Omuweereza wa Yakuwa “Yafumitibwa olw’Okusobya Kwaffe”
“Yafumitibwa olw’okusobya kwaffe, yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe, . . . era emiggo gye gye gituwonya.”—IS. 53:5.
1. Kiki kye tulina okulowoozaako nga tukwata Ekijjukizo, era bunnabbi ki obutuyamba okukola ekyo?
OKUKWATA Ekijjukizo kituyamba okujjukira okufa kwa Kristo, n’okufumiitiriza ku birungi byonna ebivudde mu kufa kwe n’okuzuukira kwe. Ekijjukizo kitujjukiza nti Yakuwa y’asaanidde okufuga obutonde bwonna, nti ajja kutukuza erinnya lye, era nti ajja kutuukiriza ekigendererwa kye, omuli n’okulokola olulyo lw’omuntu. Obunnabbi obuli mu Isaaya 53:3-12 bwandiba nga bwe businga okulaga obulungi ebikwata ku ssaddaaka ya Kristo, awamu n’emiganyulo egivuddemu. Isaaya yalagula nti Omuweereza yali wa kubonaabona, yawa kalonda akwata ku ngeri Kristo gye yandiyisiddwamu ng’agenda okuttibwa, era yayogera ne ku mikisa okufa kwe gye kwandireetedde baganda be abaafukibwako amafuta, awamu n’abagoberezi be ‘ab’endiga endala.’—Yok. 10:16.
2. Obunnabbi bwa Isaaya bulaga ki, era okubwekenneenya kinaatukwatako kitya?
2 Ng’ebula ebyasa musanvu Yesu azaalibwe wano ku nsi, Yakuwa yaluŋŋamya Isaaya okulagula nti Omuweereza We omulonde yandikuumye obwesigwa ne bwe yandigezeseddwa kutuuka wa. Kino kiraga nti Yakuwa yali mukakafu nti Omwana we yali ajja kusigala nga mwesigwa. Okwekenneenya obunnabbi buno kijja kunyweza okukkiriza kwaffe.
“Yanyoomebwa” era ‘Teyabalwamu ka Buntu’
3. Lwaki Abayudaaya baali basaanidde okwaniriza Yesu, naye baamuyisa batya?
3 Soma Isaaya 53:3. Lowooza ku ngeri Omwana wa Katanda eyazaalibwa omu yekka gye yawuliramu olw’okuva mu ggulu gye yali ng’aweereza Kitaawe, n’ajja ku nsi aweeyo obulamu bwe nga ssaddaaka okununula olulyo ly’omuntu okuva mu kibi n’okufa! (Baf. 2:5-8) Ssaddaaka ye ye yandisozesezza ebibi by’abantu okusonyiyibwa mu bujjuvu, era nga kino ssaddaaka z’ensolo ezaaweebwangayo wansi w’Amateeka ga Musa kye zaali zisongako. (Beb. 10:1-4) Omuntu ng’oyo yali agwanidde okwanirizibwa n’okuweebwa ekitiibwa, naddala mu Bayudaaya abaali balindirira Masiya eyasuubizibwa. (Yok. 6:14) Naye mu kifo ky’ekyo, Kristo “yanyoomebwa” Abayudaaya, era ‘tebaamubalamu ka buntu,’ nga Isaaya bwe yali yalagula. Omutume Yokaana yawandiika nti: “Yajja mu matwale ge, naye abaali mu matwale ge tebaamusembeza.” (Yok. 1:11) Omutume Peetero yagamba Abayudaaya nti: “Katonda wa bajjajjaffe . . . agulumizza Omuweereza we Yesu gwe mwawaayo era ne mumwegaanira mu maaso ga Piraato bwe yali asazeewo okumusumulula. Mwegaana omutukuvu oyo era omutuukirivu.”—Bik. 3:13, 14, NW.
