LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 4/15 lup. 3-7
  • Yobu Yagulumiza Erinnya lya Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yobu Yagulumiza Erinnya lya Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Setaani Yagezesa Yobu
  • Bye Tuyiga mu Kuba nti Yobu Yakuuma Obugolokofu
  • Yakuwa Tumwagala Kwenkana Wa?
  • Setaani​—Omulabe era Kyewaggula
  • Yobu Yagulumiza Erinnya lya Yakuwa
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yobu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • “Essuubi Lyo Lisse mu Yakuwa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Yobu—Omusajja Eyagumiikiriza era Eyakuuma Obugolokofu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Yobu Yali Ani?
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 4/15 lup. 3-7

Yobu Yagulumiza Erinnya lya Yakuwa

“Erinnya lya Yakuwa lyeyongere okutenderezebwa.”​—YOBU 1:21, NW.

1. Ani ayinza okuba nga ye yawandiika ekitabo kya Yobu, era yakiwandiika ddi?

MUSA yalina emyaka nga 40 we yaddukira mu Misiri okuwona obusungu bwa Falaawo n’agenda e Midiyani. (Bik. 7:23) Kirabika nti ekiseera kye yamala ng’ali eyo we yamanyira ebizibu ebyatuuka ku Yobu, eyali abeera mu nsi y’e Uzzi eriraanyewo. Ate ebyaliwo mu kiseera ky’obulamu bwa Yobu ekyasembayo ayinza okuba nga yabimanya wayise ebbanga, ye n’eggwanga lya Isiraeri bwe baali okumpi ne Uzzi nga banaatera okuva mu ddungu. Abayudaaya bagamba nti ekitabo kya Yobu, Musa yakiwandiika Yobu amaze okufa.

2. Ebiri mu kitabo kya Yobu bizzaamu bitya abaweereza ba Yakuwa amaanyi leero?

2 Ekitabo kya Yobu kinyweza okukkiriza kw’abaweereza ba Katonda leero. Mu ngeri ki? Kitubuulira ebintu ebikulu ebyaliwo mu ggulu, era kituyamba okutegeera ensonga esingayo obukulu ekwata ku Katonda ng’omufuzi w’obutonde bwonna. Ekitabo kya Yobu era kituyamba okulaba kye tulina okukola okulaga nti tuli beesigwa, era kituyamba n’okutegeera ensonga lwaki Yakuwa aleka abaweereza be okubonaabona. Ng’oggyeko ekyo, ekitabo kya Yobu kitulaga nti Setaani Omulyolyomi ye Mulabe wa Yakuwa omukulu, era nti mulabe wa bantu. Ekitabo ekyo era kiraga nti abantu abatatuukiridde nga Yobu basobola okukuuma obwesigwa bwabwe eri Yakuwa ne bwe baba nga bagezesebwa. Ka twetegereze ebimu ku byaliwo ebyogerwako mu kitabo kya Yobu.

Setaani Yagezesa Yobu

3. Biki bye tumanyi ku Yobu, era lwaki Setaani yamulumba?

3 Yobu yali musajja mugagga nnyo, mumanyifu, era ng’akulembera bulungi amaka ge. Kirabika yali amanyiddwa ng’omuwi w’amagezi omulungi era ayamba ennyo abo abali mu bwetaavu. N’ekisinga obukulu, Yobu yali musajja atya Katonda. Ayogerwako ng’omusajja ‘eyali yatuukirira, ow’amazima, era eyatyanga Katonda ne yeewala obubi.’ Okwemalira ku Katonda​—so si kuba mugagga oba mumanyifu​—kye kyaleetera Yobu okulumbibwa Setaani Omulyolyomi.​—Yobu 1:1; 29:7-16; 31:1.

