OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Yakuwa by’Atuyigiriza Bituyamba Okwewala Obusosoze
Yakuwa tasosola. (Bik 10:34, 35) Asembeza abantu okuva “mu buli ggwanga n’ebika . . . n’ennimi.” (Kub 7:9) N’olwekyo, mu kibiina Ekikristaayo temusaanidde kubaamu busosoze oba kyekubiira. (Yak 2:1-4) Olw’okuba Yakuwa atuyigiriza, tuli mu lusuku olw’eby’omwoyo omuli abantu abakoze enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe ne bafuuka abantu abalungi. (Is 11:6-9) Bwe tufuba okweggyamu obusosoze, tuba tukoppa Katonda.—Bef 5:1, 2.
MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, JOHNY NE GIDEON ABAALI BATAAGALANA KATI BA LUGANDA. OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
Lwaki ebyo Yakuwa by’atuyigiriza bituyambye okweggyamu obusosoze, ng’ate abantu bafubye nnyo okubumalawo naye ne balemererwa?
Owulira otya bw’olowooza ku luganda lwaffe olw’ensi yonna?
Bwe tusigala nga tuli bumu kireetera kitya Yakuwa ettendo?