LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 50 lup. 258-lup. 262 kat. 5
  • Okufuba Okutuuka ku Mutima

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okufuba Okutuuka ku Mutima
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Okufuba Okutuuka ku Mutima
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Engeri y’Okutuuka ku Mitima gy’Abo Be Tuyigiriza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Kulaakulanya Obusobozi Bwo obw’Okuyigiriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Obubaka Bwe Tulina Okubuulira
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 50 lup. 258-lup. 262 kat. 5

ESSOMO 50

Okufuba Okutuuka ku Mutima

Kiki ky’osaanidde okukola?

Lowooza ku ngeri abantu gye batwalamu ensonga gy’oyogerako. Bakubirize okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda era bafuuke mikwano gye.

Lwaki Kikulu?

Abantu okusobola okusanyusa Yakuwa, Ekigambo kye kirina okubatuuka ku mitima.

NG’OGGYEKO okuwa abantu obujulirwa, olina n’okufuba okubatuuka ku mitima. Mu Baibuli, omutima gutera okukozesebwa okukiikirira ekyo omuntu ky’ali munda so si ky’ali ku ngulu. Omutima ogw’akabonero gukiikirira enneewulira y’omuntu, by’alowooza, lwaki abirowooza, n’engeri ekyo ky’alowooza gye kikwata ku nneeyisa ye. Mu mutima guno ogw’akabonero mwe musigibwa ensigo ey’amazima. (Mat. 13:19) Ate era omutima ogwo gwe guviirako omuntu okuba omuwulize eri Katonda.​—Nge. 3:1; Bar. 6:17.

Okusobola okutuuka ku mutima gw’oyo gw’oyigiriza, osaanidde okukola bino ebiddirira: (1) Tegeera ekiri mu mutima gwe. (2) Muyambe okukulaakulanya ebintu ng’okwagala n’okutya Katonda. (3) Mukubirize okuba n’ebiruubirirwa ebirungi asobole okusanyusa Yakuwa mu bujjuvu.

Okukozesa Amagezi. Abantu balina ensonga ez’enjawulo ezibagaana okukkiriza amazima. Bw’oba ng’oyigiriza omuntu Baibuli, kiyinza okukwetaagisa okumuyamba okuvvuunuka obusosoze n’okumulaga ekituufu asobole okweggyamu endowooza enkyamu, oba okumuwa obukakafu obulaga nti ky’akola kikyamu. Weebuuze: ‘Omuntu ono akimanyi nti alina obwetaavu obw’eby’omwoyo? Biki by’akkiriza? Biki by’atakkiriza? Lwaki yatuuka ku kusalawo okwo? Yeetaaga obuyambi asobole okuvvuunuka okwegomba okuyinza okumulemesa okutambulira mu mazima g’ayize?’

Tekitera kuba kyangu okumanya ensonga ereetera abantu okukkiriza ebintu ebimu. Engero 20:5 wagamba: “Okuteesa okw’omu mutima gw’omuntu kuli ng’amazzi ag’omu luzzi oluwanvu; naye omuntu alina okutegeera alikusena.” Okutegeera bwe busobozi bw’okumanya ekintu ekyekusifu. Okusobola okuba n’okutegeera, kikwetaagisa okwetegereza ennyo n’okufaayo ku balala.

Okusobola okutegeera endowooza y’omuntu tekitegeeza nti alina kusooka kubaako ky’akugamba. Ensonga emu gye muba mwogerako, eyinza okuleetera omuyizi okukyusa mu ndabika ye ey’oku maaso oba mu ddoboozi lye. Bw’oba ng’oli muzadde, ojja kukitegeera nti omwana wo bw’akyusa mu nneeyisa ye kiba kiraga nti waliwo embeera gy’ayolekagana nayo emuviiriddeko okweyisa bw’atyo. Ebintu ng’ebyo tobibuusa maaso kuba biba byoleka ekiri mu mutima gw’omuntu.