4. Obugolokofu kye ki?

4 Essuula esooka ey’ekitabo kya Yobu eyogera ku lukuŋŋaana olwali mu ggulu nga bamalayika bali mu maaso ga Yakuwa. Setaani naye yalulimu, era aliko ebigambo bye yayogera ku Yobu. (Soma Yobu 1:6-11.) Wadde nga Setaani yayogera ku ky’okuba nti Yobu yalina ebintu bingi, essira yalissa ku kugezesa bugolokofu bwa Yobu. Ekigambo “obugolokofu” kitegeeza okuba omutuukirivu, omwesimbu, era ataliiko kya kunenyezebwa. Mu Baibuli, omuntu omugolokofu y’oyo eyeemalidde ku Yakuwa n’omutima gwe gwonna.

5. Setaani yayogera ki ku Yobu?

5 Setaani yagamba nti Yobu yali asinza Katonda asobole okwefunira by’ayagala, so si lwa kuba yali mugolokofu. Era yagamba nti Yobu okusobola okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa, Katonda yalina okwongera okumuwa ebirungi n’okumukuuma. Okusobola okulaga ekituufu, Yakuwa yakkiriza Setaani okubonyaabonya omusajja oyo omwesigwa. Mu lunaku lumu lwokka, Yobu yafiirwa abaana be ekkumi, abaddu be, era ebisolo bye byabbibwa, n’ebirala ne bittibwa. (Yobu 1:13-19) Okufuna ebizibu ebyo kyaleetera Yobu okuva ku Yakuwa? Okusinziira ku byawandiikibwa, Yobu yagamba nti: “Yakuwa ye kennyini ye yawa, era Yakuwa kennyini y’aggyewo. Erinnya lya Yakuwa lyeyongere okutenderezebwa.”​—Yobu 1:21, NW.

6. (a) Kiki ekyaliwo mu lukuŋŋaana olulala olwali mu ggulu? (b) Ebigambo Setaani bye yakozesa ng’asoomooza Yakuwa ku bugolokofu bwa Yobu biraga ki?

6 Oluvannyuma waaliyo olukuŋŋaana olulala mu ggulu. Setaani era yaddamu n’ayogera ku Yobu ng’agamba nti: “Eddiba olw’eddiba, weewaawo, byonna omuntu by’alina alibiwaayo olw’obulamu bwe. Naye kaakano golola omukono gwo, okome ku magumba ge ne ku mubiri gwe, era alikwegaanira mu maaso go.” Weetegereze nti Setaani bye yayogera ku mulundi guno byali bitwaliramu n’abalala. Mu kugamba nti ‘Byonna omuntu by’alina alibiwaayo olw’obulamu bwe,’ Omulyolyomi yabuusabuusa obugolokofu bwa buli ‘muntu’ asinza Yakuwa, so si bwa Yobu yekka. Katonda yakkiriza Setaani okuleetera Yobu obulwadde obwali buluma ennyo. (Yobu 2:1-8) Kyokka ebizibu Yobu bye yafuna tebyakoma awo.

Bye Tuyiga mu Kuba nti Yobu Yakuuma Obugolokofu

7. Muka Yobu n’abagenyi abaakyala baawa batya Yobu obuzibu?

7 Mu kusooka, muka Yobu yafuna ebizibu bye bimu ne bba. Ateekwa okuba nga yayisibwa bubi nnyo okufiirwa abaana be bonna, ssaako ebintu byabwe byonna. Era ateekwa okuba nga yawulira ennaku ya maanyi okulaba bba ng’ali mu bulumi obungi butyo. Bw’atyo yagamba Yobu nti: “Okyanyweza obutayonoona bwo? Weegaane Katonda ofe.” Awo Erifaazi, Birudaadi, ne Zofali nabo we baatuukira, nga beefuula abazze okubudaabuda Yobu. Baamusibako ebintu ebikyamu, bwe batyo ne bafuuka abantu “abatagasa.” Ng’ekyokulabirako, Birudaadi yagamba nti kyandiba ng’abaana ba Yobu baali bakoze ebintu ebibi, ne baba nga bagwanidde okubonerezebwa. Erifaazi bye yayogera byali biraga nti Yobu yali abonerezebwa lwa bibi bye yakola emabega. Era byalaga nti yali abuusabuusa obanga ddala Katonda afaayo ku bantu abakuuma obugolokofu! (Yobu 2:9, 11; 4:8; 8:4; 16:2; 22:2, 3) Wadde nga yateekebwa mu mbeera enzibu bw’etyo, Yobu yakuuma obugolokofu bwe. Kyo kituufu nti yali mukyamu okwetwala nti ‘mutuukirivu okusinga Katonda.’ (Yobu 32:2) Naye era yakuuma obwesigwa bwe.

