LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwbr18 Febwali lup. 1-7
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2018
  • Subheadings
  • FEBWALI 5-11
Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2018
mwbr18 Febwali lup. 1-7

Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

FEBWALI 5-11

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 12-13

“Olugero lw’Eŋŋaano n’Omuddo”

w13 7/15 lup. 9-10 kat. 2-3

“Laba! Ndi Wamu Nammwe Ennaku Zonna”

Ebintu Yesu bye yayogerako mu lugero lw’eŋŋaano n’omuddo biraga engeri Yesu gye yandikuŋŋaanyizzaamu abaafukibwako amafuta, abalinga eŋŋaano era abajja okufugira awamu naye mu Bwakabaka bwe, era biraga ne ddi ekyo lwe kyandibaddewo. Eŋŋaano yatandika okusigibwa ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. Okukuŋŋaanya eŋŋaano kujja kukomekkerezebwa ng’abaafukibwako amafuta abanaaba bakyaliwo ku nsi ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu bateekeddwako akabonero akasembayo era ne batwalibwa mu ggulu. (Mat. 24:31; Kub. 7:1-4) Ng’omuntu aba ayimiridde ku lusozi bw’asobola okulengera ewala, n’olugero lwa Yesu olwo lutuyamba okutegeera ebintu ebyandibaddewo mu myaka nga 2,000. Bintu ki ebikwata ku Bwakabaka ebyogerwako mu lugero olwo? Olugero olwo lwogera ku kiseera eky’okusiga, eky’okukula, n’eky’amakungula. Ekitundu kino okusingira ddala kigenda kwogera ku kiseera eky’amakungula.

YESU ABAKUUMA

Ekyasa eky’okubiri bwe kyali kyakatandika, ‘omuddo ogufaanana ng’eŋŋaano,’ Abakristaayo ab’obulimba, gwatandika okulabika. (Mat. 13:26) Ekyasa eky’okuna we kyatuukira, Abakristaayo abalinga omuddo baali basinga Abakristaayo abaafukibwako amafuta obungi. Kijjukire nti mu lugero lw’eŋŋaano n’omuddo, abaddu baasaba mukama waabwe abakkirize okukuula omuddo mu ŋŋaano. (Mat. 13:28) Kiki mukama waabwe kye yabagamba?

w13 7/15 lup. 10 ¶4

“Laba! Ndi Wamu Nammwe Ennaku Zonna”

Bwe yali ayogera ku ŋŋaano n’omuddo, Yesu yagamba nti: “Mubireke bikulire wamu okutuusa ku makungula.” Ekyo kiraga nti okuva mu kyasa ekyasooka n’okutuusa leero, wabaddengawo Abakristaayo abaafukibwako amafuta ku nsi abalinga eŋŋaano. Ekyo tukirabira ne mu bigambo Yesu bye yagamba abayigirizwa be oluvannyuma. Yabagamba nti: “Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.” (Mat. 28:20) N’olwekyo, Yesu yandikuumye Abakristaayo abaafukibwako amafuta ennaku zonna okutuukira ddala mu kiseera eky’enkomerero. Kyokka okuva bwe kiri nti Abakristaayo ab’obulimba abalinga omuddo baali babuutikidde abaafukibwako amafuta, tetusobola kutegeerera ddala Abakristaayo abalinga eŋŋaano abaaliwo mu kiseera ekyo ekyali ekiwanvu ennyo. Kyokka bwe waali wabula emyaka nga 30 ekiseera ky’amakungula kitandike, Abakristaayo abalinga eŋŋaano baatandika okweyoleka. Baatandika batya okweyoleka?

w13 7/15 lup. 12 ¶10-12

“Laba! Ndi Wamu Nammwe Ennaku Zonna”

Ekisooka, okukuŋŋaanya omuddo. Yesu yagamba nti: “Mu kiseera eky’amakungula ndigamba abakunguzi nti, Musooke mukuŋŋaanye omuddo ogufaanana eŋŋaano, mugusibe mu miganda.” Mu 1914, bamalayika baatandika ‘okukuŋŋaanya’ Abakristaayo ab’obulimba abalinga omuddo nga babaawula ku baafukibwako amafuta, ‘abaana b’obwakabaka.’​—Mat 13:30, 38, 41.

