LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwbr18 Jjanwali lup. 1-7
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2018
  • Subheadings
  • JJANWALI 1-7
Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2018
mwbr18 Jjanwali lup. 1-7

Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

JJANWALI 1-7

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 1-3

“Obwakabaka obw’Omu Ggulu Busembedde”

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 3:1, 2

okubuulira: Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “okubuulira” kitegeeza “okulangirira obubaka mu lujjudde.” Kiggumiza engeri gye bulina okulangirirwamu, kwe kugamba, okugenda ng’obuulira buli wamu, so si kwogera eri ekibinja ky’abantu.

Obwakabaka: Wano ekigambo ky’Oluyonaani ba·si·leiʹa we kisooka okulabikira, era nga kitegeeza obufuzi obw’olulyo olulangira, era n’ekitundu kye bufuga awamu n’abantu abafugibwa kabaka. Ekigambo ekyo kisangibwa mu byawandiikibwa eby’Oluyonaani emirundi 162, naye nga emirundi 55 ku gyo, kisangibwa mu njiri ya Matayo era ng’emirundi egisinga kitegeeza obufuzi bwa Katonda obw’omu ggulu. Matayo yakozesa nnyo ekigambo ekyo ne kiba nti bye yawandiika biyinza okuyitibwa Enjiri y’Obwakabaka.

Obwakabaka obw’omu ggulu: Ebigambo bino bisangibwa mu Bayibuli emirundi 30, era nga biri mu Njiri ya Matayo mwokka. Mu njiri ya Makko n’eya Lukka, ebigambo “Obwakabaka bwa Katonda” bikozesebwa okulaga nti obwakabaka obwo buli mu ggulu era nti eyo gye bufugira.​—Mat 21:43; Mak 1:15; Luk 4:43; Dan 2:44; 2Ti 4:18.

busembedde: Wano yali ategeeza nti busembedde mu ngeri nti, Omufuzi eyali ajja okufuga mu Bwakabaka obw’omu ggulu yali anaatera okulabika.

nwtsty ebifaananyi

Engeri Yokaana Omubatiza gye yayambalanga n’engeri gye yali alabikamu

Yokaana yayambalanga ekyambalo ekyakolebwa mu byoya by’eŋŋamira era yeesibanga olukoba olw’eddiba mu kiwato, ng’asobola okusonsekamu ebintu ebitonotono. Ne nnabbi Eriya yayambalanga ekyambalo ng’ekyo. (2Sk 1:8) Ebyambalo ebyakolebwanga mu byoya by’eŋŋamira tebyabanga birungi nnyo, era byayambalwanga baavu. Naye abagagga baayambalanga engoye eza siriki eŋŋonvu, era nga zirabika bulungi. (Mat 11:7-9) Olw’okuba Yokaana yali Munaziri okuva lwe yazaalibwa, enviiri ze zaali tezisalibwangako. Ennyambala ye n’engeri gye yali alabikamu byali biraga nti teyalina bintu bingi, era nti yali yeemalidde ku kuweereza Katonda.

Enzige

Ekigambo “Enzige” nga bwe kikozesebwa mu Bayibuli, kiyinza okutegeeza ebiwuka eby’ebika eby’enjawulo ebiringa amayanzi, naddala ebyo ebibuukira mu bibinja. Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa mu Yerusaalemi, enzige ez’omuddungu zirina ekiriisa kya protein, ebitundu 75 ku kikumi. Ne leero abantu bazirya, naye tebaziriirako magulu na biwaawaatiro. Bazirya nga nfumbe oba nga mbisi. Ebiwuka ebyo biwooma nnyo era birimu ekiriisa kya protein.

Omubisi gw’Enjuki

Ekifaananyi kino kiraga ekiyumba ky’enjuki (1) era n’ebisenge byakyo ebijjuddemu omubisi (2). Omubisi gw’enjuki Yokaana gwe yalyanga guyinza okuba nga gwali gwa kika ky’enjuki ekimanyiddwa nga Apis mellifera syriaca, ezaali mu kitundu gye yali abeera. Enjuki zino enkambwe ennyo, zibeera mu ddungu lya Buyudaaya awakalu ennyo ate nga waliyo ebbugumu lingi, era si nnungi kulunda. Kyokka, mu ntandikwa y’ekyasa eky’omwenda E.E.T., abantu abaali babeera mu Isirayiri baalundiranga enjuki mu biyumba bye baakolanga mu bbumba. Bingi ku biyumba ebyo ebyasigalawo byazuulibwa mu kitundu awaali ekibuga (kati ekiyitibwa Tel Rehov), ekisangibwa mu kiwonvu kya Yoludaani. Omubisi gw’enjuki ogwavanga mu biyumba bino gwali gwa kika ky’enjuki ezirowoozebwa okuba nga zaggibwa mu kitundu kati awali Butuluuki.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 1:3

