Ensi Omutali Busosoze Eneebaawo Ddi?
“NNINA ekirooto.” Emyaka ataano egiyise, nga Agusito 28, 1963, Omumerika eyali omukulembeze w’abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu ayitibwa Martin Luther King, Jr., yayogera ebigambo ebyo mu kwogera kwe okumanyiddwa ennyo. Ng’akozesa ebigambo ebyo ebisikiriza, yalaga nti yalina essuubi nti luliba olwo ne waba nga tewakyaliwo busosoze mu langi. Wadde ng’ebigambo bye yabyogerera mu Amerika, abantu mu mawanga mangi baakwatibwako nnyo.
Martin Luther King, Jr., ng’ayogera eri abantu
Nga wayiseewo emyezi esatu, nga Noovemba 20, 1963, amawanga agasukka mu 100 gaatandika okussa mu nkola etteeka ly’ekibiina ky’Amawanga Amagatte ery’okumalawo obusosoze mu langi. Amateeka amalala gassibwawo mu myaka egyaddirira. Ekyo nno kituleetera okwebuuza: “Biki ebivudde mu kufuba okwo kwonna?”
Nga Maaki 21, 2012, Ssaabawandiisi w’ekibiina ky’Amawanga Amagatte Ban Ki-moon yagamba nti: “Waliwo endagaano eziwerako n’enteekateeka endala ezikoleddwa okuziyiza n’okumalirawo ddala obusosoze mu mawanga ne mu langi. Wadde kiri kityo, abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi yonna bakyabonaabona olw’obusosoze.”
N’amawanga agafubye okulwanyisa obusosoze gayambye buyambi bantu butabwoleka, naye tegasobodde kubumalirawo ddala mu bantu. Lwaki? Kubanga obusosoze eba ndowooza oba nneewulira eba mu mutima gw’omuntu, era nga kiba kizibu nnyo okugimuggyamu.
N’olwekyo, omuntu bw’aba ow’okuggwaamu obusosoze, talina kukoma bukomi ku kukyusa ngeri gy’ayisaamu abalala, naye era alina n’okukyusa endowooza gy’abalinako. Ekyo kisoboka kitya? Ka tulabe ebyokulabirako eby’abantu abaggwaamu obusosoze n’ekyabayamba.
BAYIBULI YABAYAMBA OKUGGWAAMU OBUSOSOZE
“Kati ndi musanyufu nnyo olw’okuba sikyali musosoze.”—Linda
Linda: Nnazaalibwa mu South Africa. Abaddugavu bonna ab’omu South Africa nnabatwalanga ng’abawansi, abataasoma, abateesigika, era abalina okuba abaddu b’abazungu. Kyokka, nnali sikimanyi nti obwo buba busosoze. Naye endowooza yange yakyuka bwe nnatandika okuyiga Bayibuli. Nnakitegeera nti “Katonda tasosola” era nti ekiri mu mitima gyaffe ky’atwala ng’ekikulu so si endabika yaffe oba olulimi lwe twogera. (Ebikolwa 10:34, 35; Engero 17:3) Ebigambo ebiri mu Abafiripi 2:3 nabyo byannyamba okukiraba nti bwe nkitwala nti abantu abalala bansinga, kinnyamba okuggwaamu obusosoze. Okukolera ku misingi gya Bayibuli ng’egyo kinnyambye okwagala abantu bonna ka babe ba langi ki. Kati ndi musanyufu nnyo olw’okuba sikyali musosoze.
“Nnategeera engeri Katonda gy’atwalamu abantu.”—Michael
Michael: Nnakulira mu kitundu ekyali kisinga okubaamu abantu b’omu Australia, era nnali saagalira ddala bantu abava mu Asiya, naddala Abakyayina. Bwe nnabanga nvuga emmotoka ne ndaba omuntu alabika ng’ow’omu Asiya, nnassanga endabirwamu ne mmuvuma era ne mmugamba nti “Ddayo ewammwe!” Bwe nnatandika okuyiga Bayibuli, nnategeera engeri Katonda gy’atwalamu abantu. Abaagala bonna ka babe nga ba ggwanga ki oba nga ba langi ki. Ekyo kyankwatako nnyo , era ne ntandika okwagala abantu bonna. Nnali simanyi nti nsobola okukola enkyukakyuka eyo. Kati ndi musanyufu nnyo olw’okuba nkolagana n’abantu ab’omu mawanga ag’enjawulo, era kinnyambye okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku balala.
