EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 22-23
Gondera Amateeka Abiri Agasinga Obukulu
Ng’osinziira ku Matayo 22:36-39, wandiika ennamba ku nsonga zino wammanga ezikuleetera okugenda mu nkuŋŋaana, ng’otandika n’ensonga esinga obukulu:
Okuzzibwamu amaanyi
Okuzzaamu abalala amaanyi
Okusinza Yakuwa n’okulaga nti omwagala
Lwaki twandifubye okugenda mu nkuŋŋaana wadde nga tukooye nnyo era nga tuwulira nti tetujja kuganyulwa?
Ngeri ki endala ze tusobola okulagamu nti tugondera amateeka abiri agasinga obukulu?