Tamali: Y’asooka ku bakyala abataano abali mu lunyiriri lwa Masiya olusangibwa mu Njiri ya Matayo. Abalala abana be bano: Lakabu ne Luusi, nga bombi tebaali Bayudaaya (luny. 5); Basu-seba, “muka Uliya” (luny. 6); ne Maliyamu (luny. 16). Kirabika abakyala bano baateekebwa mu lunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu olwandibaddemu abasajja bokka, kubanga buli omu ku bo alina ekintu eky’enjawulo ekimwogerwako ku ngeri gye yafuukamu jjajja wa Yesu.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 3:11

kubabatiza: Oba “kubannyika.” Ekigambo ky’Oluyonaani ba·ptiʹzo kitegeeza “okunnyika.” Awalala we kiragibwa mu Bayibuli walaga nti okubatiza kuba kunnyikira ddala omuntu mu mazzi. Lumu, Yokaana yabatiriza abantu mu kifo kimu mu Kiwonvu Yoludaani okumpi n’e Salimu “kubanga waaliwo amazzi mangi.” (Yok 3:23) Firipo bwe yali agenda okubatiza Omwesiyopiya omulaawe, bombi “bakka mu mazzi.” (Bik 8:38) Ekigambo ekyo eky’Oluyonaani era kikozesebwa mu nkyusa ya Bayibuli eya Septuagint mu 2Sk 5:14 nga bannyonnyola nti Naaman “yennyika mu Yoludaani emirundi musanvu.”

JJANWALI 8-14

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 4-5

“Bye Tuyiga mu Kuyigiriza kwa Yesu okw’Oku Lusozi”

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 5:3

Balina essanyu: Eno teba mbeera ya kusanyukamu busanyusi, ng’omuntu bw’awulira nga yeesanyusaamu. Wabula, y’engeri omuntu gy’awuliramu olw’okuba asiimibwa Katonda era ng’alina enkolagana ennungi naye. Ebigambo ebyo era bikozesebwa ku Katonda era ne ku Yesu mu kitiibwa kye eky’omu ggulu.​—1Ti 1:11; 6:15.

abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo: Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “abamanyi obwetaavu,” obutereevu, “abaavu (abali mu bwetaavu; abasabiriza),” kitegeeza abo abalina obwetaavu era nga bamanyi obwetaavu bwabwe. Ekigambo kye kimu kikozesebwa ne ku Laazaalo eyali “asabiriza” ayogerwako mu Lukka 16:20, 22. Ebigambo by’Oluyonaani ebivvuunulwa nti “abaavu mu mwoyo” mu kyusa za Bayibuli ezimu, bitegeeza abantu abawulira nti beetaaga Katonda.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 5:7

abasaasira abalala: Bayibuli bw’eba eyogera ku “abo abasaasira” oba ku “busaasizi” tekikoma ku kusonyiwa kwokka oba obutasalira balala musango. Ebiseera ebisinga kiba kitegeeza okufaayo ku balala n’okubalumirirwa, ekireetera omuntu okubaako ky’akolawo okuyamba oyo ali mu bwetaavu.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 5:9

abaleetawo emirembe: Tekitegeeza abo bokka abakuuma emirembe, wabula n’abo abaleetawo emirembe we gitabadde.

w07 12/1 lup. 12

Yigiriza Omwana Wo Okubeera ow’Emirembe

Abazadde Abakristaayo bafaayo nnyo okuyigiriza abaana baabwe ‘okunoonyanga emirembe n’okugigobereranga.’ (1 Peetero 3:11) Olw’okuba essanyu eriva mu kuba ow’emirembe lingi nnyo twandikoze buli ekisoboka okwewala obuteesiga balala, obusungu, n’obukyayi.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 4:9

ovunnama n’onsinza: Ekigambo ky’Oluyonaani ekiyinza okuvvuunulwa nti “okusinza” kiraga ekintu ekibaawo okumala akaseera katono. Sitaani bwe yagamba Yesu nti “singa ovunnama n’onsinza” kiraga nti yali tagamba Yesu kumusinzanga buli kiseera; yali ayagala ‘amusinze’ omulundi gumu gwokka.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 4:23

okuyigiriza . . . okubuulira: Okuyigiriza kya njawulo ku kubuulira mu ngeri nti oyo ayigiriza takoma ku kubuulira bubuulizi, wabula awa obulagirizi, annyonnyola, ayogera mu ngeri esikiriza, era awa obukakafu.

