ESSOMO 30
Okufaayo ku Oyo gw’Oyogera Naye
BWE tuba nga tubuulira abalala, tulina okukola ekisingawo ku kubategeeza obutegeeza amazima ga Baibuli. Tulina okubatuuka ku mitima. Engeri emu gye tukikolamu kwe kulaga abatuwuliriza okufaayo okwa nnamaddala. Okufaayo ng’okwo kusobola okulagibwa mu ngeri ez’enjawulo.
Faayo ku Ndowooza y’Abakuwuliriza. Omutume Pawulo yafangayo ku ndowooza y’abamuwuliriza. Yagamba: “Eri Abayudaaya nnafuuka nga Omuyudaaya, nfunenga Abayudaaya; eri abo abafugibwa amateeka nnafuuka ng’afugibwa amateeka, nze kennyini nga sifugibwa mateeka, nfunenga abafugibwa amateeka; eri abatalina mateeka nnafuuka ng’atalina mateeka, si butaba na mateeka eri Katonda, naye nga mpulira amateeka eri Kristo, nfunenga abatalina mateeka: eri abanafu nnafuuka munafu, nfunenga abanafu: eri bonna nfuuse byonna, mu byonna byonna ndyoke ndokolenga abamu. Era nkola byonna olw’enjiri, ndyoke nzisenga kimu mu yo.” (1 Kol. 9:20-23) Leero, tuyinza tutya ‘okufuuka byonna eri bonna’?
Singa osooka okwetegereza b’ogenda okwogera nabo, ne bw’okikola okumala akaseera katono, osobola okumanya ebibakwatako n’embeera yaabwe. Osobola okumanya omulimu gwe bakola? Waliwo ekiraga eddiini gye balimu? Waliwo kyonna ekyoleka embeera eriwo mu maka ago? Ng’osinziira ku bye weetegerezza, osobola okukyusa mu nnyanjula yo esobole okusikiriza abakuwuliriza?
By’ogenda okubuulira abantu mu kitundu kyo, okusobola okubasikiriza olina okusooka okulowooza ku ngeri gy’onoobatuukiriramu. Mu bifo ebimu muyinza okubaamu abagwira. Ekitundu ky’obuuliramu bwe kiba nga kirimu abantu ng’abo, waliwo engeri ennungi gy’okozesa okubawa obujulirwa? Okuva bwe kiri nti Katonda ayagala “abantu bonna okulokoka, era [batuuke ku] kutegeerera ddala amazima,” kifuule kiruubirirwa kyo okubuulira buli gw’osanga obubaka bw’obwakabaka mu ngeri esikiriza.—1 Tim. 2:4.
Wuliriza Bulungi. Wadde nga Yakuwa amanyi buli kintu, awuliriza abalala. Nnabbi Mikaaya yafuna okwolesebwa nga Yakuwa akubiriza bamalayika okuwa endowooza zaabwe ku nsonga emu eyali eteesebwako. Katonda yakkiriza ekiteeso malayika omu kye yaleeta era n’amukkiriza okukiteeka mu nkola. (1 Bassek. 22:19-22) Ibulayimu bwe yali alina ky’abuuza ku musango ogwali gusaliddwa Sodomu, Yakuwa yamuwuliriza. (Lub. 18:23-33) Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Yakuwa eky’okuwuliriza endowooza z’abalala nga tuli mu buweereza bw’ennimiro?
Kubiriza abalala okuwa endowooza yaabwe. Buuza ekibuuzo ekituukirawo, era obawe omukisa okubaako kye baddamu. Wuliriza bulungi. Okubafaako mu ngeri eyo, kijja kubakubiriza okubaako bye boogera. Singa mu ebyo bye boogera booleka ekibali ku mutima, mu ngeri ey’amagezi, babuuze ebisingawo ku nsonga eyo naye tobabuuza kiyitiridde. Beebaze olw’okuwa endowooza yaabwe. Ne bw’oba nga tokkiriziganya na kye boogedde, beebaze.—Bak. 4:6.
Kyokka, mu kufaayo ku balala, tulina okwegendereza tuleme okusukka we tulina okukoma. Okufaayo ku balala, tekituwa bbeetu kuyingirira nsonga zaabwe ez’omunda. (1 Peet. 4:15) Tulina okwegendereza okuba nti omuntu bwe tutafaananya kikula tafuna ndowooza nkyamu ku kufaayo kwe tumulaga. Ate era obwegendereza bwetaagisa nnyo kubanga engeri omuntu gy’amanyamu nti omufuddeko eyinza okusinziira ku nsi gye mulimu oba ku muntu gw’oyogera naye.—Luk. 6:31.
Bwe tweteekateeka obulungi, kijja kutuyamba okuwuliriza obulungi. Bwe tuba tumanyi bulungi ebyo bye tugenda okwogera, kituyamba n’okussaayo omwoyo ng’abalala boogera. Kino nabo kibayamba okutuwuliriza nga twogera nabo.
Okuwuliriza abalala nga boogera kiraga nti tubassaamu ekitiibwa. (Bar. 12:10) Era kiraga nti tufaayo ku ndowooza yaabwe n’enneewulira. Ate kiyinza n’okubaleetera okussaayo ennyo omwoyo ku ebyo bye twogera. N’olw’ensonga eyo, Ekigambo kya Katonda kitukubiriza, “mubeerenga bangu ba kuwulira, mulwengawo okwogera.”—Yak. 1:19, NW.
Yamba Abalala Okukulaakulana. Okufaayo ku balala kujja kutuleetera okweyongera okulowooza ku abo abasiima obubaka bwaffe, era kutukubirize okuddayo okukubaganya nabo ebirowoozo ku mazima ga Baibuli, agajja okubayamba mu bulamu bwabwe. Bw’oba ng’oteekateeka okuddayo, lowooza ku ebyo bye wabamanyako omulundi gwe wasembayo okubakyalira. Teekateeka okwogera ku ebyo ebibakwatako. Balage engeri gye bayinza okuganyulwa mu ebyo bye bayiga.—Is. 48:17.
