LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 10 lup. 28-lup. 29 kat. 7
  • Yesu ne Bazadde Be Bagenda e Yerusaalemi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu ne Bazadde Be Bagenda e Yerusaalemi
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Similar Material
  • Yesu ng’Akyali Muto
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Yesu Omuto mu Yeekaalu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Yesu Yayiga Okubeera Omuwulize
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Yesu Yali Muwulize Nnyo
    Yigiriza Abaana Bo
See More
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 10 lup. 28-lup. 29 kat. 7
Yesu nga wa myaka 12 ng’ali mu yeekaalu ng’abuuza ebibuuzo abayigiriza Abayudaaya

ESSUULA 10

Yesu ne Bazadde Be Bagenda e Yerusaalemi

LUKKA 2:40-52

  • YESU ABUUZA ABAYIGIRIZA EBIBUUZO NGA WA MYAKA EKKUMI N’EBIRI

  • YESU AYITA YAKUWA ‘KITAAWE’

Ekiseera kituuse ab’omu maka ga Yusufu, mikwano gyabwe, awamu n’ab’eŋŋanda zaabwe okugenda e Yerusaalemi nga bwe bakola buli mwaka. Bagenda Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako ng’Amateeka bwe galagira. (Ekyamateeka 16:16) Okuva e Nazaaleesi okutuuka e Yerusaalemi waliwo olugendo lwa mayiro nga 75. Ekiseera kino kibaamu eby’okukola bingi, era buli omu akyesunga. Mu kiseera kino Yesu alina emyaka 12, era naye yeesunga nnyo okugenda ku mbaga eyo n’okufuna akakisa okuddamu okubeerako okumpi ne yeekaalu.

Eri Yesu n’ab’ewaabwe, embaga ey’Okuyitako tejja kuba ya lunaku lumu lwokka. Oluvannyuma lw’embaga ey’Okuyitako, olunaku oluddako y’eba entandikwa y’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, emala ennaku omusanvu. (Makko 14:1) Ekiseera eky’okukwatiramu embaga eyo nakyo kitwalibwa ng’ekiseera eky’embaga ey’Okuyitako. Okuva e Nazaaleesi okugenda e Yerusaalemi, okubeera e Yerusaalemi ku mbaga, n’okuddayo e Nazaaleesi byonna bitwala ebbanga lya wiiki nga bbiri. Naye omwaka guno, olugendo lubatwalira ebbanga erisingako, olw’ekyo ekibaawo nga bava e Yerusaalemi baddayo e Nazaaleesi.

EŊŊENDO EZ’ESSANYU

Yesu ne bazadde be ne baganda be nga bagenda e Yerusaalemi

Buli omu yasanyukanga nnyo okugenda e Yerusaalemi ku mbaga ezaabeerangayo emirundi esatu buli mwaka. (Ekyamateeka 16:15) Mu ŋŋendo ezo, Yesu yalabanga ebitundu eby’enjawulo, yayiganga ku bintu ebitali bimu, era yasisinkananga abaweereza ba Yakuwa abaavanga mu bitundu ebirala. Eŋŋendo ezo nga ziteekwa okuba nga zaamusanyusanga nnyo!

Nga baddayo e Nazaaleesi, Yusufu ne Maliyamu balowooza nti Yesu ali awamu n’ab’eŋŋanda oba ab’emikwano be batambula nabo. Naye bwe baatuuka we bagenda okusula, bakizuula nti Yesu tali nabo. Batandika okumunoonya mu mikwano gyabwe naye ne batamulaba. Yusufu ne Maliyamu baddayo e Yerusaalemi okumunoonya.

Bamunoonya olunaku lulamba naye ne batamulaba. Era bamunoonya ne ku lunaku oluddako naye ne batamulaba. Naye ku lunaku olw’okusatu, bamusanga mu kimu ku bisenge bya yeekaalu ng’awuliriza abayigiriza Abayudaaya era ng’ababuuza ebibuuzo. Abayigiriza beewuunya nnyo amagezi g’alina.

Yusufu ne Maliyamu nga bazudde Yesu

Maliyamu abuuza Yesu nti: “Mwana wange, lwaki otuyisizza bw’oti? Nze ne kitaawo tukunoonyezza buli wantu.”​—Lukka 2:48.

Yesu yeewuunya nnyo okuba nti babadde tebamanyi w’ali. Ababuuza nti: “Lwaki mubadde munnoonya? Mubadde temumanyi nti nnina kubeera mu nnyumba ya Kitange?”​—Lukka 2:49.

Oluvannyuma Yusufu ne Maliyamu baddayo naye e Nazaaleesi era Yesu yeeyongera okubagondera. Yeeyongera okukula n’okufuna amagezi era ayagalibwa nnyo Katonda n’abantu. Okuviira ddala ng’akyali muto, Yesu assaawo ekyokulabirako ekirungi mu kukulembeza eby’omwoyo n’okugondera bazadde be.

  • Yesu ne bazadde be bagenda wa buli mwaka, era lwaki?

  • Nga Yesu wa myaka 12, kiki ekibaawo nga Yusufu ne Maliyamu bava e Yerusaalemi, era kiki kye bakola?

  • Kiki abavubuka leero kye bayigira ku Yesu?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share