JJANWALI 15-21

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 6-7

“Musooke Munoonyenga Obwakabaka”

bhs lup. 178 ¶12

Enkizo ey’Okusaba

12 Biki bye tusaanidde okukulembeza mu ssaala zaffe? Tusaanidde okukulembeza Yakuwa n’ebyo by’ayagala. Ate era tusaanidde okumwebaza okuviira ddala ku ntobo y’emitima gyaffe olw’ebyo byonna by’atukolera. (1 Ebyomumirembe 29:10-13) Essaala Yesu gye yayigiriza abagoberezi be etuyamba okutegeera obulungi ensonga eyo. (Soma Matayo 6:9-13.) Yagamba tusooke tusabe nti erinnya lya Katonda litukuzibwe. Ate era yatugamba tusabe Obwakabaka bwa Katonda bujje ne by’ayagala bikolebwe mu nsi yonna. Yesu yalaga nti bwe tumala okusaba ebintu ebyo ebikulu ennyo, awo tuba tusobola okusaba bye twetaaga. Bwe tukulembeza Yakuwa n’ebyo by’ayagala mu ssaala zaffe, kiba kiraga ekyo kye tusinga okutwala ng’ekikulu.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 6:24

muddu: Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa nti ‘muddu’ kitegeeza okukola ng’omuddu, kwe kugamba, omuntu okuba ng’alina mukama we omu yekka. Yesu yali ategeeza nti Omukristaayo tasobola kuba nga yeemalidde ku Katonda, ate mu kiseera kye kimu, n’aba nga yeemalidde ku kunoonya bya bugagga.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 6:33

Munoonyenga: Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa nti “munoonyenga,” kitegeeza okweyongera okunoonya. Abagoberezi ba Yesu ab’amazima bandibadde tebanoonya Bwakabaka okumala akaseera, ate oluvannyuma ne balekera awo okubunoonya ne badda ku bintu ebirala. Wabula, bwe bandibadde bakulembeza mu bulamu bwabwe.

Obwakabaka: Ebiwandiiko ebimu eby’Oluyonaani eby’edda bisoma nti “Obwakabaka bwa Katonda.”

bwe: Yesu yali ategeeza Katonda, kwe kugamba, “Kitaffe ali mu ggulu” ayogerwako mu Mat 6:32.

obutuukirivu: Abo abanoonya obutuukirivu bakola Katonda by’ayagala awatali kuwalirizibwa era ne banywerera ku mitindo gye egikwata ku kituufu n’ekikyamu. Enjigiriza eno eyawukana nnyo ku y’Abafalisaayo, abaali beetereddewo emitindo egyabwe egikwata ku butuukirivu.​—Mat 5:20.

w16.07 lup. 12 ¶18

Noonya Bwakabaka, So Si Bintu

Soma Matayo 6:33. Ffenna abayigirizwa ba Yesu tulina okukulembezanga Obwakabaka mu bulamu bwaffe. Bwe tukola tutyo, Yesu yagamba nti, ‘ebirala byonna biritwongerwako.’ Lwaki yagamba bw’atyo? Mu lunyiriri olwa 32 Yesu yagamba nti: “Kitammwe ali mu ggulu amanyi nti ebintu ebyo byonna mubyetaaga.” Yakuwa amanya ebintu bye twetaaga, gamba ng’emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula, nga ffe tetunnaba na kumanya nti tubyetaaga. (Baf. 4:19) Aba amanyi olugoye lwaffe oluba lugenda okuddako okukaddiwa. Amanyi emmere omubiri gwaffe gye gwetaaga era n’aw’okusula wenkana wa we twetaaga okusinziira ku bungi bw’abantu abali mu maka gaffe. Yakuwa ajja kukakasa nti ddala tufuna bye twetaaga.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w14 5/15 lup. 14-15 ¶14-16

