EKITUNDU 1
Katonda Tumuwuliriza Tutya?
Katonda ayogera naffe okuyitira mu Bayibuli. 2 Timoseewo 3:16
Katonda ow’amazima yakozesa abantu okuwandiika ebirowoozo bye mu kitabo kimu ekitukuvu. Ekitabo ekyo ye Bayibuli. Bayibuli erimu obubaka obukulu ennyo Katonda bw’ayagala omanye.
Katonda amanyi bye tusinga okwetaaga, era ye nsibuko y’amagezi gonna. Bw’onoomuwuliriza, ojja kufuna amagezi aga nnamaddala.—Engero 1:5.
Katonda ayagala buli muntu ku nsi asome Bayibuli. Evvuunuddwa mu nnimi nnyingi.
Bw’oba oyagala okuwuliriza Katonda, olina okusoma Bayibuli n’ogitegeera.
Buli wamu abantu bayiga Bayibuli. Matayo 28:19
Abajulirwa ba Yakuwa basobola okukuyamba okutegeera Bayibuli.
Mu bitundu byonna eby’ensi, bayigiriza abantu amazima agakwata ku Katonda.
Tekikwetaagisa kusasula ssente okusobola okuyigirizibwa. Ate era osobola okuyiga ebikwata ku Katonda bw’ogenda mu Kizimbe ky’Obwakabaka Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo mwe bakuŋŋaanira.