Omulimu gw’okukuŋŋaanya omuddo bwe gwali gugenda mu maaso, enjawulo wakati w’Abakristaayo ab’amazima n’Abakristaayo ab’obulimba yeeyongera okweyoleka. (Kub. 18:1, 4) Omwaka gwa 1919 we gwatuukira, kyeyoleka lwatu nti Babulooni Ekinene kyali kigudde. Naye okusingira ddala kiki ekyali kifuula Abakristaayo ab’amazima ab’enjawulo ku Bakristaayo b’obulimba? Omulimu gw’okubuulira. Abo abaali batwala obukulembeze mu Bayizi ba Bayibuli baatandika okussa essira ku ky’okuba nti buli omu ku Bayizi ba Bayibuli yeenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Ng’ekyokulabirako, akatabo akayitibwa To Whom the Work Is Entrusted, akaakubibwa mu 1919, kaakubiriza Abakristaayo bonna abaafukibwako amafuta okubuulira nnyumba ku nnyumba. Kaagamba nti: “Kyo kituufu nti omulimu gwe tulina okukola munene nnyo, naye gwa Mukama waffe, era ajja kutuwa amaanyi ageetaagisa okugukola. Nkizo ya maanyi okwenyigira mu mulimu ogwo.” Biki ebyavaamu? Magazini ya Watch Tower eyakubibwa mu 1922 yagamba nti Abayizi ba Bayibuli beeyongera okukola omulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu. Okuva olwo n’okutuusa leero, Abakristaayo ab’amazima bamanyiddwa ng’abantu ababuulira nnyumba ku nnyumba.

Eky’okubiri, okukuŋŋaanya eŋŋaano. Yesu yagamba bamalayika be nti: “Mukuŋŋaanyize eŋŋaano mu tterekero lyange.” (Mat. 13:30) Okuva mu 1919, abaafukibwako amafuta babadde bakuŋŋaanyizibwa mu kibiina Ekikristaayo ekyazzibwawo. Okukuŋŋaanya eŋŋaano kujja kukomekkerezebwa ng’Abakristaayo abaafukibwako amafuta abanaaba bakyali ku nsi ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu baweereddwa empeera yaabwe mu ggulu.​—Dan. 7:18, 22, 27.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 12:20

olutambi oluzimeera: Ettaala ezaakozesebwanga awaka zaakolebwanga mu bbumba, era baakozesanga amafuta g’ezzeyituuni okuzaakisa. Mu ttaala ezo baateekangamu olutambi olwasikanga amafuta ettaala n’eyaka. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “olutambi oluzimeera” kiyinza okuba nga kitegeeza olutambi olwanyookanga ng’omuliro gw’ettaala gunaatera okuzikira oba nga guzikidde. Obunnabbi obuli mu Isaaya 42:3 obukwata ku Yesu, bulaga nti olw’okuba Yesu musaasizi, n’essuubi ettono ennyo abantu abawombeefu era abanyigirizibwa lye baalina yandibadde talizikiza.

w16.10 lup. 32

Obadde Okimanyi?

Kituufu nti mu biseera eby’edda omuntu yali asobola okusiga omuddo mu nnimiro y’omuntu omulala?

MU MATAYO 13:24-26, Yesu yagamba nti: “Obwakabaka obw’omu ggulu buyinza okugeraageranyizibwa ku muntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye. Abantu bwe baali beebase, omulabe we n’ajja n’asiga mu ŋŋaano omuddo n’agenda. Bwe byakula ne bibala, omuddo ne gulabika.” Abantu abamu babuusabuusa obanga ddala ekintu ng’ekyo kyali kisobola okubaawo, naye ebiwandiiko by’Abaruumi eby’esigika eby’edda biraga nti ddala kyali kisobola okubaawo.