Bw’Oba Obuulira, Fuba Okuyisa Abalala nga Bwe Wandyagadde Bakuyise

Kuba akafaananyi ng’omuntu gw’otomanyi akukubidde essimu era n’akubuuza emmere gy’osinga okuwoomerwa. Oyinza okutandika okwebuuza: Omuntu ono y’ani era ayagala ki? Olw’okwagala okwoleka obuntu bulamu, oyinza okweyongera okwogera naye, kyokka mu ngeri emu oba endala n’okiraga nti oyagala okukomya emboozi. Ku luuyi olulala, singa omuntu oyo asooka n’akubuulira ebimukwatako, n’akutegeeza nti akolera mu kitongole ky’eby’obulamu, era n’akugamba nti alina obubaka obukulu bw’ayagala okukubuulira, ekyo kiyinza okukuleetera okwagala okumuwuliriza. Ekyo kiri kityo kubanga ebiseera ebisinga twagala nnyo omuntu atatwekweekerera ng’ayogera naffe. Okumanya ekyo, kiyinza kitya okutuyamba nga tubuulira?

Bwe tuba tubuulira kiba kirungi okuyamba omuntu okutegeera obulungi ensonga eba etututte mu maka ge. Kyo kituufu nti obubaka bwe tutwalira abantu bukulu nnyo era babwetaaga. Naye watya singa tetweyanjulira muntu ate ne tutandika okwogera naye nga tumubuuza ekibuuzo nga kino: “Singa obadde osobola okumalawo ebizibu byonna ebiri mu nsi, kizibu ki kye wandisoose okuggyawo?” Tubuuza ekibuuzo ng’ekyo nga twagala okumanya endowooza omuntu gy’alina era nga twagala okukozesa Bayibuli okumuyamba okuyiga amazima. Kyokka, omuntu gwe twogera naye ayinza okutandika okwebuuza: ‘Omuntu ono y’ani, era lwaki ambuuzizza ekibuuzo kino? Ali ku ki?’ Tetwagala kuteeka bantu ku bunkenke. (Baf. 2:3, 4) Ekyo tuyinza tutya okukyewala?

Omulabirizi omu akyalira ebibiina atera okukozesa enkola eno. Oluvannyuma lw’okulamusa omuntu, amukwasa tulakiti Wandyagadde Okumanya Amazima? era n’amugamba nti: “Leero tuzze nga tugabira abantu ab’omu kitundu kino akapapula kano. Kaddamu ebibuuzo mukaaga abantu bangi bye batera okwebuuza. Kano ke kako.” Ow’oluganda oyo agamba nti abantu bwe bategeera obulungi ensonga eba emututte mu maka gaabwe, emirundi egisinga baba beetegefu okumuwuliriza. Oluvannyuma ow’oluganda oyo abuuza omuntu nti: “Wali weebuuzizzaako ekimu ku bibuuzo bino?” Omuntu bw’abaako ekibuuzo ky’alonze, ow’oluganda oyo abikkula tulakiti ne bakubaganya ebirowoozo ku ekyo Bayibuli ky’eyigiriza. Kyokka omuntu bw’atabaako kibuuzo ky’alonze, ow’oluganda oyo tamuteeka ku nninga, wabula asalawo okukimulondera. Kya lwatu nti waliwo engeri nnyingi gye tuyinza okutandika okwogeramu n’abantu. Mu bitundu ebimu, abantu bayinza okukitwala obubi singa otuukira ku nsonga eba ekututte. N’olwekyo kikulu nnyo okutuukanya ennyanjula zaffe n’empisa ez’omu kitundu tusobole okusikiriza abantu okutuwuliriza.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 7:28, 29

ekibiina ky’abantu ne kiwuniikirira: Ekigambo ky’Oluyonaani ekikozesebwa wano kiyinza okunnyonnyolwa nga “okwewuunya ennyo.” Ekyo kiraga ebigambo bye byatuuka ku mitima gy’abo abaali bamuwuliriza.

olw’engeri gye yali ayigirizaamu: Ebigambo bino bitegeeza engeri Yesu gye yayigirizaamu, engeri ez’enjawulo ze yakozesa, kwe kugamba, ebyo byonna bye yayogera mu kuyigiriza kwe okw’oku lusozi.

so si ng’abawandiisi baabwe: Mu kifo ky’okujuliza enjigiriza za balabbi abantu be bassangamu ennyo ekitiibwa, ng’abawandiisi bwe baakolanga, Yesu ye yayogeranga ng’akiikiridde Yakuwa, ng’omuntu alina obuyinza, era enjigiriza ze yazeesigamyanga ku Kigambo kya Katonda.​—Yok 7:16.

