Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
MAAKI 5-11
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 20-21
“Buli Ayagala Okuba Omukulu mu Mmwe Ateekeddwa Okubeera Omuweereza Wammwe”
nwtsty ekifaananyi
Akatale
Obutale obumu, gamba ng’akalabibwa mu kifaananyi kino, bwabeeranga ku mabbali g’ekkubo. Abasuubuzi baateekanga eby’amaguzi bingi ku kkubo ng’abantu kibazibuwalira okuyitawo. Abantu baagulanga ebintu by’awaka, ebibya, ebirime, n’ebintu ebirala eby’ebbeeyi. Olw’okuba tewaaliwo firiigi, abantu baalinanga okugenda mu katale buli lunaku okugula eby’okulya. Abantu baafunanga amawulire okuva ku basuubuzi oba abagenyi abaabanga bazze mu katale, abaana baazannyirangamu, era n’abataalina mirimu baabeeranga omwo nga balinda abanaabawa emirimu. Yesu yawonya abalwadde mu katale, era ne Pawulo yabuulirangamu. (Bik 17:17) Ku luuyi olulala, abawandiisi n’Abafalisaayo bo baagendanga mu bifo nga bino eby’olukale nga baagala abantu babalabe era babalamuse.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 20:20, 21
maama wa batabani ba Zebedaayo: Ono yali maama w’abatume Yakobo ne Yokaana. Okusinziira ku Njiri ya Makko, Yakobo ne Yokaana be baatuukirira Yesu. Kirabika bo bennyini be baali baagala ebifo ebyo, naye baayitira mu maama waabwe Saalome, era nga Saalome ayinza okuba nga yali maama wa Yesu omuto.—Mat 27:55, 56; Mak 15:40, 41; Yok 19:25.
omu ku mukono gwo ogwa ddyo ate omulala ku gwa kkono: Ebifo bino byombi bikiikirira ekitiibwa n’obuyinza, naye ekifo eky’oku mukono ogwa ddyo kye kisinga okuba eky’ekitiibwa.—Zab 110:1; Bik 7:55, 56; Bar 8:34.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 20:26
omuweereza: Bayibuli etera okukozesa ekigambo ky’Oluyonaani, di·aʹko·nos okutegeeza omuntu aweereza balala. Ekigambo ekyo kikozesebwa ku Yesu (Bar 15:8), abaweereza ba Yesu (1Ko 3:5-7; Bak 1:23), abaweereza mu kibiina (Baf 1:1; 1Ti 3:8), abakozi b’awaka (Yok 2:5, 9), n’abakungu ba gavumenti (Bar 13:4).
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 21:9
Tukusaba olokole: Obut., “Ozanna.” Ekigambo kino eky’Oluyonaani kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza, “tukusaba olokole,” oba “tukwegayiridde, mulokole.” Ekigambo kino kikozesebwa wano okutegeeza okwegayirira Katonda okufuna obulokozi, oba obuwanguzi; kisobola okuvvuunulwa nti, “tukwegayiridde, muwe obulokozi.” Oluvannyuma kyatandika okukosebwa mu kusaba ne mu kutendereza Katonda. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyo kisangibwa mu Zb 118:25, eyali emu ku Zabbuli ezaayimbibwa mu kiseera ky’embaga y’Okuyitako. Ekigambo ekyo kyasinganga kujjukirwa mu biseera ng’ebyo. Engeri emu Katonda gye yalokolamu Omwana wa Dawudi, kwe kumuzuukiza. Mu Mat 21:42, Yesu ajuliza Zb 118:22, 23 era n’alaga nti ebigambo ebiri mu Zabbuli eyo byali bikwata ku ye.
Omwana wa Dawudi: Ebigambo ebyo biraga olunyiriri Yesu mwe yava era nti ye Masiya eyasuubizibwa.