“Enkuluze emu ennyonnyola ebigambo bya Bayibuli egamba nti: “Mu mateeka ga Rooma mwalimu etteeka erigaana omuntu okusiga omuddo mu nnimiro ya munne ng’ayagala okumwesasuza. Okuba nti etteeka eryo lyaliwo, kiraga nti abantu baakolanga ekintu ekyo.” Munnabyafaayo w’eby’amateeka ayitibwa Alastair Kerr yagamba nti: ‘Mu mwaka gwa 533 E.E., empula wa Rooma Justinian yafulumya ekiwandiiko ekiyitibwa Digest. Ekiwandiiko ekyo kyalimu amateeka ga Rooma mu bufunze era n’ebimu ku bigambo ebyayogerwa bannamateeka abaaliwo wakati w’omwaka gwa 100 E.E. n’ogwa 250 E.E.’ Okusinziira ku kiwandiiko ekyo, munnamateeka omu ayitibwa Ulpian yayogera ku musango ogumu ogwazibwa mu kyasa eky’okubiri, omuntu omu bwe yawawaabira omulala eyali asize omuddo mu nnimiro ye ne kiviirako ebirime bye okufa. Ekiwandiiko ekyo era kiraga engeri oyo eyabanga asize omuddo mu nnimiro ya munne gye yali alina okuliwa olw’okutta ebirime bya munne.

Okuba nti enkola y’abantu okusiga omuddo mu nnimiro z’abalala yaliwo mu bitundu by’Obwakabaka bwa Rooma kiraga nti Yesu yakozesa ekyokulabirako abantu kye baali bamanyi obulungi.

FEBWALI 12-18

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 14-15

“Yaliisa Bangi ng’Ayitira mu Batono”

w13 7/15 lup. 15 ¶2

Yaliisa Bangi ng’Ayitira mu Batono

Bwe yalaba ekibiina ky’abantu abo, Yesu yabasaasira, n’awonya abalwadde baabwe, era n’abayigiriza ebintu bingi ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Obudde bwe bwawuungeera, abayigirizwa baagamba Yesu asiibule abantu bagende mu bubuga obuliraanyeewo beegulire emmere. Naye Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mmwe mubawe eky’okulya.” Ekyo kye yabagamba kiteekwa okuba nga kyabeewuunyisa nnyo, kubanga baalinawo emigaati etaano gyokka n’eby’ennyanja bibiri byokka.

w13 7/15 lup. 15 ¶3

Yaliisa Bangi ng’Ayitira mu Batono

Yesu yakwatirwa abantu ekisa n’akola ekyamagero, era nga kino kye kyamagero kyokka ekisangibwa mu bitabo by’Enjiri byonna ebina. (Mak. 6:35-44; Luk. 9:10-17; Yok. 6:1-13) Yesu yagamba abayigirizwa be okutuuza abantu ku muddo mu bibinja bya bantu kikumi kikumi, n’ebirala bya bantu ataano ataano. Oluvannyuma lw’okusaba, yamenyaamenyamu emigaati n’eby’ennyanja. Mu kifo ky’okuwa abantu emmere eyo obutereevu, Yesu ‘yagiwa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagigabira abantu.’ Mu ngeri ey’ekyamagero, emmere eyo yamala abantu bonna! Weetegereze: Yesu yaliisa enkumi n’enkumi z’abantu ng’ayitira mu bantu batono, kwe kugamba, ng’ayitira mu bayigirizwa be

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 14:21

nga tobaliddeeko bakazi na baana: Matayo yekka ye yayogera ku bakazi n’abaana bwe yali awandiikia ku kyamagero Yesu kye yakola. Kirabika abantu bonna Yesu be yaliisa baasukka mu 15,000.

w13 7/15 lup. 15 ¶1

Yaliisa Bangi ng’Ayitira mu Batono

LOWOOZA ku ekyo ekyaliwo. (Soma Matayo 14:14-21.) Embaga y’Okuyitako ey’omwaka gwa 32 E.E. yali enaatera okutuuka. Abasajja nga 5,000, nga tobaliddeko bakazi na baana, baali wamu ne Yesu awamu n’abayigirizwa be mu kitundu ekyesudde ekiri okumpi ne Besusayida, ekyalo ekiri ebukiikakkono bw’Ennyanja ey’e Ggaliraaya.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 15:7

bannanfuusi: Ekigambo ky’Oluyonaani hy·po·kri·tesʹ okusooka kyakozesebwanga ku bazannyi ba katemba Abayonaani (n’oluvanyuma Abaruumi), abaayambanga obukookolo obunene obwakolebwa okwongeza amaloboozi gaabwe. Ekigambo ekyo kyatandika n’okukozesebwa ku muntu akweka ebiruubirirwa bye byennyini oba ekyo ky’ali. Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya Yesu yabayita “bannanfuusi.”​—Mat 6:5, 16.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 15:26

