LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb17 Febwali lup. 6
  • Sanyuka olw’Essuubi ly’Olina

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Sanyuka olw’Essuubi ly’Olina
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Similar Material
  • Kuuma Essuubi Lyo nga Linywevu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Lindirira Yakuwa ng’Olina Essuubi era Beera Muvumu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Wa w’Oyinza Okuggya Essuubi Erya Nnamaddala?
    Zuukuka!—2004
  • Weenyumiririze mu Ssuubi Eritamalaamu Maanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
mwb17 Febwali lup. 6
Ab’omu maka beegeza mu nnyanjula gye banaakozesa mu buweereza

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Sanyuka olw’Essuubi ly’Olina

Essuubi liringa ennanga y’eryato. (Beb 6:19) Lituyamba obutabbira mu by’omwoyo nga tufunye ebizibu ebiringa omuyaga. (1Ti 1:18, 19) Ebizibu ebyo biyinza okuba ebintu ebitumalamu amaanyi, obulwadde obw’amaanyi, okufiirwa omuntu waffe, oba ekintu ekirala kyonna ekiyinza okugezesa obwesigwa bwaffe eri Yakuwa.

Bwe tuba n’okukkiriza, tuba ng’abalaba ebintu Katonda bye yasuubiza. (2Ko 4:16-18; Beb 11:13, 26, 27) N’olwekyo, ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba kubeera ku nsi emirembe gyonna, tusaanidde okufumiitiriza ku bisuubizo bya Katonda ebiri mu Bayibuli tusobole okunyweza essuubi lyaffe. Ne bwe tunaafuna ebizibu, tujja kusobola okusigala nga tuli basanyufu.​—1Pe 1:6, 7.

MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, SANYUKA OLW’ESSUUBI LY’OLINA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Musa yatuteerawo atya ekyokulabirako ekirungi?

  • Emitwe gy’amaka balina buvunaanyizibwa ki?

  • Bintu ki bye muyinza okukubaganyaako ebirowoozo mu Kusinza kw’Amaka?

  • Essuubi lye tulina liyinza kutuyamba litya nga tufunye ebizibu?

  • Biki bye weesunga?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share