Oluyimba 154
Tujja Kweyongera Okugumiikiriza
Printed Edition
Wanula:
Tuyinza tutya
’Kugumira ebizibu?
Yesu yayita
Mu kugezesebwa kungi.
Teyaggwaamu maanyi;
Yagumiikiriza.
(CHORUS)
Okugumiikiriza.
Kikulu nnyo ddala.
Katonda atwagala.
Tujja kumunywererako ddala.
Wadde nga tuli
Mu bulumi bungi kati;
Maaso waliyo
Obulamu obulungi.
Tugumiikirize,
Tujja kubufuna.
(CHORUS)
Okugumiikiriza.
Kikulu nnyo ddala.
Katonda atwagala.
Tujja kumunywererako ddala.
Tetujja kutya
Wadde okubuusabuusa.
Tumaliridde
Okubeera abeesigwa.
Yo enkomerero
Eri kumpi ddala.
(CHORUS)
Okugumiikiriza.
Kikulu nnyo ddala.
Katonda atwagala.
Tujja kumunywererako ddala.
(Era laba Bik. 20:19, 20; Yak. 1:12; 1 Peet. 4:12-14.)