Akozesa Omuti gw’Omutiini Okuyigiriza Ebikwata ku Kukkiriza
Naye lwaki Yesu yaleetedde omuti ogwo okukala? Ebyo by’ayogera biraga ensonga lwaki. Agamba nti: “Mazima mbagamba nti bwe muba n’okukkiriza era nga temubuusabuusa, temujja kukoma ku kukola ekyo kye nkoze omutiini, naye era ne bwe mugamba olusozi luno nti, ‘Siguukulukuka ogwe mu nnyanja,’ bwe kityo bwe kijja okuba. Era ebintu byonna bye musaba nga mulina okukkiriza mujja kubifuna.” (Matayo 21:21, 22) Nga bwe yakola emabega, Yesu azzeemu okwogera ku ky’okuba nti okukkiriza kusobola okusiguukulula olusozi.—Matayo 17:20.
Mu kuleetera omuti ogwo okukala, Yesu akiraga nti kikulu nnyo okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Katonda. Agamba nti: “Ebintu byonna bye musaba, mube n’okukkiriza nti mubifunye, era mulibifuna.” (Makko 11:24) Ng’ekyo kya kuyiga kikulu nnyo eri abagoberezi ba Yesu bonna! Ekyo kikulu nnyo, nnaddala eri abatume ba Yesu okuva bwe kiri nti banaatera okwolekagana n’okugezesebwa okw’amaanyi ennyo. Kyokka waliwo eky’okuyiga ekirala ekiri mu ky’okuba nti Yesu yaleetedde omutiini okukala.
Okufaananako omutiini ogwo, eggwanga lya Isirayiri liwa ekifaananyi ekitali kituufu. Abantu b’eggwanga eryo Katonda yakola nabo endagaano, era kungulu balabika ng’abakwata Amateeka ga Katonda. Kyokka okutwalira awamu, abantu b’eggwanga eryo bakiraze nti tebalina kukkiriza era nti tebabala bibala. Batuuse n’okugaana okukkiriza Omwana wa Katonda kennyini! N’olwekyo, mu kuleetera omutiini ogutabala bibala okukala, Yesu alaga ekyo ekijja okutuuka ku ggwanga eryo eritabala bibala era eritalina kukkiriza.
MAAKI 12-18
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 22-23
“Gondera Amateeka Abiri Agasinga Obukulu”
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 22:37
omutima: Ekigambo kino bwe kikozesebwa mu ngeri ey’akabonero, kitegeeza ekyo kyonna omuntu ky’ali munda. Naye bwe kikozesebwa awamu n’ebigambo “obulamu n’amagezi,” kiba kitegeeza enneewulira y’omuntu ne by’ayagala. Ebigambo ebisatu ebikozesebwa wano (omutima, obulamu, n’amagezi) si bya njawulo, wabula bigendera wamu; bikozesebwa wamu okukiggumiza nti tulina okwagalira ddala Katonda nga tetwerekaamu.
obulamu: Oba “omuntu ky’ali yenna.”
amagezi: Kwe kugamba, obusobozi bw’okutegeera. Omuntu alina okukozesa obusobozi bwe obw’okutegeera, okusobola okumanya Katonda n’okumwagala. (Yok 17:3; Bar 12:1) Ebigambo Yesu bye yajuliza ebiri mu Ma 6:5, mulimu ebigambo by’Olwebbulaniya bisatu, ‘omutima, obulamu, n’amaanyi.’ Naye okusinziira ku Njiri ya Matayo, ekigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza “amagezi” kye kyakozesebwa mu kifo ky’ekigambo “amaanyi.” Waliwo ensonga ezitali zimu lwaki ebigambo ebyo eby’enjawulo byakozesebwa. Esooka eri nti, wadde nga mu Lwebbuniya olw’edda temwalimu kigambo kyennyini ekitegeeza “amagezi,” amakulu gaakyo gaagibwangayo mu kigambo ekitegeeza “omutima.” Ekigambo kino bwe kikozesebwa mu ngeri ey’akabonero, kiba kitegeeza ekyo kyonna omuntu ky’ali munda, nga mw’otwalidde endowooza ye, enneewulira ye, n’ebiruubirirwa bye. (Ma 29:4; Zb 26:2; 64:6; laba awannyonnyolerwa ekigambo omutima ekiri mu lunyiriri luno.) Olw’ensonga eyo, mu byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya we bakozesa ekigambo “omutima,” yo Septuagint ey’Oluyonaani ekozesa ekigambo “amagezi.” (Lub 8:21; 17:17; Nge 2:10; Is 14:13) Ensonga endala lwaki Matayo ayinza okuba nga yakozesa ekigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza “amagezi” mu kifo ky’ekigambo “amaanyi” ng’ajuliza ebyo ebiri mu Ma 6:5 eri nti, ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “amaanyi” kisobola okutegeeza amaanyi ag’omubiri oba obusobozi bw’okutegeera. K’ebeere nsonga ki, abawandiisi b’Enjiri tebaakozesa bigambo bye bimu nga bajuliza ebyo ebiri mu Ekyamateeka, kubanga ebigambo bye baakozesa bitegeeza kye kimu.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 22:39
Ery’okubiri: Mu Mat 22:37, Yesu addamu butereevu ekibuuzo ky’Omufalisaayo, naye ayongera n’ajuliza etteeka ery’okubiri (Lev 19:18), okulaga nti amateeka ago gombi gagendera wamu era nti amateeka amalala gonna n’ebyo bannabbi bye baawandiika biwumbibwawumbibwako mu mateeka ago abiri.—Mat 22:40.