JJANWALI 22-28

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 8-9

“Yesu Yali Ayagala Nnyo Abantu”

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 8:3

n’amukwatako: Okusinziira ku mateeka ga Musa, abagenge tebaalinanga kubeera mu bantu baleme okubikwasa balala. (Lev 13:45, 46; Kbl 5:1-4) Kyokka, abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baayongerako amateeka amalala. Ng’ekyokulabirako, baayongerako nti tewali n’omu eyali akkirizibwa kusemberera mugenge okuggyako ng’amwesudde ebbanga lya mita 1.8 (ffuuti 6). Naye empewo bwe yabanga ekunta, baalina okuba nga bamwesudde ebbanga lya mita 45 (ffuuti 150). Amateeka ago gaaleetera abantu okuyisa obubi abagenge. Kigambibwa nti waliwo labbi eyeekweka abagenge, n’omulala eyabakasukira amayinja baleme kumusemberera. Okwawukana ku abo, Yesu yalumirirwa nnyo omugenge n’atuuka n’okumukwatako, ekintu Abayudaaya abalala kye baali batayinza na kulowoozaako. Yamukwatako, wadde nga yali asobola okumuwonya ng’ayogedde bwogezi kigambo.​—Mat 8:5-12.

Njagala: Yesu teyakkiriza bukkiriza mugenge kye yamusaba naye yalaga nti yali ayagala nnyo okukikola, bw’atyo n’alaga nti yali takikola kutuusa butuusa mukolo.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 9:10

ng’alya: Oba “ng’ali ku mmeeza.” Okulya n’omuntu ku mmeeza kiraga nti waliwo enkolagana wakati wammwe. N’olwekyo, Abayudaaya ab’omu kiseera kya Yesu baali tebayinza kuliira ku mmeeza emu n’abantu abataali Bayudaaya.

abasolooza omusolo: Abayudaaya bangi baasoloolezanga ab’obuyinza Abaruumi omusolo. Abantu bangi baali tebaagalira ddala Bayudaaya abo kubanga bakolagananga n’abafuzi abagwira be baali batayagalira ddala, era nga babaggyako omusolo ogwali gusukka ku ogwo ogwagerekebwa. Abayudaaya beewalanga Bayudaaya bannaabwe abaasoloozanga omusolo, era nga babatwala ng’aboonoonyi oba bamalaaya.​—Mat 11:19; 21:32.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 9:36

n’abasaasira: Ekigambo ky’Oluyonaani splag·khniʹzo·mai ekivvuunulwa ng’okusaasira kikwataganyizibwa n’ekigambo “ebyenda” (splagʹkhna), ekiraga enneewulira ey’omunda ddala. Kye kimu ku bigambo by’Oluyonaani ebisinga okuggyayo enneewulira ey’okusaasira.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w02 9/1 lup. 8 ¶16

“Mbateereddewo Ekyokulabirako”

Mu ngeri y’emu, omujaasi omu oboolyawo nga yali na Munnaggwanga Omuruumi, bwe yatuukirira Yesu n’amusaba okuwonya omuddu we, Yesu yamanya nti omujaasi oyo yalina ebibi bye yali akoze. Omujaasi omukulu mu biseera ebyo, yandibadde yenyigiddeko mu bikolwa bingi eby’obukambwe n’okuyiwa omusaayi, ssaako n’okusinza okukyamu. Kyokka, Omusajja oyo Yesu yamulabamu ekirungi, kwe kugamba, okukkiriza okw’amaanyi. (Matayo 8:5-13) Ate oluvannyuma, Yesu bwe yali ayogera n’omumenyi w’amateeka eyali awanikiddwa ku muti okumpi naye, Yesu teyamuvumirira olw’ebikolwa ebibi bye yali akoze emabega naye yamuzzaamu amaanyi ng’amuwa essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso. (Lukka 23:43) Yesu yakitegeera bulungi nti singa yavumirira abantu, kyandibamazeemu bumazi maanyi. Awatali kubuusabuusa, olw’okuba Yesu yafuba okunoonya engeri ennungi mu balala, kyayamba bangi okulongoosa empisa zaabwe.

jy lup. 70 ¶6

Lwaki Abayigirizwa ba Yesu Tebasiiba?

