EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU: ENSI OMUTALI BUSOSOZE—ENEEBAAWO DDI?
Obusosoze Kizibu Ekiri mu Nsi Yonna
OKUVIIRA ddala mu buto, Jonathan Omukoreya enzaalwa y’Amerika yasosolwanga olw’endabika ye n’olw’eggwanga lye. Bwe yakula, yanoonya ekitundu mwe yandibadde abeera nga tasosolwa. Bwe yafuuka omusawo, yafuna omulimu mu ddwaliro erimu eriri mu mambuka g’essaza lya Alaska olw’okuba endabika ye yali ng’ey’abantu abasinga obungi abajjanjabirwanga mu ddwaliro eryo. Yalowooza nti bwe yandigenze eyo tebandimusosodde.
Kyokka, lumu yajjanjaba omukyala eyali azirise. Bwe yadda engulu n’alaba Jonathan, yamuvuma ng’akozesa ebigambo ebiraga nti yali tayagalira ddala Bakoreya. Ekyo kyayisa bubi nnyo Jonathan, era n’amanya nti tewali kitundu kyonna kye yandigenzeemu ekitaliimu busosoze.
Ekyo ekyatuuka ku Jonathan kiraga nti obusosoze buli mu buli kanyomero ka nsi. Kirabika buli awali abantu, waliwo obusosoze.
Ekyewuunyisa kiri nti obusosoze bweyongera bweyongezi wadde ng’abasinga obungi babuvumirira. Lwaki kiri bwe kityo? Kubanga abantu bangi abavumirira obusosoze balemererwa okulaba nti nabo bennyini basosoze. Kyandiba nti naawe bw’otyo bw’oli?
KITUKWATAKO KINNOOMU
Kizibu nnyo omuntu okukimanya nti mu mbeera ezimu ayinza okuba omusosoze. Bayibuli etulaga ensonga lwaki kiri bwe kityo. Egamba nti: “Omutima mulimba okusinga ebintu byonna.” (Yeremiya 17:9) N’olwekyo, tuyinza okwerimbalimba nti tewali muntu yenna gwe tusosola. Oba tuyinza okuba nga tetumanyi nti okuba n’endowooza enkyamu ku muntu olw’eggwanga lye buba busosoze.
Kiki kye wandirowoozezza nga weesanze mu mbeera ng’eno?
Lowooza ku kyokulabirako kino ekiraga nti kiyinza obutaba kyangu kumanya nti oluusi twoleka obusosoze: Ka tugambe nti otambula mu luguudo wekka mu budde obw’ekiro. Abavubuka babiri b’otolabangako batambula nga bajja gy’oli. Balabika nga ba maanyi, era omu ku bo alabika ng’alina ky’akutte mu ngalo.
Kiba kituufu okulowooza nti abavubuka abo ba bulabe gy’oli? Kyo kituufu nti oyinza okuba nga wali otuusiddwako obulabe mu mbeera ng’eyo era oba mutuufu okubeekengera, naye ekyo ku bwakyo kiba kiraga nti abavubuka abo ba bulabe gy’oli? Ye ate, abavubuka abo obateeberezza kuba ba ggwanga ki? Engeri gy’oddamu ekibuuzo ekyo eyinza okukulaga ekyo ekiri mu mutima gwo. Eyinza okukulaga nti mu ngeri emu eba endala, ososola abalala.
Bwe tuba abeesimbu, tusobola okukiraba nti mu ngeri emu oba endala ffenna tusosola abalala. Ne Bayibuli eraga engeri abantu gye batera okulagamu obusosoze. Egamba nti: “Abantu basalira abalala omusango nga basinziira ku ndabika yaabwe.” (1 Samwiri 16:7, Contemporary English Version) Okuva bwe kiri nti ffenna tuyinza okusosola abalala, waliwo essuubi lyonna nti tusobola okuggwamu obusosoze? Ekiseera kirituuka ensi yonna n’eba nga teriimu busosoze?