EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZABBULI 11-18
Ani Ayinza Okukyala mu Weema ya Yakuwa?
Omuntu okukyala mu weema ya Yakuwa alina okuba mukwano gwe, era kitegeeza nti omuntu oyo yeesiga Katonda era nti amugondera. Zabbuli 15 ennyonnyola ebyo Yakuwa by’asinziirako okulonda mikwano gye.
OYO AKYALA MU WEEMA YA YAKUWA ALINA OKUBA . . .
ng’atambulira mu bugolokofu
ng’ayogera amazima mu mutima gwe
ng’assa ekitiibwa mu baweereza ba Yakuwa abalala
ng’atuukiriza by’asuubiza ne bwe kiba nga kizibu
ng’ayamba abo abali mu bwetaavu nga tasuubira kusasulwa
OYO AKYALA MU WEEMA YA YAKUWA YEEWALA . . .
olugambo n’okuwaayiriza
okuyisa obubi abalala
obutaba mwenkanya ng’akolagana n’ab’oluganda
okukolagana n’abo abataweereza Yakuwa era abatamugondera
okulya enguzi