OLUYIMBA 86
Twetaaga Okuyigirizibwa
Printed Edition
	- 1. Mujje n’essanyu, muyige ku Yakuwa; - ’Mazzi g’obulamu muganywenga. - Eby’okuyiga, ye y’abituwa. - Abayala bonna bakkusibwa. 
- 2. Tukuŋŋaanenga ’watali kuddirira, - Tuyigirizibwe ebigwana. - Nga tuli wamu n’ab’oluganda, - Ka tunywezebwenga mu mazima. 
- 3. Nga kizzaamu amaanyi okuwulira - Ebyogerwa ’bantu ba Katonda! - Tubenga nabo obutayosa; - Tubenga nabo buli kiseera. 
(Laba ne Beb. 10:24, 25; Kub. 22:17.)