8. Eriku yateekawo kyakulabirako ki ekirungi eri abo abalina okuwabula abalala leero?

8 Eriku ye yaddako okwogera, nga naye yali azze kulaba Yobu. Yali amaze okuwuliriza byonna ebyogeddwa Yobu ne banne abasatu. Wadde nga yali muto ku basajja abo abana, Eriku yalaga nti yali abasinga amagezi. Yayogera ne Yobu mu ngeri eraga nti yali amulumirirwa era ng’amuwa ekitiibwa. Eriku yasiima Yobu olw’okunywerera mu kkubo ery’obugolokofu. Naye yamulaga nti yali asusse w’alina okukoma ng’agezaako okulaga nti talina musango. Era Eriku yakakasa Yobu nti okuweereza Katonda n’obwesigwa kintu kya muwendo nnyo. (Soma Yobu 36:1, 11.) Nga Eriku yassaawo ekyokulabirako ekirungi eri abo abalina okuwabula abalala leero! Yali mugumiikiriza, yawuliriza n’obwegendereza, yasiima we kyali kyetaagisa, olwo n’alyoka awabula.​—Yobu 32:6; 33:32.

9. Yakuwa yayamba atya Yobu?

9 Ng’ebyo byonna biwedde, Yobu kyamuggya enviiri ku mutwe okuwulira eddoboozi lya Yakuwa! Tusoma nti: “Mukama n’alyoka addamu Yobu ng’ayima mu mbuyaga.” Yakuwa yabuuza Yobu ebibuuzo ebyamuyamba okutereeza endowooza ye. Yobu yakkiriza okuwabulibwa okwo, era yagamba nti: “Siriimu ka buntu . . . nneenenya mu nfuufu n’evvu.” Ng’amaze okwogera ne Yobu, Yakuwa yalaga nti ebintu ‘omutali nsonga’ abasajja abo abasatu bye baali boogedde byali bimunyiizizza. Yobu yalina okubasabira. Oluvannyuma ‘Yakuwa yakyusa obusibe bwa Yobu, bwe yasabira mikwano gye: Yakuwa n’awa Yobu okusinga emirundi ebiri ebyo bye yalina olubereberye.’​—Yobu 38:1; 40:4; 42:6 -10.

Yakuwa Tumwagala Kwenkana Wa?

10. Lwaki Setaani bye yayogera Yakuwa teyabibuusa maaso, oba n’azikiriza Sitaani?

10 Yakuwa ye Mutonzi w’eggulu n’ensi era y’afuga obutonde bwonna. Lwaki teyabuusa maaso ebyo Omulyolyomi bye yayogera? Katonda yali amanyi nti okubibuusa amaaso oba okuzikiriza Setaani tekyandigonjodde nsonga Setaani ze yaleetawo. Omulyolyomi yali yagamba nti Yobu, omuweereza wa Yakuwa omwesigwa, yandisudde obugolokofu bwe ng’afiiriddwa ebintu bye byonna. Naye mu kugezesebwa okwo kwonna, Yobu yasigala nga mwesigwa. Setaani nate yagamba nti tewali muntu yenna yandinyweredde ku Katonda ng’obulamu bwe buli mu kabi. Yobu yalwala nnyo naye teyasuula bugolokofu bwe. Wadde ng’omusajja oyo yali tatuukiridde, okusigala nga mwesigwa kyalaga nti Setaani bye yali amwogeddeko byali bya bulimba. Ate kiri kitya ku basinza ba Katonda abalala?