abaana . . . obubwa obuto: Olw’okuba embwa tezaabanga nnoongoofu okusinziira ku Mateeka ga Musa, ebyawandiikibwa bwe biba by’ogera ku mbwa emirundi egisinga bizoogerako mu ngeri etali nnungi. (Lev 11:27; Mat 7:6; Baf 3:2; Kub 22:15) Naye Yesu bwe yayogera ku “bubwa obuto” oba “obubwa bw’awaka” mu Matayo ne mu Makko (7:27), yali tabwogerako mu ngeri mbi. Oboolyawo Yesu yali ategeeza ebisobola ebyabeeranga mu maka g’abantu abataali Bayudaaya, ebyayagalibwanga ennyo. Yesu bwe yageraageranya Abayudaaya ku “baana” ate abataali Bayudaaya ku “bubwa obuto,” tewali kubuusabuusa nti yali ategeeza be yalina okusoosa. Mu maka omwabeeranga abaana era n’embwa, abaana be baasookanga okulya.

FEBWALI 19-25

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 16-17

“Olina Ndowooza y’Ani?”

w07 3/1 lup. 13 ¶17

Abasajja​—Mukoppe Obukulembeze bwa Kristo

Olulala, Yesu yagamba abayigirizwa be nti alina okugenda e Yerusaalemi, gye yali ajja okubonyaabonyezebwa “abakadde ne bakabona abakulu n’abawandiisi, n’okuttibwa, ne ku lunaku olw’okusatu okuzuukizibwa.” Peetero bwe yawulira bino n’azza Yesu ku bbali n’amugamba nti: “Nedda, Mukama wange: ekyo tekirikubaako n’akatono.” Endowooza ya Peetero teyali nnungi, era yali yeetaaga okutereezebwa. Bwe kityo Yesu yamugamba: “Dda ennyuma wange, Setaani, oli nkonge gye ndi: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby’abantu.”​—Matayo 16:21-23.

w15 5/15 lup. 13 kat. 16-17

Beera Bulindaala Sitaani Ayagala Kukulya!

Sitaani asobola n’okulimba abaweereza ba Yakuwa abanyiikivu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo ekyaliwo Yesu bwe yagamba abagoberezi be nti yali anaatera okuttibwa. Nga talina biruubirirwa bibi, Peetero yazza Yesu ebbali n’amugamba nti: “Weesaasire Mukama wange; kino tekirikutuukako n’akatono.” Yesu yamuddamu nti: “Dda ennyuma wange Sitaani!” (Mat. 16:22, 23) Lwaki Yesu yayita Peetero “Sitaani”? Kubanga yali amanyi bulungi ekyo ekyali kinaatera okubaawo. Ekiseera kyali kinaatera okutuuka Yesu okuttibwa, aweeyo obulamu bwe nga ssaddaaka y’ekinunulo era akirage nti Omulyolyomi mulimba. Mu kiseera ekyo ekyali ekikulu ennyo, Yesu yali teyeetaaga ‘kwesaasira.’ Singa Yesu yalekera awo okuba obulindaala, ekyo kyandisanyusizza nnyo Sitaani.

Okuva bwe kiri nti enkomerero eneetera okutuuka, naffe ekiseera kye tulimu kikulu nnyo. Sitaani ayagala tulekere awo okuba obulindaala, ‘twesaasire’ nga twemalira ku kwenoonyeza ebintu mu nsi eno. Ekyo tokikkiriza kukutuukako! ‘Beera bulindaala.’ (Mat. 24:42) Tokkiriza Sitaani kukulimba nti enkomerero ekyali wala nnyo oba nti eyinza n’obutajjira ddala.