“Endowooza yange yakyuka.”—Sandra
Sandra: Maama yazaalibwa mu ssaza eriyitibwa Delta ery’omu Nigeria. Ate ye taata yazaalibwa mu ssaza eriyitibwa Edo era abantu baayo boogera olulimi oluyitibwa Esan. Olw’okuba taata ne maama baali ba mawanga ga njawulo, ab’eŋŋanda za taata baali tebaagalira ddala maama era baamusosolanga okutuusisiza ddala lwe yafa. N’olwekyo nnalayira obutakolagana na bantu aboogera olulimi olwo oba okufumbirwa omusajja yenna ava mu ssaza lya Edo. Naye bwe nnatandika okuyiga Bayibuli, endowooza yange yakyuka. Bayibuli egamba nti Katonda tasosola era nti asiima omuntu yenna akola by’ayagala, kati olwo nze ani akyawa abantu olw’eggwanga lyabwe oba olw’olulimi lwe boogera? Nnatandika okukolagana obulungi n’ab’eŋŋanda za taata. Okukolera ku misingi gya Bayibuli kindeetedde essanyu lingi era mpulira nga nnina emirembe mu mutima. Ate era kinnyambye okukolagana obulungi n’abalala awatali kubasosola olw’endabika yaabwe, olulimi lwe boogera, oba olw’eggwanga lyabwe. Ye nno mbabuulire ki? Omusajja gwe nnafumbirwa ava mu ssaza lya Edo era ayogera olulimi oluyitibwa Esan!
Lwaki Bayibuli esobodde okuyamba abantu abo n’abalala bangi okuggwamu obusosoze? Kubanga Bayibuli Kigambo kya Katonda. Erina amaanyi agasobola okukyusa endowooza omuntu gy’alina ku bantu abalala. Ate era, Bayibuli etubuulira ekirala ekyetaagisa okusobola okumalirawo ddala obusosoze.
OBWAKABAKA BWA KATONDA BUJJA KUMALIRAWO DDALA OBUSOSOZE
Wadde nga Bayibuli esobola okukyusa endowooza y’abantu, waliwo ebintu ebirala bibiri ebirina okuggibwawo olwo nno obusosoze bulyoke buggwerewo ddala. Ekisooka, kye kibi n’obutali butuukirivu. Bayibuli egamba nti: ‘Tewali muntu atayonoona.’ (1 Bassekabaka 8:46) Ne bwe tufuba tutya okukola ebirungi, ffenna, okufaananako omutume Pawulo, tulina obunafu bwe tulwanagana nabwo. Yagamba nti: “Bwe njagala okukola ekituufu, ekibi kiba nange.” (Abaruumi 7:21) Bwe kityo nno, oluusi n’oluusi emitima gyaffe egitatuukiridde gibaamu “ebirowoozo ebibi” ebiyinza okutuleetera okusosola abalala.—Makko 7:21.
Eky’okubiri, ye Sitaani Omulyolyomi. Bayibuli egamba nti Sitaani “mussi” era nti ‘abuzaabuza ensi yonna.’ (Yokaana 8:44; Okubikkulirwa 12:9) Eyo ye nsonga lwaki abantu tebasobodde kumalawo kitta bantu, obusosoze mu langi, mu mawanga, mu ddiini, n’obusosoze obw’engeri endala.
N’olwekyo, okusobola okumalirawo ddala obusosoze, ekibi n’obutali butuukirivu bw’abantu nga kw’otadde ne Sitaani Omulyolyomi, birina kusooka kuggibwawo. Bayibuli eraga nti ekyo kyennyini Obwakabaka bwa Katonda kye bujja okukola.
Yesu Kristo yayigiriza abagoberezi be okusaba Katonda nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okuggyawo obutali bwenkanya obwa buli ngeri n’obusosoze bwonna.
Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaatandika okufuga ensi, Sitaani ajja ‘kusibibwa,’ “aleme okubuzaabuza amawanga nate.” (Okubikkulirwa 20:2, 3) Oluvannyuma wajja kubaawo ‘ensi empya, obutuukirivu mwe bulibeera.’a—2 Peetero 3:13.
Abantu abanaabeera mu nsi eyo ey’obutuukirivu, bajja kufuulibwa abatuukiridde, nga tebalina kibi kyonna. (Abaruumi 8:21) Olw’okuba bajja kuba bafugibwa Obwakabaka bwa Katonda, tebajja kuyisa bubi muntu yenna. Lwaki? “Kubanga ensi erijjula okumanya Mukama.” (Isaaya 11:9) Mu kiseera ekyo, abantu bonna bajja kuyiga ebikwata ku Yakuwa Katonda era bajja kukoppa engeri ze. Ekyo kitegeeza nti obusosoze bujja kuba buggwereddewo ddala, “kubanga Katonda tasosola.”—Abaruumi 2:11.
a Okumanya ebisingawo ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda n’ekyo kye bunaatera okukola, laba essuula 3, 8, 9, mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.