Okubuuza ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi nakyo kisobola okukuyamba okumanya ekiri mu mutima gw’omuntu. Oyinza okumubuuza: “Olina ndowooza ki ku . . . ?” “Kiki ekyakuleetera okukkiriza nti . . . ?” “Wandikoze ki singa . . . ?” Kyokka, weewale okukozesa olukunkumuli lw’ebibuuzo. Mu ngeri ey’amagezi oyinza okutandika ekibuuzo bw’oti, “Ofaayo singa mbaako kye nkubuuza . . . ?” Okusobola okumanya ekiri mu mutima gw’omuntu kyetaagisa obugumiikiriza. Emirundi egisinga omuntu alina kusooka kukwesiga n’alyoka akubuulira ky’alowooza. Ne bwe kiba nti kati akwesiga, weegendereze aleme kukitwala nti oyingirira ensonga ze ez’omunda.​—1 Peet. 4:15.

Ate era kyetaagisa okuddamu mu ngeri ey’amagezi nga gw’oyogera naye alina ekintu ky’ayogedde. Kijjukire nti ekigendererwa kyo kwe kumanya endowooza y’omuntu osobole okukozesa obubaka bwa Baibuli obuyinza okumuleetera okubaako ky’akolawo. Toyanguyiriza kumulaga nti endowooza ye nkyamu. Wabula gezaako okutegeera ekimuviiriddeko okwogera bw’atyo. Ekyo kijja kukusobozesa okumanya engeri y’okumuddamu; ate era omuyizi wo bw’amanya nti omutegedde bulungi, kijja kumwanguyira okufumiitiriza ku ekyo ky’omugamba.​—Nge. 16:23.

Ne bw’oba oyogera eri ekibiina, osobola okukubiriza buli muntu okubaako ky’akolawo. Singa otunuulira abakuwuliriza, n’olaba endabika yaabwe ey’oku maaso, era n’obuuza ebibuuzo ebibaleetera okulowooza, ojja kusobola okumanya enneewulira yaabwe ku nsonga gy’oyogerako. Bw’oba ng’omanyi bulungi abakuwuliriza, yogera mu ngeri eraga nti ofaayo ku mbeera yaabwe. Faayo ku ndowooza yaabwe ng’obannyonnyola ensonga okuva mu Kigambo kya Katonda.​—Bag. 6:18.

Basikirize. Bw’omala okutegeera omuntu ky’akkiriza n’ekyo ky’atakkiriza, n’ensonga lwaki akikkiriza oba lwaki takikkiriza, ojja kumanya engeri y’okumubuuliramu. Oluvannyuma lw’okuzuukira, Yesu yatuuka ku mitima gy’abayigirizwa be ‘ng’ababikkulira ebyawandiikibwa’ ebikwata ku bintu ebyali byakabaawo. (Luk. 24:32) Naawe bw’omala okutegeera embeera omuyizi wo gy’ayiseemu n’ebyo by’aluubirira, osaanidde okubikwataganya n’ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda. Omuyizi ajja kukwatibwako nnyo singa akitegeera nti ddala: “Gano GE MAZIMA!”

Singa ossa essira ku bulungi bwa Yakuwa, okwagala kwe, ekisa kye ekitatusaanira, n’engeri amakubo ge gye gali ag’obutuukirivu, oba oyamba abo b’oyigiriza Baibuli okunyweza okwagala kwabwe eri Katonda. Bw’olaga abakuwuliriza nti Katonda alina engeri ennungi z’abalabamu kinnoomu, oba obayamba okukitegeera nti basobola okufuna enkolagana ennungi naye. Kino osobola okukikola ng’oyogera ebyawandiikibwa nga Zabbuli 139:1-3, Lukka 21:1-4, ne Yokaana 6:44 era ng’obayamba okusiima Yakuwa olw’okwagala kw’alina eri abaweereza be abeesigwa. (Bar. 8:38, 39) Bannyonnyole nti Yakuwa takuliriza nsobi zaffe naye atunuulira ebintu byonna bye tukola, engeri gye tunyiikiriramu okusinza okw’amazima, n’okwagala kwe tulaga eri erinnya lye. (2 Byom. 19:2, 3; Beb. 6:10) Ajjukira kalonda yenna atukwatako kinnoomu, era mu ngeri ey’ekyamagero ajja kuzuukiza abo ‘bonna abali mu ntaana ezijjukirwa.’ (Yok. 5:28, 29, NW; Luk. 12:6, 7) Okuva abantu bwe baatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, okwogera ku ngeri ze ennungi kijja kukwata ku mitima gyabwe.​—Lub. 1:27.