w06 4/1 lup. 21 ¶9

‘Mugende Mufuule Amawanga Abayigirizwa, Mubabatize

Okugoberera ekyokulabirako kya Yesu eky’okukola Katonda by’ayagala kizingiramu ki? Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Omuntu bw’ayagala okujja ennyuma wange, yeefirize yekka, yeetikke [omuti gwe ogw’okubonyaabonyerezebwako angobererenga].” (Matayo 16:24) Wano Yesu yamenya ebintu bisatu bye tuteekwa okukola. Ekisooka, ‘okwefiiriza.’ Kino kitegeeza nti tulina okulekayo okwegomba kwaffe okubi, ne tugoberera okubuulirira n’obulagirizi Katonda by’atuwa. Eky’okubiri, ‘okwetikka omuti gwaffe ogw’okubonyaabonyerezebwako.’ Mu biseera bya Yesu, omuti ogw’okubonyaabonyerezebwako kaali kabonero akalaga okuswala era n’okubonyaabonyezebwa. Ng’Abakristaayo, oluusi tuyinza okubonyaabonyezebwa olw’okubuulira amawulire amalungi. (2 Timoseewo 1:8) Wadde ng’abantu bayinza okutusekerera oba okutuvuma, okufaananako Kristo, ‘tetutya kuswala,’ wabula tusigala tuli basanyufu olw’okuba tumanyi nti kye tukola kisanyusa Katonda. (Abaebbulaniya 12:2) N’ekisembayo, kwe ‘kugobereranga’ Yesu.​—Zabbuli 73:26; 119:44; 145:2.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 16:18

Ggwe Peetero, era ku lwazi luno: Ekigambo ky’Oluyonaani peʹtros kitegeeza “olwazi; ejjinja.” Wano kikozesebwa nga linnya (Peetero), erinnya ery’Oluyonaani Yesu lye yawa Simooni. (Yok 1:42) Ate ekigambo ky’Oluyonaani peʹtra ekikifaanana kivvuunulwa nti “lwazi.” Ekigambo kino eky’Oluyonaani kisangibwa ne mu Mat 7:24, 25; 27:60; Luk 6:48; 8:6; Bar 9:33; 1Ko 10:4; 1Pe 2:8. Peetero teyakitwala nti ye lwe lwazi Yesu kwe yandizimbye ekibiina kye, kuganga yawandiika mu 1Pe 2:4-8 nti Yesu lye ‘jjinja ery’omusingi ery’oku nsonda,’ eryalondebwa Katonda kennyini. Mu ngeri y’emu, omutume Pawulo yayogera ku Yesu nti gwe “musingi” era lwe “lwazi olw’eby’omwoyo.” (1Ko 3:11; 10:4) N’olwekyo,Yesu yali ategeeza nti: ‘Ggwe, Peetero, Olwazi, otegedde nti Kristo, lwe “lwazi luno,” oyo agenda okuba omusingi gw’ekibiina Ekikristaayo.’

ekibiina: Ekigambo ky’Oluyonaani ek·kle·siʹa kisooka kulabika mu lunyiriri luno. Kiva mu bigambo by’Oluyonaani bibiri, ek ekitegeeza “ebweru,” ne ka·leʹo ekitegeeza “okuyita.” Kitegeeza ekibinja ky’abantu abakuŋŋaanye awamu olw’ekigendererwa ekimu oba okukola omulimu ogumu. (Laba awannyonnyolerwa ebigambo ebimu.) Wano Yesu yalaga nti ekibiina Ekikristaayo kyali kijja kutandikibwawo, nga kirimu Abakristaayo abaafukibwako amafuta, nga ge “mayinja amalamu” era nga be bajja ‘okuzimbibwamu ennyumba ey’eby’omwoyo.’ (1Pe 2:4, 5) Ekigambo kino eky’Oluyonaani kikozesebwa emirundi mingi mu nkyusa eya Septuagint era nga kye kimu n’ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvunuulwa “ekibiina,” era ng’emirundi mingi kiba kitegeeza eggwanga lya Isirayiri. (Ma 23:3; 31:30) Mu Bikolwa 7:38, Abayisirayiri abaayitibwa okuva Emisiri boogerwako ‘ng’ekibiina.’ Mu ngeri y’emu, n’Abakristaayo “abayitibwa . . . okuva mu kizikiza” era “abalondebwa . . . okuva mu nsi ya Sitaani” be bakola “ekibiina kya Katonda.”​—1Pe 2:9; Yok 15:19; 1Ko 1:2.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 16:19

ebisumuluzo by’Obwakabaka obw’omu ggulu: Mu Bayibuli, abo abaaweebwa ebisumuluzo, ebya ddala oba mu ngeri ya kabonero, baaweebwa buyinza. (1By 9:26, 27; Is 22:20-22) N’olw’ekyo, ekigambo “kisumuluzo” kya kiikiriranga obuyinza era n’obuvunaanyizibwa. Peetero yakozesa “ebisumuluzo” ebyamuweebwa okuggulirawo Abayudaaya (Bik 2:22-41), Abasamaliya (Bik 8:14-17), n’ab’Amawanga (Bik 10:34-38) omukisa gw’okufuna omwoyo gwa Katonda basobole okuyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu.

