye nsonga lwaki, wadde nga Yesu ye yali asinga ebitonde bya Yakuwa byonna amagezi, teyeesigama ku magezi ge, wabula yakolanga ekyo Kitaawe kye yamulagira.—Yokaana 12:48-50.
18 Weetegereze engeri omutume Pawulo gye yayogera ku magezi ga Yakuwa ag’ekitalo. Yagamba nti: “Obugagga bwa Katonda n’amagezi ge n’okumanya kwe nga bya buziba! Ensala ye ey’emisango nzibu okutegeerera ddala mu bujjuvu, n’amakubo ge gonna tetusobola kugategeera ne tugamalayo.” (Abaruumi 11:33) Ebigambo ebyo biraga nti Pawulo yawuniikirira nnyo olw’amagezi ga Katonda. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa nti “bya buziba” kirina akakwate n’ekigambo “obunnya.” Bwe kityo, ebigambo bye bituyamba okukuba akafaananyi. Bwe tufumiitiriza ku magezi ga Yakuwa, tuba ng’abatunula mu kinnya ekiwanvu ennyo ekitakoma, kye tutayinza kutegeera buwanvu bwakyo, wadde okumanya kalonda yenna akikwatako. (Zabbuli 92:5) Ekyo kituyamba okukiraba nti tuli ba wansi nnyo ku Yakuwa.
19, 20. (a) Lwaki empungu kabonero akatuukirawo akalaga amagezi ga Katonda? (b) Yakuwa alaze atya obusobozi bwe obw’okulaba ebiri mu biseera eby’omu maaso?
19 Yakuwa ye ‘wa magezi yekka’ ne mu ngeri endala: Ye yekka amanyi ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Jjukira nti Yakuwa akozesa empungu eraba ewala okukiikirira amagezi ge. Empungu ezitowa kilo nga 5 zokka, kyokka amaaso gaayo gasinga ag’omuntu omukulu obunene. Empungu esobola okulaba omuyiggo gwayo ng’eri wala nnyo mu bbanga! Yakuwa kennyini yayogera bw’ati ku mpungu: “Amaaso gaayo galaba wala.” (Yobu 39:29) Mu ngeri y’emu, Yakuwa asobola okulaba ‘ewala ennyo’ mu biseera eby’omu maaso!
20 Bayibuli ejjudde obujulizi obukakasa ekyo. Erimu obunnabbi nkumi na nkumi. Ebyandivudde mu ntalo, okuyimuka n’okugwa kw’obufuzi kirimaanyi, n’engeri abaduumizi b’amagye abamu gye bandirwanyemu, byonna byalagulwa mu Bayibuli. Ebimu ku byo byalagulwa ng’ebulayo emyaka bikumi na bikumi bituukirire.—Isaaya 44:25–45:4; Danyeri 8:2-8, 20-22.
21, 22. (a) Lwaki tetuyinza kugamba nti Yakuwa yamanya dda byonna by’onoosalawo mu bulamu? Waayo ekyokulabirako. (b) Tumanya tutya nti amagezi ga Yakuwa gooleka okwagala n’obusaasizi?
21 Naye kino kitegeeza nti Katonda yamanya dda by’onoosalawo mu biseera eby’omu maaso? Abamu bagamba nti bwe kityo bwe kiri. Kyokka endowooza ng’eyo ekontana n’amagezi ga Yakuwa, kubanga kiba kitegeeza nti tayinza kufuga busobozi bwe obw’okumanya ebiri mu maaso. Ng’ekyokulabirako, singa walina eddoboozi eddungi ennyo era ng’osobola okuyimba obulungi, wandibadde buli kiseera olikozesa kuyimba? Nedda! Mu ngeri y’emu, Yakuwa alina obusobozi bw’okumanya ebiri mu biseera eby’omu maaso, naye tabukozesa buli kiseera. Singa yali abukozesa buli kiseera, yandibadde ayingirira eddembe lyaffe ery’okwesalirawo, ekirabo eky’omuwendo ky’atayinza kutuggyako.—Ekyamateeka 30:19, 20.
22 N’ekisinga obubi, okugamba nti buli kimu yakiteekateeka dda nga tekinnabaawo, kiba kiraga nti amagezi ga Katonda tegooleka kwagala, kisa, wadde obusaasizi. Naye ekyo si kituufu n’akamu! Bayibuli egamba nti Yakuwa “alina omutima ogw’amagezi.” (Yobu 9:4, obugambo obuli wansi) Tekiri nti alina omutima ogwa ddala, naye Bayibuli etera okukozesa omutima okutegeeza omuntu ky’ali munda, ekizingiramu engeri ze gamba ng’okwagala. N’olwekyo, amagezi ga Yakuwa, okufaananako n’engeri ze endala zonna, gafugibwa kwagala.—1 Yokaana 4:8.
23. Lwaki tusaanidde okwesiga amagezi ga Yakuwa, era tukiraga tutya nti tugeesiga?
23 Amagezi ga Yakuwa geesigika. Gasingira wala amagezi gaffe ne kiba nti Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Weesigenga Yakuwa n’omutima gwo gwonna, era teweesigamanga ku kutegeera kwo. Mulowoozengako mu byonna by’okola, anaatereezanga amakubo go.” (Engero 3:5, 6) Ka tweyongere okuyiga ebikwata ku magezi ga Yakuwa tusobole okufuna enkolagana ennungi ne Katonda asingayo okuba ow’amagezi.