Yamba Abalala Okuba ‘Abawulize Okuviira Ddala mu Mutima’
1. Kiki Yakuwa kye yeetaaza abo abamusinza?
1 Kikulu okuba abawulize bwe tuba ab’okusinza Yakuwa nga bw’ayagala. (Ma. 12:28; 1 Peet. 1:14-16) Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda agenda kusalira omusango ‘abo abatamumanyi n’abo abatagondera mawulire malungi.’ (2 Bas. 1:8) Tuyinza tutya okuyamba abalala okugondera enjigiriza eziri mu Kigambo kya Katonda ‘okuviira ddala mu mutima’?—Bar. 6:17.
2. Lwaki kikulu okuyamba abalala okuba n’okukkiriza okunywevu?
2 Nga Tubayamba Okufuna Okukkiriza era n’Okuba n’Okwagala: Mu Byawandiikibwa, obuwulize bulina akakwate n’okukkiriza. Omutume Pawulo yayogera ku ‘kiragiro kya Katonda ataggwaawo eky’okuba abawulize olw’okukkiriza.’ (Bar. 16:26) Abaebbulaniya essuula 11 eyogera ku byokulabirako by’abantu bangi abaalaga okukkiriza, era nga baayoleka okukkiriza kwabwe nga bakola ebintu Yakuwa by’ayagala. (Beb. 11:7, 8, 17) Ku luuyi olulala, obutaba muwulize kikwataganyizibwa n’obutaba na kukkiriza. (Yok. 3:36; Beb. 3:18, 19) Twetaaga okuyiga engeri y’okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda okusobola okuyamba abalala okuba n’okukkiriza okubasobozesa okuba abawulize.—2 Tim. 2:15; Yak. 2:14, 17.
3. (a) Obuwulize bukwataganyizibwa butya n’okwagala? (b) Tuyinza tutya okuyamba abayizi ba Baibuli okukulaakulanya okwagala kwe balina eri Yakuwa?
3 Ate era obuwulize bukwataganyizibwa n’okwagala Katonda. (Ma. 5:10; 11:1, 22; 30:16) 1 Yokaana 5:3 wagamba, ‘Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.’ Tuyinza tutya okuyamba abayizi ba Baibuli okukulaakulanya okwagala eri Yakuwa? Bwe muba nga muyiga, fuba okulaba nti omuyamba okusiima engeri za Yakuwa. Bw’oba oyogera, yoleka okwagala kw’olina eri Katonda. Yamba omuyizi okulowooza ku ngeri gy’ayinza okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Okusinga byonna, okwagala Yakuwa kujja kutukubiriza awamu n’abayizi baffe okumugondera okuviira ddala mu mutima.—Mat. 22:37.
4. (a) Lwaki ekyokulabirako kye tussaawo kikulu nnyo? (b) Kiki kye tuteekwa okukola okusobola okufuna ‘omutima omuwulize’?
4 Nga Tussaawo Ekyokulabirako: Engeri esingayo obulungi eyinza okutuyamba okukubiriza abalala okugondera amawulire amalungi, kwe kubateerawo ekyokulabirako. Kyokka, kitwetaagisa okufuba okusobola okufuna ‘omutima omuwulize.’ (1 Bassek. 3:9; Nge. 4:23) Kino kizingiramu ki? Kizingiramu okwesomesa Baibuli obutayosa n’okujjumbira enkuŋŋaana. (Zab. 1:1, 2; Beb. 10:24, 25) Kolagana n’abo abali mu kusinza okw’amazima. (Nge. 13:20) Weenyigire mu buweereza bw’ennimiro obutayosa ng’olina ekiruubirirwa eky’okuyamba abantu abali mu kitundu kyo. Saba Yakuwa akuyambe okuba n’omutima omulungi. (Zab. 86:11) Weewale ebintu ebiyinza okwonoona omutima gwo, gamba nga, eby’okwesanyusaamu ebirimu obugwenyufu oba ettemu. Luubirira ebintu ebikuyamba okunyweza enkolagana yo ne Katonda.—Yak. 4:7, 8.
5. Kiki abawulize kye bajja okufuna?
5 Yakuwa yasuubiza abantu be ab’edda nti bandifunye emikisa mingi singa baawuliriza eddoboozi lye. (Ma. 28:1, 2) Mu ngeri y’emu leero, Yakuwa awa omukisa abo “abamugondera.” (Bik. 5:32) N’olwekyo, ka tuyambe abalala okuba abawulize okuviira ddala mu mutima nga tubayigiriza era nga tubateerawo ekyokulabirako ekirungi.