FEBWALI 26–MAAKI 4

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 18-19

“Weewale Ebiyinza Okukuviirako Okwesittala n’Okwesittaza Abalala”

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 18:6, 7

olubengo olusikibwa endogoyi: Oba “olubengo olunene ennyo.” Obuterevu “olubengo lw’endogoyi.” Olubengo ng’olwo, oluweza nga fuuti 4 oba 5 obugazi, lwali luzitowa nnyo ng’endogoyi y’esobola okulusika.

ebyesittaza: Ekigambo ky’oluyonaani skanʹda·lon ekivvuunulwa “ekyesittaza,” kirowoozebwa okuba nga kitegeeza omutego; abamu bagamba nti kaali kati akaabanga mu mutego kwe bateeka eky’okulya. Oluvannyuma kyakozesebwanga okutegeeza ekintu kyonna ekiyinza okuleetera omuntu okwesittala oba okugwa. Mu ngeri ey’akabonero, kitegeeza ekikolwa oba embeera ereetera omuntu okugoberera ekkubo ekkyamu, okwesittala, oba okukola ekibi. Mu Mat 18:8, 9, ekigambo skan·da·liʹzo ekikifaanana, ekyavvuunulwa “okuleetera okwesittala,” era kiyinza okuvvuunulwa nti “okuba ekyambika; okuleetera omuntu okukola ekibi.”

nwtsty ebifaananyi

Olubengo

Emmengo zaakozesebwanga okusa, oba okuggya amafuta mu zzeyituuni. Ezimu zaabanga ntono ng’omuntu asobola okuzisika, naye endala zaabanga nnene nnyo ng’ensolo y’esobola okuzisika. Kirabika n’olubengo Samusooni lwe yakozesanga okusa emmere y’Abafirisuuti nalwo lwali lunene ng’ezo. (Bal 16:21) Mu Isirayiri mwokka si mwe mwabanga e mmengo ezaasikibwanga ensolo, naye ne mu bitundu ebirala mu ttwale ly’Abaruumi.

Olubengo olwa waggulu n’olwa wansi

Olubengo olunene nga luno, lwasikibwanga nsolo ezirundibwa awaka, gamba ng’endogoyi, ne lukozesebwa okusa oba okuggya amafuta mu zzeyituuni. Olubengo olwa waggulu lwabanga luweza ffuuti 5 obugazi era lwasikirwanga ku lubengo olwa wansi olwabanga lulusinga obunene.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 18:9

Ggeyeena: Ekigambo kino kiva mu bigambo eby’Olwebbulaniya geh hin·nomʹ, ebitegeeza “ekiwonvu kya Kinomu,” ekiri mu Bugwanjuba ne mu Bukiikaddyo bwa Yerusaalemi eky’edda. (Laba ebyongerezeddwako B12, mmaapu “Yerusaalemi n’Ebitundu Ebiriraanyeewo.”) Mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi, ekiwonvu ekyo kyali kifuuse ekifo ekyokerwamu kasasiro. N’olwekyo, “Ggeyeena” kigambo kya kabonero ekikiikirira okuzikirira okw’emirembe n’emirembe.

nwtstg Awannyonnyolerwa Ebigambo Ebimu

Ggeyeena

Erinnya ery’Oluyonaani ery’Ekiwonvu kya Kinomu, ekisangibwa mu bukiikaddyo bwa Yerusaalemi eky’edda. (Yer 7:31) Kyayogerwako mu bunnabbi ng’ekifo gye bandisudde emirambo. (Yer 7:32; 19:6) Tewali bukakafu bulaga nti abantu oba ensolo byasuulibwanga mu Ggeyeena ne byokebwa oba ne bibonyaabonyezebwa nga biramu. N’olwekyo, Ggeyeena si kifo ekitalabika abantu gye babonyaabonyezebwa emirembe n’emirembe mu muliro ogutazikira. Wabula, Yesu n’abayigirizwa be baakozesa ekigambo Ggeyeena nga bategeeza “okufa okw’okubiri,” kwe kugamba, okuzikirizibwa okw’emirembe n’emirembe.​—Kub 20:14; Mat 5:22; 10:28.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 18:10

babeera mu maaso ga Kitange: Oba “basobola okutuuka awali Kitange.” Olw’okuba bamalayika basobola okutuuka awali Katonda, be bokka abasobola okumulaba.​—Kuv 33:20.