4. Mu ngeri ki Yesu gye yamanyiira obulwadde bwaffe?
4 Isaaya era yalagula nti Yesu yali wa ‘kumanya obuyinike,’ oba obulwadde bwaffe. Mu buweereza bwe, Yesu oluusi yakoowanga, naye teyalwalanga. (Yok. 4:6) Kyokka yali amanyi obulwadde bw’abantu be yayigirizanga. Yabakwatirwa ekisa era yawonya bangi. (Mak. 1:32-34) Bwe kityo, Yesu yatuukiriza obunnabbi buno obugamba nti: “Mazima yeetikka obuyinike [“obulwadde,” NW] bwaffe n’asitula ennaku zaffe.”—Is. 53:4a; Mat. 8:16, 17.
Yalinga ‘Afumitiddwa Katonda’
5. Abayudaaya bangi baatwala batya okuttibwa kwa Yesu, era lwaki kino kyamwongera okuwulira ennaku?
5 Soma Isaaya 53:4b. Abantu bangi ab’omu kiseera kya Yesu baalemwa okutegeera lwaki yabonaabona era n’attibwa. Baalowooza nti Katonda yali amubonereza, ng’alinga gw’asindikidde obulwadde obwa kabi ennyo. (Mat. 27:38-44) Abayudaaya baamusibako omusango gw’okuvvoola. (Mak. 14:61-64; Yok. 10:33) Kya lwatu nti Yesu teyali mwonoonyi oba muvvoozi. Naye olw’okuba yali ayagala nnyo Kitaawe, ye ng’Omuweereza wa Yakuwa okuvunaanibwa omusango gw’okuvvoola kyamwongera bwongezi okuwulira nnaku. Wadde kyali kityo, yali mwetegefu okukola nga Yakuwa bwe yali ayagala.—Mat. 26:39.
6, 7. Mu ngeri ki Yakuwa gye ‘yabetenta’ Omuweereza we omwesigwa, era lwaki Katonda ‘yakisiima’?
6 Nnabbi Isaaya okugamba nti abantu bandirowoozezza nti Kristo “yafumitibwa Katonda” kitegeerekeka, naye kyewuunyisa bw’agamba nti: “Mukama yasiima okumubetenta.” (Is. 53:10) Yakuwa ayinza atya okugamba nti: “Laba omuweereza wange . . . omulonde wange obulamu bwange gwe busanyukira,” ate ne kiba nti, “yasiima okumubetenta”? (Is. 42:1) Okubetenta Omuweereza we kyaleetera kitya Yakuwa essanyu?
7 Kino okusobola okukitegeera, tulina okukijjukira nti mu kusoomooza obufuzi bwa Yakuwa, Setaani yalaga nti abuusabuusa abaweereza ba Katonda bonna mu ggulu ne ku nsi. (Yobu 1:9-11; 2:3-5) Yesu okusigala nga mwesigwa okutuusa okufa kyalaga nti Setaani yali mulimba. N’olwekyo, wadde nga Yakuwa yaleka Kristo n’attibwa abalabe be, tewali kubuusabuusa nti yalumwa nnyo okulaba ng’Omuweereza we attibwa. Kyokka, okulaba Omwana we ng’alaga obwesigwa obutuukiridde kyasanyusa nnyo Yakuwa. (Nge. 27:11) Yakuwa era yasanyuka olw’okuba yali amanyi engeri okufa kw’Omwana we gye kwandiganyuddemu abantu abandyenenyezza.—Luk. 15:7.
“Yafumitibwa olw’Okusobya Kwaffe”
8, 9. (a) Mu ngeri ki Yesu gye “yafumitibwa olw’okusobya kwaffe”? (b) Kino Peetero yakiggumiza atya?