11. Yesu yakiraga atya mu bujjuvu nti Setaani bye yayogera byali bya bulimba?

11 Buli muweereza wa Katonda yenna akuuma obwesigwa nga Setaani amuleetedde ebizibu aba akiraze nti omulabe oyo bye yayogera bikyamu. Yesu bwe yajja ku nsi yakiraga mu bujjuvu nti Setaani bye yayogera byali bya bulimba. Okufaananako jjajjaffe Adamu, Yesu yali muntu atuukiridde. Okukuuma obwesigwa bwe okutuuka okufa kyalagira ddala nti Setaani mulimba, era nti bye yayogera tebyali bituufu.​—Kub. 12:10.

12. Buli muweereza wa Yakuwa alina mukisa na buvunaanyizibwa ki?

12 Wadde kiri kityo, na kati Setaani akyagezesa abaweereza ba Yakuwa. Buli omu ku ffe alina omukisa n’obuvunaanyizibwa okukuuma obugolokofu akirage nti aweereza Yakuwa lwa kumwagala, so si lwa kwenoonyeza bibye. Kino twandikitutte tutya? Twandikitute nga nkizo ya maanyi okulaga nti tuli beesigwa eri Yakuwa. Ate era kitubudaabuda okumanya nti Yakuwa atuwa amaanyi ne tugumira ebizibu, era nti, nga bwe kyali ku Yobu, tatuleka kugezesebwa kusukka ku busobozi bwaffe.​—1 Kol. 10:13.

Setaani​—Omulabe era Kyewaggula

13. Ekitabo kya Yobu kitubuulira ki ku Setaani?

13 Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya biraga engeri Setaani gye yasoomoozamu Yakuwa ne gye yabuzaabuzaamu abantu. Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani byongera okulaga engeri Setaani gy’awakanyaamu Yakuwa, era mu kitabo ky’Okubikkulirwa tuyiga nti Yakuwa agenda kukiraga nti y’agwanidde okuba omufuzi w’obutonde bwonna era azikirize Setaani. Ekitabo kya Yobu kituyamba okukiraba nti ddala Setaani kyewaggula. Bwe yagenda mu lukuŋŋaana olwali mu ggulu, yali tagenze kutendereza Yakuwa. Omulyolyomi oyo yalina ekigendererwa ekikyamu era eky’akabi. Olwamala okukonjera Yobu ebigambo era n’akkirizibwa okumugezesa, “Setaani n’ava awali Mukama.”​—Yobu 1:12; 2:7.

14. Kiki Setaani kye yali ayagaliza Yobu?

14 Bwe kityo, ekitabo kya Yobu kiraga nti Setaani mulabe wa kabi nnyo eri abantu. Mu kiseera ekitamanyiddwa buwanvu ekyali wakati w’olukuŋŋaana olwogerwako mu Yobu 1:6 ne mu Yobu 2:1, Setaani yatulugunya Yobu. Olw’okuba Yobu yakuuma obwesigwa bwe, Yakuwa yasobola okugamba Setaani nti: “[Yobu] akyanywezezza obutayonoona bwe, newakubadde nga wasaakiriza gy’ali, okumuzikiririza obwereere.” Ekyewuunyisa kiri nti mu kifo ky’okukkiriza nti yali ayogedde bya bulimba ku Yobu, Setaani yagamba nti Yobu aweebwe ekigezo ekirala ekikakali. Bwe kityo, Omulyolyomi yagezesa Yobu bwe yali nga mugagga, ne bwe yali nga talina kantu konna. Kino kyalagira ddala nti Setaani talina busaasizi eri bantu abali mu bwetaavu oba abalina ebizibu. Tayagalira ddala bantu beesigwa. (Yobu 2:3-5) Yobu okusigala nga mwesigwa kyalaga nti Setaani mulimba.