muliraanwa: Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “muliraanwa” (obut., “oyo akuli okumpi”) tekitegeeza oyo yekka akubeera okumpi. Kisobola okutegeeza omuntu omulala yenna.—Luk 10:29-37; Bar 13:8-10.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 22:40
Amateeka . . . ne Bannabbi: “Amateeka” bye bitabo bya Bayibuli okuva ku Olubereberye okutuuka ku Ekyamateeka. “Bannabbi” bye bitabo by’Obunnabbi ebiri mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Naye ebigambo bino bwe bikozesebwa awamu, biyinza okutegeeza Ebyawandiikibwa byonna eby’Olwebbulaniya.—Mat 7:12; 22:40; Luk 16:16.
kwe byesigamye: Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa nti “kwe byesigamye,” obutereevu kisobola okuvvuunulwa nti “kwe biwanikiddwa.” Bwe kityo Yesu yali ategeeza nti Amateeka Ekkumi awamu n’Ebyawandiikibwa byonna eby’Olwebbulaniya byesigamye ku kwagala.—Bar 13:9.
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 22:21
ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali: Ebigambo bya Yesu bino n’ebyo ebiri mu Mak 12:17 ne mu Luk 20:25, bye bigambo byokka ebyawandiikibwa Yesu bye yayogera ku empula wa Rooma. “Ebya Kayisaali” bizingiramu okusasulira ebintu byonna gavumenti bye zikola, awamu n’okugondera ab’obuyinza era n’okubawa ekitiibwa ekibasaanira.—Bar 13:1-7.
ebya Katonda mubiwe Katonda: Bino bizingiramu okusinza Katonda yekka, okumwagala n’okumutima gwaffe gwonna, okumwemalirako, n’okumugondera.—Mat 4:10; 22:37, 38; Bik 5:29; Bar 14:8.
nwtsty awannyonnyolorwa ebiri mu Mat 23:24
musengejja akabu mu bye munywa naye ne mumira eŋŋamira: Akabu ke kawuka akaali kasingayo obutono, ate eŋŋamira y’emu ku nsolo ezaali zisinga obunene ku bitonde ebitaali birongoofu Abayisirayiri bye baali bamanyi. (Lev 11:4, 21-24) Yesu yakozesa ebigambo ebyo okutegeeza nti abakulembeze b’eddiini baali basengejja bye banywa ne bajjamu akabu baleme kufuuka batali balongoofu, kyokka ate ne batafaayo ku bintu ebisinga obukulu mu mateeka, ekiringa okumira eŋŋamira.