Yesu ayamba abayigirizwa ba Yokaana okukitegeera nti tewali asaanidde kulowooza nti abagoberezi ba Yesu bajja kukola ebintu ebitakyetaagisa ebikolebwa mu ddiini y’Ekiyudaaya, gamba ng’okusiiba. Teyajja kukuba biraka okusinza Yakuwa kwatakyasiima era okunaatera okuggibwawo. Engeri Yesu gy’ayagala abantu basinzeemu Yakuwa eyawukanira ddala ku kusinza kw’Abayudaaya abaliwo okujjudde obulombolombo bw’abantu. Yesu tagezaako kutunga kiwero kipya ku kyambalo ekikadde oba okuteeka omwenge omusu mu nsawo y’eddiba enkadde era eyakakanyala.

JJANWALI 29–FEBWALI 4

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 10-11

“Yesu Yazzangamu Abalala Amaanyi”

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 10:29, 30

enkazaluggya: Ekigambo ky’Oluyonaani strou·thiʹon kitegeeza akanyonyi konna akatono, naye okusingira ddala kikwataganyizibwa n’enkazaluggya, akanyonyi akaali kasingayo okugula sente entono ku binyonyi byonna ebyatundibwanga nga bya kulya.

ssente emu ey’omuwendo omutono ennyo: Obut., “assaliyoni,” nga gwe musaala omuntu gwe yafunanga ng’akoledde eddakiika 45. (Laba Ebyong. B14.) Ku mulundi guno, Yesu bwe yali azzeeyo mu Ggaliraaya omulundi ogw’okusatu, yagamba nti enkazaluggya bbiri zaali zigula assaliyoni emu. Ate ku mulundi omulala bwe yali abuulira mu Buyudaaya nga wayiseewo omwaka nga gumu, Yesu yagamba nti enkazaluggya ttaano zaali zigula ssente ezikubisaamu ezo emirundi ebiri. (Luk 12:6) Bwe tugeraageranya emiwendo egyo, tuyiga nti enkazaluggya tezaali za muwendo nnyo eri abasuubuzi, ne kiba nti ey’okutaano baagiwanga omuntu ng’ennyongeza.

n’omuwendo gw’enviiri eziri ku mitwe gyammwe gumanyiddwa: Kigambibwa nti omutwe gw’omuntu guliko eviiri ezisukka mu 100,000. Yakuwa okuba ng’amanyi n’omuwendo gw’enviiri eziri ku mutwe gw’omuntu, kiraga nti afaayo nnyo ku buli mugoberezi wa Kristo.

nwtsty ekifaananyi

Enkazaluggya

Enkazaluggya ke kanyonyi akaali kasinga okugula ssente entono ku binyonyi ebyatundibwanga nga bya kulya. Enkazaluggya bbiri zaali zisobola okugulibwa ssente omuntu ze yasasulwanga oluvannyuma lw’okukolera eddakiika 45. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “enkazaluggya” kizingiramu obunyonyi obutono obw’ebika eby’enjawulo, nga mw’otwalidde n’enkazaluggya ezitera okubeera mu luggya (Passer domesticus biblicus) era n’ezo ezisangibwa mu Sipeyini (Passer hispaniolensis), ezikyali ennyingi mu Isirayiri.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 11:28

abazitoowereddwa: Abo Yesu be yayita okujja gy’ali baali “bazitoowereddwa” olw’okweraliikirira era n’okutegana. Okusinza Yakuwa kwali kubafuukidde omugugu olw’obulombolombo bw’abantu obwali bugattiddwa ku Mateeka ga Musa. (Mat 23:4) Ne Ssabbiiti eyateekebwawo okuba ensibuko y’essanyu, yali efuuse mugugu.​—Kuv 23:12; Mak 2:23-28; Luk 6:1-11.

