LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zabbuli 118
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okwebaza olw’obuwanguzi bwa Yakuwa

        • ‘Nnakoowoola Ya, n’annyanukula’ (5)

        • “Yakuwa ali ku ludda lwange” (6, 7)

        • Ejjinja eryagaanibwa lifuuse ejjinga ekkulu ery’oku nsonda (22)

        • “Oyo ajjira mu linnya lya Yakuwa” (26)

Zabbuli 118:1

Marginal References

  • +Mat 19:17

Zabbuli 118:5

Footnotes

  • *

    “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.

  • *

    Oba, “mu kifo ekigazi.”

Marginal References

  • +Zb 18:19

Zabbuli 118:6

Marginal References

  • +Zb 27:1
  • +Is 51:12; Bar 8:31; Beb 13:6

Zabbuli 118:7

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “awamu n’abo abannyamba.”

Marginal References

  • +Mat 26:52, 53
  • +Zb 54:7

Zabbuli 118:8

Marginal References

  • +Zb 40:4; 146:3, 4; Yer 17:5

Zabbuli 118:9

Marginal References

  • +Ezk 29:6, 7

Zabbuli 118:10

Marginal References

  • +2By 20:15, 17

Zabbuli 118:12

Marginal References

  • +2By 14:11

Zabbuli 118:13

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “Wansindika.”

Zabbuli 118:14

Marginal References

  • +Kuv 15:2; Zb 18:2; Is 12:2

Zabbuli 118:15

Footnotes

  • *

    Oba, “n’ery’obuwanguzi.”

Marginal References

  • +Zb 89:13; Is 63:12

Zabbuli 118:16

Marginal References

  • +Kuv 15:6; Is 40:26

Zabbuli 118:17

Marginal References

  • +Zb 6:5; 71:17

Zabbuli 118:18

Marginal References

  • +Zb 66:10; 94:12
  • +Zb 16:10

Zabbuli 118:19

Marginal References

  • +Is 26:2; Kub 22:14

Zabbuli 118:20

Marginal References

  • +Zb 24:3, 4

Zabbuli 118:21

Marginal References

  • +Zb 116:1

Zabbuli 118:22

Footnotes

  • *

    Obut., “omutwe gw’ensonda.”

Marginal References

  • +Is 28:16; Luk 20:17; Bik 4:11; 1Ko 3:11; Bef 2:19, 20; 1Pe 2:4-7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    6/2018, lup. 32

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2017, lup. 9-10

    Yesu—Ekkubo, lup. 247

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2011, lup. 12-13

    8/1/2000, lup. 14

    1/1/1992, lup. 9

Zabbuli 118:23

Marginal References

  • +Bik 5:31
  • +Mak 12:10, 11

Zabbuli 118:24

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1991, lup. 9

Zabbuli 118:25

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2017, lup. 9

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1991, lup. 9

Zabbuli 118:26

Marginal References

  • +Mat 21:7-9; 23:39; Mak 11:7-10; Luk 19:37, 38

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2017, lup. 9

    Yesu—Ekkubo, lup. 254

Zabbuli 118:27

Marginal References

  • +Zb 18:28; 1Pe 2:9
  • +Lev 23:34; Zb 42:4
  • +Kuv 27:2

Zabbuli 118:28

Marginal References

  • +Kuv 15:2; Is 25:1

Zabbuli 118:29

Marginal References

  • +Zb 50:23
  • +Ezr 3:11; Zb 118:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2002, lup. 11

General

Zab. 118:1Mat 19:17
Zab. 118:5Zb 18:19
Zab. 118:6Zb 27:1
Zab. 118:6Is 51:12; Bar 8:31; Beb 13:6
Zab. 118:7Mat 26:52, 53
Zab. 118:7Zb 54:7
Zab. 118:8Zb 40:4; 146:3, 4; Yer 17:5
Zab. 118:9Ezk 29:6, 7
Zab. 118:102By 20:15, 17
Zab. 118:122By 14:11
Zab. 118:14Kuv 15:2; Zb 18:2; Is 12:2
Zab. 118:15Zb 89:13; Is 63:12
Zab. 118:16Kuv 15:6; Is 40:26
Zab. 118:17Zb 6:5; 71:17
Zab. 118:18Zb 66:10; 94:12
Zab. 118:18Zb 16:10
Zab. 118:19Is 26:2; Kub 22:14
Zab. 118:20Zb 24:3, 4
Zab. 118:21Zb 116:1
Zab. 118:22Is 28:16; Luk 20:17; Bik 4:11; 1Ko 3:11; Bef 2:19, 20; 1Pe 2:4-7
Zab. 118:23Bik 5:31
Zab. 118:23Mak 12:10, 11
Zab. 118:26Mat 21:7-9; 23:39; Mak 11:7-10; Luk 19:37, 38
Zab. 118:27Zb 18:28; 1Pe 2:9
Zab. 118:27Lev 23:34; Zb 42:4
Zab. 118:27Kuv 27:2
Zab. 118:28Kuv 15:2; Is 25:1
Zab. 118:29Zb 50:23
Zab. 118:29Ezr 3:11; Zb 118:1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Zabbuli 118:1-29