8 Soma Isaaya 53:6. Okufaananako endiga ezibuze, abantu babadde babungabunga bubunzibunzi nga banoonya okununulibwa okuva mu bulwadde n’okufa bye baasikira ku Adamu. (1 Peet. 2:25) Olw’okuba tebatuukiridde, bazzukulu ba Adamu bonna tekuli n’omu yali asobola kuzzaawo ekyo Adamu kye yatufiiriza. (Zab. 49:7) Kyokka, mu kwagala kwe okungi ennyo, ‘Yakuwa yateeka obutali butuukirivu bwaffe ffenna’ ku Mwana we omwagalwa era Omuweereza we gwe yalonda. Bwe yamuleka ‘okufumitibwa olw’okusobya kwaffe,’ ‘n’okubetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe,’ Kristo yeetikka ebibi byaffe ku muti era yafa mu kifo kyaffe.
9 Omutume Peetero yawandiika nti: “Ekyo kye mwayitirwa, kubanga era Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, ng’abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye. Eyeetikka ye yennyini ebibi byaffe mu mubiri gwe mu muti, ffe nga tumaze okufa mu bibi, tulyoke tubeerenga abalamu eri obutuukirivu.” Ng’ajuliza obunnabbi bwa Isaaya, Peetero yagattako nti: “Okukubibwa kw’oyo kwe kwabawonya.” (1 Peet. 2:21, 24; Is. 53:5) Kino kye kyasobozesa abantu aboonoonyi okufuna enkolagana ne Katonda, era nga Peetero bwe yannyonnyola nti: “Kristo yabonyaabonyezebwa olw’ebibi omulundi gumu, omutuukirivu olw’abatali batuukirivu, atuleete eri Katonda.”—1 Peet. 3:18.
“Ng’Omwana gw’Endiga Ogutwalibwa Okuttibwa”
10. (a) Yokaana Omubatiza yayogera atya ku Yesu? (b) Lwaki ebigambo bya Yokaana byali bituukirawo?
10 Soma Isaaya 53:7, 8. Bwe yalaba Yesu ng’ajja, Yokaana Omubatiza yagamba: “Laba, Omwana gw’endiga gwa Katonda aggyawo ebibi by’ensi!” (Yok. 1:29) Mu kwogera ku Yesu ng’Omwana gw’endiga, Yokaana yandiba nga yali alowooza ku bigambo bya Isaaya bino: “Ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa.” (Is. 53:7) Isaaya yalagula nti: “Yafuka [“yayiwa,” NW] obulamu bwe okutuusa ku kufa.” (Is. 53:12) Weetegereze nti Yesu bwe yali atandikawo Ekijjukizo ky’okufa kwe, yawa abatume be abeesigwa 11 ekikopo ky’enviinyo n’agamba nti: “Kino gwe musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika ku lw’abangi olw’okuggyawo ebibi.”—Mat. 26:28.
11, 12. (a) Isaaka okuba omwetegefu okuweebwayo nga ssaddaaka kiraga ki ku ssaddaaka ya Kristo? (b) Bwe tukwata Ekijjukizo, kiki kye tulina okujjukira ku Ibulayimu Asinga Obukulu, Yakuwa?
11 Okufaananako omusajja ow’edda Isaaka, Yesu yali mwetegefu okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka okusobola okutuukiriza Yakuwa ky’ayagala. (Lub. 22:1, 2, 9-13; Beb. 10:5-10) Wadde nga Isaaka yali mwetegefu okuweebwayo nga ssaddaaka, Ibulayimu ye yali awaayo ssaddaaka eyo. (Beb. 11:17) Mu ngeri y’emu, wadde nga Yesu yakkiriza okufa, Yakuwa ye yakola enteekateeka y’okumuwaayo ng’ekinunulo. N’olwekyo, okuwaayo Omwana we nga ssaddaaka kyali kikolwa ekyalaga okwagala okw’amaanyi Katonda kw’alina eri olulyo lw’omuntu.
12 Yesu kennyini yagamba nti: “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 3:16) Omutume Pawulo yawandiika nti: “Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n’atufiirira.” (Bar. 5:8) N’olwekyo, kituufu nti tulina okuwa Kristo ekitiibwa nga tujjukira okufa kwe, naye tetusaanidde kwerabira nti eyakola enteekateeka z’ekinunulo ye Ibulayimu Asinga Obukulu, Yakuwa. Ettendo eriva mu kukwata Ekijjukizo ky’okufa kwa Yesu lidda eri ye.
