Oluyimba olw’Okwambuka.
134 Mutendereze Yakuwa,
Mmwe mmwenna abaweereza ba Yakuwa,+
Mmwe abayimirira mu nnyumba ya Yakuwa ekiro.+
 2 Muyimuse emikono gyammwe+ mu butukuvu
Mutendereze Yakuwa.
 3 Yakuwa eyakola eggulu n’ensi,
K’abawe omukisa ng’asinziira mu Sayuuni.