EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | NEKKEMIYA 9-11
Abaweereza ba Katonda Abeesigwa Bawagira Enteekateeka Ze
Abantu ba katonda baawagira okusinza okw’amazima mu ngeri ezitali zimu
- Abayisirayiri beeteekateeka era ne bakwata Embaga ey’Ensiisira mu ngeri entuufu 
- Buli lunaku abantu baakuŋŋaananga okuwuliriza ng’Amateeka gasomebwa, era ekyo kyabaleeteranga essanyu 
- Abantu beenenya ebibi byabwe, era ne basaba Katonda abawe emikisa 
- Abantu bakkiriziganya okweyongera okuwagira okusinza okw’amazima 
Okuwagira okusinza okw’amazima kwali kuzingiramu na bino:
- Okuwasa oba okufumbirwa abo bokka abasinza Yakuwa 
- Okuwangayo ssente 
- Okukwatanga Ssabbiiti 
- Okuleetanga enku ez’okukozesa ku kyoto 
- Okuwangayo eri Yakuwa ebibala ebibereberye n’ebisolo ebibereberye