Ate era omutima gw’omuyizi gusobola okukwatibwako singa ayiga okutunuulira abantu nga Yakuwa bw’abatunuulira. Okuva bwe kiri nti Katonda atufaako kinnoomu, kino kiraga nti afaayo ne ku bantu abalala, ka babe ba ggwanga ki oba langi ki. (Bik. 10:34, 35) Kino omuntu bw’akitegeera, ajja kuba alina ensonga eri mu Byawandiikibwa kw’asinziira okuvvuunuka obukyayi n’obusosoze. Kino kijja kumusobozesa okukolagana obulungi n’abalala nga bw’ayiga okukola Katonda by’ayagala.

Olina okuyamba abalala okuyiga okutya Katonda. (Zab. 111:10; Kub. 14:6, 7) Okutya ng’okwo kusobola okukubiriza omuntu okukola ekintu ky’atayinza kukola mu maanyi ge. Bw’oyogera ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo awamu n’ekisa kye ekitatusaanira, osobola okuyamba abalala okutya okumunyiiza.​—Zab. 66:5; Yer. 32:40.

Yamba abakuwuliriza okukitegeera nti Yakuwa afaayo ku ngeri gye beeyisaamu. Alina enneewulira, era engeri gye tutwalamu obulagirizi bw’atuwadde eyinza okumuleetera essanyu oba okumunakuwaza. (Zab. 78:40-42) Nnyonnyola abantu lwaki enneeyisa yaabwe ennungi esobozesa Katonda okufuna eky’okuddamu mu kusoomooza kwa Setaani.​—Nge. 27:11.

Yamba abakuwuliriza okukitegeera nti bo be baganyulwa mu kukola Katonda by’ayagala. (Is. 48:17) Engeri emu gy’oyinza okukikolamu kwe kwogera ku bizibu omuntu by’ayinza okufuna singa yeesamba obulagirizi bwa Katonda, ne bw’aba ng’akikoze okumala akaseera katono. Bannyonnyole engeri ekibi gye kitwawula ku Katonda, gye kiremesa abalala okulaba amazima, era ne kituleetera okuyingirira eddembe ly’abalala. (1 Bas. 4:6) Yamba abakuwuliriza okusiima emikisa gye bafunye olw’okugondera amateeka ga Katonda. Bayambe okukitegeera nti okutambulira mu makubo ga Yakuwa ag’obutuukirivu kituyamba okwewala ebizibu bingi. Omuntu bw’akkiriza nti amagezi ga Katonda gasobola okumuyamba, ajja kwesamba enneeyisa yonna ekontana n’amagezi ago. (Zab. 119:104) Okubeera omuwulize tajja kukitwala ng’omugugu, wabula ajja kukitwala ng’omukisa ogw’okulaga nti yeemalidde ku Yakuwa.

Okuyamba Abalala Okwekebera. Okusobola okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo, abantu balina okumanya obulungi ekiri mu mitima gyabwe. Balage engeri Baibuli gy’eyinza okubayambamu okukola kino.

Yamba abakuwuliriza okukitegeera nti Baibuli teriimu bubeezi mateeka, kubuulirira, ebintu ebyaliwo edda n’obunnabbi, naye era etutegeeza endowooza ya Katonda. Mu Yakobo 1:22-25, Ekigambo kya Katonda kigeraageranyizibwa ku ndabirwamu. Ekyo kye tusalawo okukola nga tumaze okutegeera ekiri mu Baibuli awamu n’engeri Yakuwa gy’atuukirizaamu ebigendererwa bye, kye kyoleka embeera y’omutima gwaffe. Mu ngeri eyo Baibuli eba eraga engeri Katonda ‘akebera emitima’ gy’atutunuuliramu. (Nge. 17:3) Kubiriza abakuwuliriza obuteerabira nsonga eyo. Ate era bakubirize okufumiitiriza ku ebyo ebiri mu Baibuli n’enkyukakyuka ze beetaaga okukola mu bulamu bwabwe okusobola okusanyusa Katonda. Bayambe okukitegeera nti okusoma Baibuli kye kijja okubasobozesa okumanya engeri Katonda gy’atunuuliramu “okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima” basobole okukola enkyukakyuka ezeetaagisa mu bulamu bwabwe.​—Beb. 4:12; Bar. 15:4.

