Oluyimba 76
Yakuwa, Katonda wa Mirembe
Printed Edition
1. Yakuwa oli wa
Mirembe na kwagala.
Tuwe ’mirembe tubale
’Bibala ebirungi.
Obulamu bwaffe
Bwagulwa na Mwana wo.
Tuwe ’mirembe ‘gisukka
’Kutegeera kw’abantu.
2. Ensi enoonyezza
Emirembe n’ebulwa,
So ng’ate ffe abantu bo
’Mirembe tugirina.
Tufuba ’kukola
Ebyo ggwe by’oyagala.
Tuwe ’mikisa, ’mirembe
Gyaffe gyeyongerenga.
3. Ekigambo kyo ffe
Kye kitulagirira.
Tukuumiddwa nga tuli mu
Nsi ekutte ’nzikiza.
Ka emirembe gyo
Gitubudaabudenga;
Era n’emitima gyaffe
Gijja kukuumibwanga.
(Era laba Zab. 4:8; Baf. 4:6, 7; 1 Bas. 5:23.)