Omuweereza Aweesa “Bangi Obutuukirivu”
13, 14. Mu ngeri ki Omuweereza wa Yakuwa gye ‘yaweesa abangi obutuukirivu’?
13 Soma Isaaya 53:11, 12. Ng’ayogera ku Muweereza we gwe yalonda, Yakuwa yagamba nti: “Omuweereza wange omutuukirivu aliweesa bangi obutuukirivu.” Mu ngeri ki? Olunyiriri 12 we lusembera watuyamba okufuna eky’okuddamu. “Era [Omuweereza] yawolereza abasobya.” Abantu bonna abaava mu Adamu baazaalibwa boonoonyi, oba ‘basobya,’ era bwe kityo bafuna “empeera y’ekibi,” nga kuno kwe kufa. (Bar. 5:12; 6:23) Waalina okubaawo ekikolebwa okuzzaawo enkolagana wakati wa Yakuwa n’abantu aboonoonyi. Obunnabbi obuli mu Isaaya essuula 53 bulaga bulungi engeri Yesu gye “yawolereza,” abantu aboonoonyi nga bugamba nti: “Yafumitibwa olw’okusobya kwaffe, yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe: okubonerezebwa okw’emirembe gyaffe kwali ku ye; era emiggo gye gye gituwonya.”—Is. 53:5.
14 Bwe yeetikka ebibi byaffe era n’afa ku lwaffe, Kristo ‘yaweesa bangi obutuukirivu.’ Pawulo yawandiika nti: “Katonda yalaba nga kirungi okuleka ebintu byonna okubeera mu ye [Kristo] mu bujjuvu, era okuyitira mu ye addemu okutabaganya ebintu byonna gy’ali ng’aleetawo emirembe okuyitira mu musaayi gwe yayiwa ku muti ogw’okubonaabona, ka bibe bintu eby’oku nsi oba eby’omu ggulu.”—Bak. 1:19, 20, NW.
15. (a) “Eby’omu ggulu” Pawulo bye yayogerako be baani? (b) Baani bokka abagwanidde okulya n’okunywa ku bubonero bw’Ekijjukizo, era lwaki?
15 “Eby’omu ggulu” ebyatabaganyizibwa ne Yakuwa okuyitira mu musaayi gwa Kristo ogwayiika be Bakristaayo abaafukibwako amafuta, abaayitibwa okufuga ne Kristo mu ggulu. Abakristaayo “abalina omugabo mu kuyitibwa okw’omu ggulu” baweebwa ‘obutuukirivu olw’obulamu.’ (Beb. 3:1; Bar. 5:1, 18) Bwe kityo Yakuwa abatwala ng’abaana be ab’omwoyo. Omwoyo omutukuvu gubawa obujulirwa nti ‘basikira wamu ne Kristo,’ era nti baayitibwa okuba bakabaka era bakabona mu Bwakabaka obw’omu ggulu. (Bar. 8:15-17; Kub. 5:9, 10) Bafuuka Baisiraeri ab’omwoyo, “Isiraeri wa Katonda,” era bayingizibwa mu ‘ndagaano empya.’ (Yer. 31:31-34; Bag. 6:16) Olw’okuba bali mu ndagaano eyo empya, bagwanidde okulya n’okunywa ku bubonero bw’Ekijjukizo, omuli ekikopo ky’envinnyo emmyufu, Yesu kye yayogerako nti: “Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange, oguyiika ku lwammwe.”—Luk. 22:20.
16. “Eby’oku nsi” ebyogerwako be baani, era mu ngeri ki gye babalibwa ng’abatuukirivu mu maaso ga Yakuwa?