Abayizi ba Baibuli abamu bandyagadde okukolera ku ekyo kye bayiga, naye bayinza okutya engeri abalala gye banaabatunuuliramu. Bayinza okuba nga bafuba okuvvuunuka okwegomba okw’omubiri. Oba bayinza okuba nga bagezaako okuweereza Katonda kyokka nga bakyenyigira mu bikolwa by’ensi. Balage akabi akali mu kuta aga n’aga. (1 Bassek. 18:21) Bakubirize okusaba Katonda akebere era alongoose emitima gyabwe.​—Zab. 26:2; 139:23, 24.

Balage nti Yakuwa amanyi engeri gye bafubamu era nti ne Baibuli eyogera ku mbeera gye balimu. (Bar. 7:22, 23) Bayambe okubeera abeegendereza, baleme okutwalirizibwa obunafu bw’omutima ogutatuukiridde.​—Nge. 3:5, 6; 28:26; Yer. 17:9, 10.

Kubiriza buli omu okutegeera ensonga emuleetedde okukola ekyo ky’aba asazeewo. Muyigirize okwebuuza ebibuuzo nga: ‘Lwaki njagala okukola ekintu kino? Kinaalaga Yakuwa nti ddala nsiima ebyo byonna by’ankoledde?’ Muyambe okumanya nti ekintu ekisingirayo ddala okuba eky’omuwendo omuntu ky’ayinza okufuna kwe kubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.

Yamba abakuwuliriza okutegeera obukulu bw’okuweereza Yakuwa ‘n’omutima gwabwe gwonna.’ (Luk. 10:27) Kino kitegeeza nti enneewulira zaabwe zonna, okwegomba kwabwe n’ebiruubirirwa byabwe birina okutuukana n’amakubo ga Yakuwa. N’olwekyo, kubiriza abakuwuliriza obutakoma ku kwekenneenya bye bakola kyokka, naye era n’engeri gye batwalamu ebyo Katonda by’abeetaagisa n’ensonga lwaki bamuweereza. (Zab. 37:4) Abayizi bo bwe bamanya we beetaaga okulongoosaamu, bakubirize okusaba Yakuwa nti: “Ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo.”​—Zab. 86:11.

Omuyizi wa Baibuli bw’afuna enkolagana ennungi ne Yakuwa, ajja kumugondera lwa kukkiriza so si lwa kuwalirizibwa. N’ekinaavaamu, ye kennyini ajja, ‘kukeberanga ekyo Mukama waffe kyayagala bwe kiri.’ (Bef. 5:10; Baf. 2:12) Obuwulize ng’obwo obuviira ddala ku mutima busanyusa Yakuwa.​—Nge. 23:15.

Kijjukire nti Yakuwa y’akebera emitima era y’asika abantu ne basobola okufuna enkolagana ennungi naye. (Nge. 21:2; Yok. 6:44) Ffe tulina kukolera wamu naye. (1 Kol. 3:9) Kiringa ‘Katonda abeegayirira okuyitira mu ffe.’ (2 Kol. 5:20; Bik. 16:14) Yakuwa takaka muntu yenna kukkiriza mazima, naye bwe tukozesa Ebyawandiikibwa, ajja kuleetera abawuliriza okuwulira nti ebibuuzo byabwe​—oba okusaba kwabwe kuddiddwamu. Kino kijjukire buli lw’obaako ne gw’oyigiriza, era saba Yakuwa okukuwa obulagirizi n’obuyambi.​—1 Byom. 29:18, 19; Bef. 1:16-18.

ENGERI Y’OKULONGOOSAAMU

  • Balage okwagala okwa nnamaddala.

  • Manya endowooza y’abakuwuliriza.

  • Yogera ku ngeri za Yakuwa ennungi.

  • Yamba abakuwuliriza okwekebera n’okulongoosa mu ndowooza yaabwe.

EBY’OKUKOLA: (1) Soma Matayo 6:21, era olabe engeri gy’oyinza okukozesaamu ekyawandiikibwa ekyo mu bulamu bwo. Soma n’olunyiriri 19 ne 20, olabe ekyo omutima gwo kye gukukubiriza okukola. (2) Weebuuze ekyakuleetera okutandika okuweereza Yakuwa. Kiki ekikuleetera okumuweereza kaakano? Biruubirirwa ki ebinaasanyusa Yakuwa by’oyagala okutuukako?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share