MAAKI 19-25
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 24
“Sigala ng’Otunula mu by’Omwoyo mu Nnaku Zino ez’Enkomerero”
it-2 lup. 279 ¶6
Okwagala
Okwagala kw’Omuntu Kusobola Okuwola. Yesu bwe yali abuulira abayigirizwa be ebintu ebyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso, yalaga nti okwagala (a·gaʹpe) kw’abantu abasinga obungi abagamba nti bakkiririza mu Katonda kwandiddiridde. (Mat 24:3, 12) Omutume Pawulo bwe yayogera ku kamu ku bubonero obwandiraze nti tuli mu nnaku ez’enkomerero, yagamba nti, abantu bandibadde “baagala nnyo ssente.” (2Ti 3:1, 2) Ekyo kiraga nti omuntu asobola okulekera awo okweyisa mu ngeri esaana, era n’okwagala kwe yalina kusobola okukendeera. N’olwekyo kikulu nnyo omuntu okweyongera okukulaakulanya okwagala ng’afumiitiriza ku Kigambo kya Katonda era ng’atambuliza obulamu bwe ku mitindo gye egy’empisa.—Bef 4:15, 22-24.
w99 11/15 lup. 19 ¶5
Otuukiriza Obuvunaanyizibwa Bwo Bwonna eri Katonda?
Yesu Kristo yayogera bw’ati ku biseera byaffe ebizibu: “Ng’ennaku za Nuuwa bwe zaali, n’okubeerawo kw’Omwana w’omuntu bwe kutyo bwe kuliba. Kubanga mu nnaku ezo ng’Amataba tegannajja, abantu baali balya, nga banywa, nga bawasa, era nga bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, era ne batafaayo okutuusa Amataba lwe gajja ne gabasaanyaawo bonna. N’okubeerawo kw’Omwana w’omuntu bwe kutyo bwe kuliba.” (Matayo 24:37-39) Bwe bikolebwa ku kigero ekisaanira, tewaliwo kikyamu kyonna mu kulya n’okunywa, era Katonda ye yatandikawo enteekateeka y’obufumbo. (Olubereberye 2:20-24) Kyokka, singa tukitegeera nti bye tuluubirira mu bulamu bifuuse ekintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwaffe, lwaki ensonga eyo tetugiteeka mu kusaba? Yakuwa asobola okutuyamba okukulembeza Obwakabaka, okukola ekituufu, n’okutuukiriza obweyamo bwaffe.—Matayo 6:33; Abaruumi 12:12; 2 Abakkolinso 13:7.
Abatume Bamusaba Ababuulire Akabonero
Yesu akiraga nti abayigirizwa be kijja kubeetaagisa okuba obulindaala, okusigala nga batunula, n’okuba abeetegefu. Bwe kityo, Yesu akkaatiriza ensonga eyo ng’agamba nti: “Mumanye kino: Singa nnyini nnyumba yamanya ekiseera omubbi kye yandijjiddemu, yandisigadde atunula n’ataganya nnyumba ye kumenyebwa. N’olw’ensonga eyo, nammwe mubeerenga beetegefu kubanga Omwana w’omuntu ajjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.”—Matayo 24:43, 44.
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 24:8
obuyinike: Ekigambo ky’Oluyonaani bwe kivvuunulwa obutereevu, kitegeeza okulumwa ebisa by’okuzaala. Wadde nga wano kikozesebwa okutegeeza obulumi n’okubonaabona okutwalira awamu, era kiyinza okutegeeza nti okufaananako okulumwa ebisa eby’okuzaala, ebizibu n’okubonaabona bijja kugenda byeyongera ng’ekibonyoobonyo ekinene ekyogerwako mu Mat 24:21 tekinnatandika.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 24:20
mu biseera eby’obutiti: Enkuba ennyingi, amataba, n’obunnyogovu ebibaawo mu kiseera nga kino bikifuula kizibu okutambula, okufuna eky’okulya, n’aw’okusula.—Ezr 10:9, 13.
ku Ssabbiiti: Mu bitundu nga Buyudaaya, amateeka ga Ssabbiiti gaakifuulanga kizibu omuntu okutambula eŋŋendo empanvu n’okusitula emigugu. Ate era enzigi z’ekibuga zaabeeranga nzigale ku lunaku lwa Ssabbiiti.—Laba Bik 1:12 ne Ebyong. B12.