Singa omuntu akubuulira ekizibu ekimubobbya omutwe, weeyambise akakisa ako okumubuulira amawulire amalungi. Koppa ekyokulabirako kya Yesu, eyalinga omwetegefu buli kiseera okubudaabuda abennyamivu. (Mak. 6:31-34) Weewale okumusalirawo oba okumuwa amagezi nga tosoose kwetegereza bulungi nsonga. Kino kiyinza okuleetera omuntu okuwulira nti okufaayo kw’omulaga si kwa nnamaddala. Mu kifo ky’ekyo, laga nti omulumirirwa. (1 Peet. 3:8) Noonyereza mu bitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli, era omutegeeze ebyo by’olabyemu ebisobola okumuyamba. Kya lwatu, olw’okuba oyagala omuntu oyo, tojja kubuulirako mulala nsonga ze ez’omunda zaakutegeezezzako okuggyako nga waliwo ensonga ekwetaagisa okukikola.—Nge. 25:9.
Okusingira ddala twandifuddeyo ku abo be tuyigiriza Baibuli. Mu kusaba kwo, yogera ku byetaago bya buli muyizi, era birowoozeeko nga weeteekerateekera okusoma naye. Weebuuze, ‘Kiki kye yeetaaga okukola okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo?’ Mu ngeri ey’okwagala, yamba omuyizi okutegeera Baibuli n’ebitabo ebikubibwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ kye bigamba ku nsonga eyo. (Mat. 24:45) Emirundi egimu okunnyonnyola obunyonyozi kiyinza obutamala. Kiyinza okukwetaagisa okulaga omuyizi engeri y’okussa mu nkola omusingi gwa Baibuli, nga mukolera wamu ekintu ekiraga engeri y’okugukozesaamu.—Yok. 13:1-15.
Kyetaagisa okukozesa amagezi nga tuyamba abalala okutuukanya obulamu bwabwe n’emisingi gya Yakuwa. Abantu balina obusobozi bwa njawulo, bali mu mbeera za njawulo, era tebakulaakulanira ku sipiidi y’emu. Tobasuubira kukola bye batasobola. (Baf. 4:5) Tobakaka kukola nkyukakyuka mu bulamu bwabwe. Leka Ekigambo kya Katonda n’omwoyo omutukuvu bibakubirize. Yakuwa ayagala abantu bamuweereze kyeyagalire so si nga bawalirizibwa buwalirizibwa. (Zab. 110:3) Weewale okubasalirawo, ne bwe baba bakusabye, tokikola.—Bag. 6:5.
Baako ky’Okolawo Okubayamba. Wadde nga Yesu yali asinga kufaayo ku mbeera ey’eby’omwoyo ey’abo abaamuwulirizanga, yafaayo ne ku byetaago byabwe eby’omubiri. (Mat. 15:32) Ne bwe tuba nga tetulina bintu bingi, waliwo engeri nnyingi ze tuyinza okuyambamu abalala.
Okufaayo ku balala kijja kutuleetera okubalumirirwa. Ng’ekyokulabirako, singa embeera y’obudde eba eyisa bubi gw’oyogera naye, mukyuse ekifo we mwogerera oba kola enteekateeka okumusisinkana omulundi omulala. Bw’oba omukyalidde mu kiseera kikyamu, mutegeeze nti ojja kudda oluvannyumako. Singa muliraanwa wo oba omuntu alaze nti ayagala okuyiga aweebwa ekitanda mu ddwaliro, laga okufaayo ng’omuweerezaayo kaadi, akabaluwa oba ng’omukyalira. Bwe kiba kisoboka, osobola okumutwalira eby’okulya oba okumukolera ekintu ekirala kyonna ekyetaagisa.
Ng’abayizi ba Baibuli bagenda bakulaakulana, bayinza okuwuubaala olw’okuba tebakyakolagana nnyo na mikwano gyabwe egy’edda. Bafuule mikwano gyo. Waayo akaseera okunyumyako nabo nga mumaze okuyiga Baibuli oba mu biseera ebirala. Bakubirize okufuna emikwano emirungi. (Nge. 13:20) Bakubirize okubaawo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. Tuula nabo mu nkuŋŋaana, era basitulireko abaana baabwe kibasobozese okuganyulwa obulungi mu lukuŋŋaana.
Laga Okufaayo Okuviira Ddala ku Mutima. Okufaayo ku balala, ngeri esibuka mu mutima. Okufaayo ng’okwo kuyinza okulabikira mu ngeri nnyingi. Kuyinza okulabikira mu ngeri gye tuwulirizaamu era ne mu ngeri gye twogeramu. Era kulabikira mu bikolwa eby’ekisa bye tulaga abalala. Ne bwe tuba nga tetulina kye tukozeewo oba kye twogedde, engeri gye tweyisaamu n’endabika yaffe ey’oku maaso esobola okukyoleka. Bwe tuba nga ddala tufaayo ku balala, awatali kubuusabuusa bajja kukiraba.
Ensonga esinga obukulu etuleetera okufaayo ku balala eri nti twagala okukoppa okwagala n’ekisa Kitaffe ow’omu ggulu by’alaga. Kino kijja kuleetera abatuwuliriza okwagala Yakuwa era kibasobozese n’okuwuliriza obubaka bw’atuwadde okubunyisa. N’olwekyo, bw’oba obuulira, fuba ‘obuteefaako wekka, naye faayo ne ku balala.’—Baf. 2:4.