w11 1/1 lup. 16

Ebitonde eby’Omwoyo Kye Biyinza Okutukolako

Yesu yakiraga nti bamalayika baweebwa obuvunaanyizibwa okuyamba abaweereza ba Katonda okukuuma enkolagana yaabwe ne Katonda nga nnywevu. Bwe kityo, Yesu bwe yali alabula abayigirizwa be obuteesittaza balala, yagamba nti: “Mukakase nti temunyooma omu ku bato bano; kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe mu ggulu bulijjo balaba amaaso ga Kitange ali mu ggulu.” (Matayo 18:10) Okwogera bw’atyo, Yesu yali tategeeza nti buli omu ku bagoberezi be alina malayika eyamuweebwa okumukuuma. Wabula, Yesu yakiraga nti bamalayika abakolera okumpi ne Katonda bafaayo nnyo ku bantu abali mu kusinza okw’amazima.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 18:22

emirundi 77: Obutereevu, “nsanvu emirundi musanvu.” Ekigambo ky’Oluyonaani kiyinza okutegeeza “70 ne 7” (emirundi 77) oba “70 emirundi 7” (emirundi 490). Mu Septuagint mu Lub 4:24, ekigambo kye kimu eky’Olwebbulaniya kivvuunulwa nti “emirundi 77.” Ka kibe nga kitegeerwa kitya, okuddiŋŋana ennamba eyo musanvu kitegeeza ekintu “eky’olubeerera” oba “ekitaliiko kkomo.” Yesu okugamba Peetero nti si mirundi 7, wabula emirundi 77, yali agamba abagoberezi be nti tebalina kussaawo kkomo ku kusonyiwa. Ku luuyi olulala, ekitabo ekiyitibwa Babylonian Talmud (Yoma 86b) kigamba nti: “Omuntu bw’akola ekibi omulundi ogusooka, ogw’okubiri, n’ogw’okusatu asonyiyibwa, ogw’okuna tasonyiyibwa.”

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 19:7

ebbaluwa eraga nti amugobye: Oba “ebbaluwa eraga nti bagattuluddwa.” Omusajja eyabanga ayagala okugattululwa ne mukazi we, yalinanga okuwandiika ebbaluwa eraga nti bagattuluddwa oboolyawo n’okwebuuza ku bakadde. Mu ngeri eyo, amateeka gaamuwanga ekiseera okusooka okulowooza nga tannasalawo ku nsonga eyo ey’amaanyi. Amateeka ago gaayambanga abantu obutayanguyiriza kugattululwa era n’okukuuma eddembe ly’abakazi. (Ma 24:1) Naye mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi, abakulembeze b’eddiini baali bakifudde kyangu nnyo okugattululwa. Munnabyafaayo Josephus eyaliwo mu kyasa ekyasooka era eyagattululwa ne mukazi we, yagamba nti okugattululwa kwali kukkirizibwa “ku nsonga yonna (era ng’abasajja be baabanga n’ensonga ezo).”

nwtsty ekifaananyi

Ebbaluwa ey’Okugattululwa

Ebbaluwa eno ey’okugattululwa ya mu myaka gwa 71 oba 72  E.E., era yawandiikibwa mu Lulamayiki. Yasangibwa mu bukiikakono bwa bw’ekitundu ekiyitibwa Wadi Murabbaat, ekitundu ekikalu omugga we gwayitanga mu Ddungu ly’e Buyudaaya. Egamba nti, mu mwaka ogw’omukaaga ng’Abayudaaya beewagudde, Joseph, mutabani wa Naqsan, eyali abeera mu kibuga Masada yagattululwa ne Miriam, muwala wa Jonathan.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share