MAAKI 26–APULI 1
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 25
“Mubeere Bulindaala”
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Weeyongere Okuwagira Baganda ba Kristo
Leero, tutegeera bulungi amakulu g’olugero olukwata ku ndiga n’embuzi. “Omwana w’omuntu” ye Kabaka Yesu. “Baganda” ba Yesu be basajja n’abakazi abaafukibwako amafuta, abajja okufugira awamu naye mu ggulu. (Bar. 8:16, 17) ‘Endiga n’embuzi,’ zikiikirira abantu ab’amawanga gonna. Bano tebaafukibwako mwoyo mutukuvu. Kati ate okulamula abantu nti ndiga oba nti mbuzi kubaawo ddi? Okulamula okwo kujja kubaawo ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okuggwaako. Ate kiki ekinaasinziirwako okulamula abantu nti ndiga oba nti mbuzi? Ekyo kijja kusinziira ku ngeri gye bayisaamu baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta nga bakyali ku nsi. Ng’enkomerero y’ensi eno egenda yeeyongera okusembera, nga kitusanyusa nnyo okuba nti Yakuwa atuyambye okwongera okutegeera amakulu g’olugero olwo awamu n’amakulu g’engero za Yesu endala eziri mu Matayo essuula 24 ne 25!
‘Muli Mikwano Gyange’
Bw’oba olina essuubi ery’okubeera ku nsi ng’efugibwa Obwakabaka bwa Katonda, oyinza otya okulaga baganda ba Kristo omukwano? Ka tulabeyo engeri ssatu. Esooka, weenyigire mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira. Kristo yalagira baganda be okubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna. (Mat. 24:14) Kyokka, baganda ba Kristo abasigaddewo ku nsi leero bandizibuwaliddwa nnyo okwetikka obuvunaanyizibwa obwo nga tebayambiddwako mikwano gyabwe ab’endiga endala. Mu butuufu, buli ab’endiga endala lwe beenyigira mu mulimu gw’okubuulira, baba bayamba baganda ba Kristo okutuukiriza obuweereza bwabwe obwo obutukuvu. Omuddu omwesigwa era ow’amagezi asiima nnyo abo bonna abamulaga omukwano mu ngeri eno, era ne Kristo bw’atyo.
Engeri ey’okubiri ab’endiga endala gye basobola okuyambamu baganda ba Kristo kwe kuwaayo ssente okuwagira omulimu gw’okubuulira. Yesu yakubiriza abagoberezi be okukola emikwano nga bakozesa “eby’obugagga ebitali bya butuukirivu.” (Luk. 16:9) Kino tekitegeeza nti tusobola okugula omukwano gwa Yesu oba ogwa Yakuwa. Naye bwe tukozesa ebintu bye tulina okuwagira omulimu gw’Obwakabaka, tuba tulaga omukwano gwaffe n’okwagala kwaffe “mu bikolwa ne mu mazima,” so si mu bigambo mwokka. (1 Yok. 3:16-18) Tukozesa ssente nga twenyigira mu mulimu gw’okubuulira, tuwaayo ssente okuwagira omulimu gw’okuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe mwe tusinziza, era tuwaayo ssente okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. Ka tube nga tuwaayo kitono oba kinene, Yakuwa ne Yesu basiima bwe tuwaayo n’essanyu.—2 Kol. 9:7.
Engeri ey’okusatu ffenna gye tulagamu nti tuli mikwano gya Kristo kwe kugoberera obulagirizi bw’abakadde mu kibiina. Abasajja bano balondebwa omwoyo omutukuvu wansi w’obulagirizi bwa Kristo. (Bef. 5:23) Omutume Pawulo yawandiika nti: “Muwulirenga abo ababakulembera era mubagonderenga.” (Beb. 13:17) Ebiseera ebimu kiyinza obutatwanguyira kugoberera bulagirizi obuva mu Bayibuli obutuweebwa abakadde. Tuyinza okusambajja bye batubuulirira olw’okuba tumanyi obunafu bwabwe. Naye tukijjukire nti Kristo, Omutwe gw’ekibiina, yasalawo okukozesa abasajja bano abatatuukiridde. N’olwekyo, engeri gye tutwalamu obulagirizi bwe batuwa erina kinene ky’ekola ku mukwano gwaffe ne Kristo. Bwe tukolera ku bulagirizi bwe batuwa mu kifo ky’okutunuulira ensobi zaabwe, tuba tulaga nti twagala Kristo.