Oluyimba 94
Tuli Bamativu n’Ebirungi Katonda by’Atuwadde
Printed Edition
1. Ebirabo ebirungi,
Byonna bye twagala,
Byonna eby’omuganyulo
Biva wa Katonda.
Y’oyo atakyukakyuka
Emirembe gyonna.
Omugabi Asingayo ye
Yakuwa Katonda.
2. Tetweraliikirira lwa
Bintu bye twetaaga;
Oyo aliis’e binyonyi
Atulabirira.
Ebintu ebitaliimu
Ffe tebitutwala.
Tuli bamativu n’ebintu
Katonda by’atuwa.
3. ’Bantu bassa nnyo ’mwoyo ku
Bintu ’bitaliimu.
Tukulembeze ’bikulu
Tunaaganyulwamu.
Tunajjukirwa Katonda
Wadde nga tufudde.
Kirabo ’kuba bamativu;
Tukyagala nnyo ffe.
(Era laba Yer. 45:5; Mat. 6:25-34; 1 Tim. 6:8; Beb. 13:5.)