Zabbuli

118 Mwebaze Yakuwa, kubanga mulungi;+

Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.

 2 Isirayiri kaakano k’egambe nti:

“Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.”

 3 Ab’ennyumba ya Alooni kaakano ka bagambe nti:

“Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.”

 4 Abo abatya Yakuwa kaakano ka bagambe nti:

“Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.”

 5 Bwe nnali mu nnaku nnakoowoola Ya;*

Ya n’annyanukula n’antwala mu kifo omutali kabi.*+

 6 Yakuwa ali ku ludda lwange; siityenga.+

Omuntu ayinza kunkola ki?+

 7 Yakuwa ali ku ludda lwange era annyamba;*+

Abo abatanjagala nja kubatunuulira n’amaaso agooleka obuwanguzi.+

 8 Kirungi okufuula Yakuwa ekiddukiro kyaffe

Okusinga okwesiga abantu.+

 9 Kirungi okufuula Yakuwa ekiddukiro kyaffe

Okusinga okwesiga abafuzi.+

10 Amawanga gonna ganneetooloola,

Naye mu linnya lya Yakuwa

Nnagasindika eri.+

11 Ganneetooloola, weewaawo ganneetooloolera ddala.

Naye mu linnya lya Yakuwa,

Nnagasindika eri.

12 Ganneetooloola ng’enjuki,

Naye gaazikizibwa mangu ng’omuliro ogukoleezeddwa mu maggwa.

Mu linnya lya Yakuwa,

Nnagasindika eri.+

13 Bansindika* n’amaanyi ngwe wansi,

Naye Yakuwa n’annyamba.

14 Ya kye kiddukiro kyange era ge maanyi gange,

Era afuuse obulokozi bwange.+

15 Eddoboozi ly’okusanyuka n’ery’obulokozi*

Liri mu weema z’abatuukirivu.

Omukono gwa Yakuwa ogwa ddyo gwoleka amaanyi gaagwo.+

16 Omukono gwa Yakuwa ogwa ddyo gwegulumiza;

Omukono gwa Yakuwa ogwa ddyo gwoleka amaanyi gaagwo.+

17 Sijja kufa, nja kusigala nga ndi mulamu,

Nsobole okulangirira ebyo Ya by’akola.+

18 Ya yankangavvula nnyo,+

Naye teyampaayo eri okufa.+

19 Munzigulirewo enzigi ez’obutuukirivu;+

Nja kuyingira ntendereze Ya.

20 Guno gwe mulyango gwa Yakuwa.

Omutuukirivu ajja kuyita omwo ayingire.+

21 Nja kukutendereza kubanga wannyanukula+

Era n’ofuuka obulokozi bwange.

22 Ejjinja abazimbi lye baagaana

Lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.*+

23 Kino Yakuwa y’akikoze,+

Era kitwewuunyisa nnyo.+

24 Luno lwe lunaku Yakuwa lw’ataddewo;

Era ku lunaku luno tujja kusanyuka era tujaguze.

25 Ai Yakuwa, tukwegayiridde tulokole!

Ai Yakuwa tuyambe tuwangule!

26 Aweereddwa omukisa oyo ajjira mu linnya lya Yakuwa;+

Tubawa omukisa nga tusinziira mu nnyumba ya Yakuwa.

27 Yakuwa ye Katonda;

Atuwa ekitangaala.+

Mwegatte ku kibinja ky’abo abagenda okukwata embaga nga mukutte amatabi g’emiti,+

Okutuukira ddala ku mayembe g’ekyoto.+

28 Ggwe Katonda wange, nja kukutenderezanga;

Katonda wange, nja kukugulumizanga.+

29 Mwebaze Yakuwa,+ kubanga mulungi;

Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share