LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb18 Febwali lup. 4
  • “Kitaawo ne Nnyoko Obassangamu Ekitiibwa”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Kitaawo ne Nnyoko Obassangamu Ekitiibwa”
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Similar Material
  • Okuwa Bazadde Baffe Abakaddiye Ekitiibwa
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
  • Wa Ekitiibwa Abo Be Kigwanira
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Bayibuli Eyogera ki ku Kulabirira Abazadde Abakaddiye?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
mwb18 Febwali lup. 4

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

“Kitaawo ne Nnyoko Obassangamu Ekitiibwa”

Yesu bwe yali ku nsi, yajjukiza abantu etteeka erigamba nti: “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.” (Kuv 20:12; Mat 15:4) Yesu yayogera ebigambo ebyo n’obuvumu kubanga naye bwe yali akyali muto, ‘yagondera’ bazadde be. (Luk 2:51) Ate era ne bwe yali akuze, ng’anaatera okufa, yakola enteekateeka maama we asobole okusigala ng’alabirirwa.​—Yok 19:26, 27.

Abaana Abakristaayo abagondera bazadde baabwe era ne boogera nabo bulungi, baba balaga nti babassaamu ekitiibwa. Etteeka eritulagira okugondera bazadde baffe teririiko myaka. Bazadde baffe ne bwe baba bakaddiye, tusaanidde okweyongera okubassaamu ekitiibwa nga tukolera ku magezi ge batuwa. (Nge 23:22) Ate era bwe tulabirira bazadde baffe abakaddiye, kiba kiraga nti tubassaamu ekitiibwa. (1Ti 5:8) Ka tube bato oba bakulu, bwe tuba n’empuliziganya ennungi ne bazadde baffe, kiraga nti tubassaamu ekitiibwa.

MULABE VIDIYO YA BUKAATUUNI ERINA OMUTWE, NNYINZA KWOGERA NTYA NE BAZADDE BANGE? OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Lwaki kiyinza okukuzibuwalira okwogera ne bazadde bo?

  • Bw’oba oyogera ne bazadde bo, oyinza otya okulaga nti obassaamu ekitiibwa?

    Omwana awandiikira bazadde be akabaluwa, ayogera ne bazadde be, era azannya akapiira ne mikwano gye
  • Lwaki kirungi okufuba okwogeranga ne bazadde bo? (Nge 15:22)

    Abazadde bayigiriza omwana waabwe engeri gy’ayinza okuyita mu kusoomooza okujja mu maaso

    Okwogera ne bazadde bo kya muganyulo nnyo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share