16 “Eby’oku nsi” ze ndiga endala eza Kristo, abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi. Bano nabo Omuweereza wa Yakuwa abaweesa obutuukirivu mu maaso ga Yakuwa. Olw’okuba bakkiririza mu kinunulo kya Kristo, mu ngeri eyo baba ‘boozezza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’endiga,’ Yakuwa ababala ng’abatuukirivu, bafuuka mikwano gye, era abawa essuubi ery’okuwonawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene.’ (Kub. 7:9, 10, 14; Yak. 2:23) Olw’okuba tebali mu ndagaano empya ey’abo abalina essuubi ery’okubeera mu ggulu, ab’endiga endala tebalya era tebanywa ku bubonero bwa Kijjukizo, naye omukolo ogwo bagubeerako ng’abatunuulizi.
Tulage nti Tusiima Yakuwa n’Omuweereza We
17. Okwetegereza obunnabbi bwa Isaaya obukwata ku Muweereza kituyambye kitya okwetegekera Ekijjukizo?
17 Okwetegereza obunnabbi bwa Isaaya obukwata ku Muweereza kitusobozesezza okuteekateeka obulungi emitima gyaffe nga tugenda okukwata Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo. Kituyambye ‘okwekaliriza Yesu, Omubaka Omukulu era Omutuukiriza w’okukkiriza kwaffe.’ (Beb. 12:2, NW) Tuyize nti Omwana wa Katonda muwulize. Obutafaananako Setaani, ye ayagala nnyo okuyigirizibwa Yakuwa, era gw’atwala ng’Omufuzi w’obutonde bwonna. Tulabye nti mu buweereza bwe ku nsi, Yesu yalaga abantu obusaasizi ng’ayigiriza, n’abawonya endwadde era n’abayamba okufuna enkolagana ne Katonda. Bwe kityo yalaga ebyo by’ajja okukola ng’afuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Masiya mu nteekateeka y’ebintu empya, ‘ng’ataddewo obwenkanya ku nsi.’ (Is. 42:4, NW) Obunyiikivu bwe yalaga mu kubuulira Obwakabaka ‘ng’ekitangaala eri amawanga,’ bukubiriza abagoberezi be bonna okuba abanyiikivu mu kubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna.—Is. 42:6.
18 Obunnabbi bwa Isaaya era butuyamba okweyongera okutegeera engeri Yakuwa gye yeefiirizaamu bwe yatuma Omwana we omwagalwa ennyo ku nsi okutufiirira. Ekyasanyusa Yakuwa si kwe kulaba Omwana we ng’abonaabona, wabula kwe kulaba Yesu ng’ayoleka obwesigwa obutuukiridde okutuusa okufa. Okufaananako Yakuwa, naffe twandibadde basanyufu nnyo olw’ebyo Yesu bye yakola okwanika obulimba bwa Setaani n’okutukuza erinnya lya Yakuwa, bw’atyo n’alaga nti Yakuwa y’asaanidde okufuga obutonde bwonna. Ng’oggyeko ekyo, Kristo yeetikka ebibi byaffe era yafa ku lwaffe. Mu kukola atyo, yasobozesa baganda be abaafukibwako amafuta ab’ekisibo ekitono, era n’ab’endiga endala okuweebwa obutuukirivu mu maaso ga Yakuwa. Ka ffenna tulage okusiima okw’amaanyi eri Yakuwa n’Omuweereza we omwesigwa nga tukuŋŋaanye okukwata Ekijjukizo.
Okwejjukanya
• Mu ngeri ki Yakuwa gye ‘yasiima okubetenta’ Omwana we?
• Mu ngeri ki Yesu gye “yafumitibwa olw’okusobya kwaffe”?
• Mu ngeri ki Omuweereza gye ‘yaweesa abangi obutuukirivu’?
• Okwetegereza obunnabbi obukwata ku Muweereza kikuyambye kitya okwetegekera Ekijjukizo?
18. Lwaki obunnabbi bwa Isaaya butuleetera okusiima ennyo Yakuwa n’Omuweereza we omwesigwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
‘Yanyoomebwa era tetwamubalamu ka buntu’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
“Yafuka obulamu bwe okutuusa ku kufa”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
‘Ab’endiga endala’ babaawo ku kijjukizo ng’abatunuulizi