LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 10/15 lup. 2-3
  • Engeri y’Okutuuka ku Mitima gy’Abo Be Tuyigiriza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri y’Okutuuka ku Mitima gy’Abo Be Tuyigiriza
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Similar Material
  • Okufuba Okutuuka ku Mutima
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Kulaakulanya Obusobozi Bwo obw’Okuyigiriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okufaayo ku Oyo gw’Oyogera Naye
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Yamba Abalala Okuba ‘Abawulize Okuviira Ddala mu Mutima’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
km 10/15 lup. 2-3

Engeri y’Okutuuka ku Mitima gy’Abo Be Tuyigiriza

1. Ebintu Yesu bye yayigiriza byakwatanga bitya ku abo abaamuwulirizanga?

1 Yesu Kristo yatuukanga ku mitima gy’abo abaabanga bamuwuliriza. Lumu bwe yali annyonnyola abayigirizwa be Ebyawandiikibwa, emitima gyabwe ‘gyakwatibwako nnyo.’ (Luk. 24:32) Okuva bwe kiri nti obuwulize eri Katonda bulina kuviira ddala ku mutima, tuyinza tutya okutuuka ku mitima gy’abo be tuyigiriza basobole okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe?​—Bar. 6:17.

2. Okukozesa amagezi kiyinza kitya okutuyamba okutuuka ku mitima gy’abo be tuyigiriza?

2 Kozesa Amagezi: Abantu bangi okubagamba obugambi ekituufu n’ekikyamu, tekibaleetera kubaako kye bakolawo. Mu butuufu, okuvumirira enzikiriza zaabwe nga tubasomera ebyawandiikibwa bingi ebiraga nti bye bakkiriza bikyamu kiyinza kwongera kubamalamu maanyi. Okusobola okusikiriza omuntu, tulina okusooka okumanya ensonga lwaki akkiriza by’akkiriza era lwaki yeeyisa mu ngeri gye yeeyisaamu. Bwe tumubuuza ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi, kijja kumukubiriza okutubuulira ekyo kyennyini ky’alowooza. (Nge. 20:5) Bwe tumanya endowooza ye, kijja kutusobozesa okumusomera ekyawandiikibwa ekinaamutuuka ku mutima. N’olwekyo, tusaanidde okulaga nti tufaayo ku muntu n’okubeera abagumiikiriza. (Nge. 25:15) Tusaanidde okukijjukira nti abantu tebakulaakulanira ku sipiidi y’emu. Bawe ekiseera omwoyo gwa Yakuwa gusobole okubaleetera okukola enkyukakyuka mu ngeri gye balowoozaamu ne gye beeyisaamu.​—Mak. 4:26-29.

3. Tuyinza tutya okuyamba abo be tuyigiriza okukulaakulanya engeri ennungi?

3 Bayambe Okukulaakulanya Engeri Ennungi: Ebyawandiikibwa ebyogera ku bulungi bwa Katonda ne ku kwagala kwe, bisobola okuyamba oyo gw’oyigiriza okukulaakulanya engeri ennungi. Tusobola okukozesa ebyawandiikibwa nga Zabbuli 139:1-4 oba Lukka 12:6, 7 okumulaga nti Katonda atufaako nnyo kinnoomu. Omuntu bw’asiima ekisa Yakuwa ky’atulaga, kijja kumuleetera okwongera okwagala Katonda n’okukola by’ayagala. (Bar. 5:6-8; 1 Yok. 4:19) Ate era, bwe bakimanya nti engeri gye beeyisaamu esobola okusanyusa Yakuwa oba okumunyiiza, kibakubiriza okweyisa mu ngeri emusanyusa.​—Zab. 78:40, 41; Nge. 23:15

4. Bwe tuba tuyigiriza omuntu, tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu ddembe lye ery’okwesalirawo?

4 Yakuwa takaka muntu yenna kugondera mateeka ge. Mu kifo ky’ekyo, abaleka okwesalirawo ng’abalaga emiganyulo egiri mu kukolera ku bulagirizi bwe. (Is. 48:17, 18) Tukoppa Yakuwa nga tuyigiriza abantu mu ngeri ebasobozesa okwesalirawo. Abantu bwe beesalirawo okukola enkukakyuka mu bulamu bwabwe, muvaamu emiganyula egy’olubeerara. (Bar. 12:2) Ate era kibayamba okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa “akebera emitima.”​—Nge. 17:3.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share