15. Bakyewaggula balina ngeri ki ezifaananako eza Setaani?

15 Setaani kye kitonde ekyasooka okwewaggula. Bakyewaggula b’omu kiseera kino nabo balina engeri ezifaananako ez’Omulyolyomi. Buli kiseera baba mu kukolokota balala mu kibiina, oba abakadde oba abo abali ku Kakiiko Akafuzi. Bakyewaggula abamu bawakanya eky’okukozesa erinnya lya Katonda, Yakuwa, era tebaagala kuyiga bikwata ku Yakuwa oba kumuweereza. Okufaananako kitaabwe Setaani, bakyewaggula bayigganya abantu abeesigwa. (Yok. 8:44) Bwe kityo, abaweereza ba Yakuwa bafuba okubeewalira ddala!​—2 Yok. 10, 11.

Yobu Yagulumiza Erinnya lya Yakuwa

16. Yobu yatunuulira atya Yakuwa?

16 Yobu yakozesanga erinnya lya Yakuwa era yaligulumiza. Ne bwe yakimanya nti abaana be bonna baali bafudde, teyayogera kintu kibi kyonna ku Katonda. Wadde nga Yobu yalowooza nti Yakuwa ye yali amuleetedde ebizibu ebyo, yagulumiza erinnya lye. Yobu kennyini yagamba nti: “Laba, okutya Mukama okwo ge magezi; n’okuleka obubi kwe kutegeera.”​—Yobu 28:28.

17. Kiki ekyayamba Yobu okukuuma obugolokofu bwe?

17 Kiki ekyayamba Yobu okukuuma obugolokofu bwe? Awatali kubuusabuusa, ateekwa okuba nga yalina enkolagana ennungi ne Yakuwa nga tannafuna bizibu. Wadde nga tewali kiraga nti yali amanyi nti Setaani yali asoomoozezza Yakuwa, Yobu yali mumalirivu okusigala nga mwesigwa. Yagamba nti: “Okutuusa lwe ndifa ssiryeggyako obugolokofu bwange.” (Yobu 27:5) Yobu yatuuka atya okufuna enkolagana ennungi ne Katonda? Ateekwa okuba nga bye yayiga ku nkolagana Katonda gye yalina ne Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, be yalinako oluganda, yabitwala nga bikulu nnyo. Ate era okwetegereza obutonde kirina okuba nga kyayamba Yobu okutegeera ezimu ku ngeri za Yakuwa.​—Soma Yobu 12:7-9, 13, 16.

18. (a) Yobu yalaga atya nti yali ayagala nnyo Yakuwa? (b) Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Yobu?

18 Yobu bye yayiga byamuleetera okwagala okukola ebisanyusa Yakuwa. Yawangayo ssaddaaka olw’okutya nti oboolyawo ab’omu maka ge baabanga boonoonye mu maaso ga Katonda, oba nga ‘beegaanye Katonda mu mitima gyabwe.’ (Yobu 1:5) Ne bwe yali ng’agezesebwa, Yobu yayogera ebintu ebirungi ku Yakuwa. (Yobu 10:12) Ng’ekyo kyali kyakulabirako kirungi nnyo! Naffe tusaanidde okweyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye. Tulina okufuba okwesomesa, okugenda mu nkuŋŋaana, okusaba, n’okubuulira amawulire amalungi. Era tulina okukola buli kye tusobola okumanyisa erinnya lya Yakuwa. Nga Yakuwa bwe yasanyuka nga Yobu akuumye obugolokofu, bw’asanyuka bw’atyo leero ng’abaweereza be bakuumye obugolokofu. Ekitundu ekiddako kijja kwongera ku nsonga eno.

Ojjukira?

• Lwaki Setaani Omulyolyomi yalumba Yobu?

• Bigezo ki Yobu bye yagumira, era yakola atya?

• Kiki ekinaatuyamba okukuuma obugolokofu nga Yobu?

• Kiki kye tuyiga ku Setaani mu kitabo kya Yobu?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

Ebiri mu kitabo kya Yobu bituyamba okutegeera ensonga esingayo obukulu ekwata ku Katonda ng’omufuzi w’obutonde bwonna

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Mbeera ki obugolokofu bwo mwe buyinza okugezesebwa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share