nnaabawummuza: Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “okuwummula,” kiyinza okutegeeza okuwummula olw’obukoowu (Mat 26:45; Mak 6:31) era n’okuggibwako ebikuzitoowerera osobole okufuna obuweerero era n’okuddamu amaanyi (2Ko 7:13; Fir 7). Naye okwetikka “ekikoligo” kya Yesu kizingiramu (Mat 11:29) okuweereza, so si kuwummula buwummuzi. Ekigambo ky’Oluyonaani bwe kikozesebwa ku Yesu kiba kitegeeza okuzzaamu amaanyi omuntu azitoowereddwa n’aba ng’asobola okwetikka ekikoligo kya Yesu ekitazitowa era ekyangu okusitula.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 11:29

Mwetikke ekikoligo kyange: Yesu yakozesa “ekikoligo” mu ngeri ey’akabonero ng’ategeeza okugondera obukulembeze n’okugoberera obulagirizi. Bwe kiba nti Yesu yali ategeeza ekikoligo ekyasitulibwanga abantu ababiri, ng’ekyo Katonda kye yamutikka, ekyo kiba kitegeeza nti yali agamba abagoberezi be beetikkire wamu naye ekikoligo kye, era yandibayambye. Mu ngeri eyo, ebigambo ebyo byandibadde bivvuunulwa nti: “Mujje wansi w’ekikoligo kyange.” Naye bwe kiba nti ekikoligo Yesu kye yayogerako kyekyo ye kennyini ky’atikka abagoberezi be, awo nno aba atugamba kumugondera, n’okugoberera obulagirizi bwe.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

jy lup. 96 ¶2-3

Yokaana Ayagala Yesu Amukakase Obanga Ye Masiya

Ekibuuzo ekyo kyanditwewuunyisizza? Yokaana musajja mwesigwa, era emyaka ng’ebiri emabega bwe yali abatiza Yesu yalaba omwoyo gwa Katonda nga gukka ku Yesu era n’awulira nga Katonda asiima Yesu. Tetusobola kugamba nti okukkiriza kwa Yokaana kukendedde. Singa kibadde kityo, Yesu teyandimutenderezza nga bw’akola kati. Naye bwe kiba nti Yokaana taliimu kubuusabuusa, lwaki abuuza ekibuuzo ekyo?

Yokaana ayinza okuba ng’ayagala bwagazi kufuna bukakafu okuva eri Yesu kennyini obulaga nti ye Masiya. Ekyo kyandizzizzaamu nnyo Yokaana amaanyi ng’ali mu kkomera. Ate era ekibuuzo kya Yokaana kiyinza okuba nga kirina amakulu amalala. Yokaana amanyi bulungi obunnabbi bwa Bayibuli obulaga nti Masiya yandibadde kabaka era mununuzi. Kyokka, emyezi egiwerako giyiseewo bukya Yesu abatizibwa, naye Yokaana akyali mu kkomera. Bwe kityo, Yokaana yeebuuza obanga waliwo omulala agenda okujja, adde mu bigere bya Yesu, atuukirize mu bujjuvu ebyo byonna ebyayogerwa ku Masiya.

jy lup. 98 ¶1-2

Zisanze Omulembe Omukakanyavu

Yesu assa ekitiibwa mu Yokaana Omubatiza, naye abantu abasinga obungi batwala batya Yokaana? Yesu agamba nti: “Abantu b’omulembe guno nnaabageraageranya ku ani? Balinga abaana abato abatuula mu katale ne bakoowoola bannaabwe, nga babagamba nti, ‘Twabafuuyira endere ne mutazina; twakuba ebiwoobe, ne mutanakuwala.’”​—Matayo 11:16, 17.

Kiki Yesu ky’ategeeza? Agamba nti: “Yokaana yajja nga talya era nga tanywa, naye abantu ne bagamba nti, ‘Aliko dayimooni.’ Omwana w’omuntu yajja ng’alya era ng’anywa, naye abantu ne bagamba nti: ‘Laba! Omusajja ow’omululu era omutamiivu, mukwano gw’abasolooza omusolo n’aboonoonyi.’” (Matayo 11:18, 19) Yokaana abadde musajja Munaziri, nga tanywa mwenge, naye abantu ne bagamba nti aliko dayimooni. (Okubala 6:2, 3; Lukka 1:15) Kyokka ate Yesu akola ebintu ebimu abantu aba bulijjo bye bakola. Alya era anywa mu ngeri esaana, naye abantu bagamba nti wa mululu. Kirabika tekisoboka kusanyusa bantu abo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share