EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ESEZA 1-5
Eseza Yalwanirira Abantu ba Katonda
Eseza yayoleka okukkiriza okw’amaanyi n’obuvumu ng’alwanirira abantu ba Katonda
- Omuntu eyagenda eri kabaka nga tayitiddwa yabanga asobola okuttibwa. Waali wayiseewo ennaku 30 nga kabaka tayita Eseza kugenda gyali 
- Kabaka Akaswero era nga kirabika ye yayitibwanga Zakisiisi I, yali mukambwe nnyo. Lumu yalagira ne basalamu omusajja ebitundu bibiri, abeere ekyokulabirako eri abalala. Ate era mukyala we Vasuti bwe yamujeemera, yamuggya ku bwa nnaabakyala 
- Eseza yalina okubotola ekyama nti Muyudaaya, era n’okumatiza kabaka nti omuwabuzi we gwe yali yeesiga yali amulimbye