ESSUULA 17
Ayigiriza Nikodemu Ekiro
- YESU AYOGERA NE NIKODEMU 
- KYE KITEGEEZA ‘OKUZAALIBWA OMULUNDI OGW’OKUBIRI’ 
Yesu ng’ali mu Yerusaalemi mu kiseera eky’embaga ey’Okuyitako ey’omwaka gwa 30 E.E., akola ebyamagero, era abantu bangi bamukkiririzaamu. Nikodemu, Omufalisaayo era omu ku abo abali ku Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya akwatibwako nnyo. Olw’okuba ayagala okuyiga ebisingawo, ajja eri Yesu ekiro, oboolyawo olw’okutya nti abakulembeze b’Abayudaaya bwe banaamulaba enkolagana ye nabo eyinza okwonooneka.
Nikodemu agamba Yesu nti “Labbi, tumanyi nti wava eri Katonda ng’omuyigiriza, kubanga tewali muntu ayinza kukola byamagero bino by’okola okuggyako nga Katonda ali naye.” Yesu agamba Nikodemu nti okusobola okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda, omuntu alina ‘okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri.’—Yokaana 3:2, 3.
Naye, omuntu ayinza atya okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri? Nikodemu abuuza Yesu nti: “Omuntu . . . ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogw’okubiri n’azaalibwa?”—Yokaana 3:4.
Nedda, ekyo si kye kitegeeza okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Yesu amunnyonnyola nti: “Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa amazzi n’omwoyo, tayinza kuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda.” (Yokaana 3:5) Yesu bwe yabatizibwa era omwoyo omutukuvu ne gumukkako, mu ngeri eyo yali azaaliddwa “amazzi n’omwoyo.” Era mu kiseera ekyo, eddoboozi okuva mu ggulu lyagamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsiima.” (Matayo 3:16, 17) Mu ngeri eyo, Katonda yalangirira nti Yesu yali afuuse omwana we ow’omwoyo, era ng’asobola okuyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Oluvannyuma, ku Pentekooti ey’omwaka gwa 33 E.E., omwoyo omutukuvu gujja kufukibwa ku bantu abalala ababatize, nabo babe nga bazaaliddwa omulundi ogw’okubiri oba nga bazaaliddwa omwoyo ng’abaana ba Katonda.—Ebikolwa 2:1-4.
Nikodemu kimuzibuwalira okutegeera ebyo Yesu by’amuyigiriza ebikwata ku Bwakabaka. N’olwekyo, Yesu yeeyongera okumunnyonnyola ekifo eky’enjawulo ky’alina ng’Omwana wa Katonda. Amugamba nti: “Nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, n’Omwana w’omuntu ateekwa okuwanikibwa, buli muntu yenna amukkiririzaamu afune obulamu obutaggwaawo.”—Yokaana 3:14, 15.
Edda ennyo, Abayisirayiri abaali balumiddwa emisota egy’obusagwa baalina okutunula ku musota ogw’ekikomo basobole okuwona. (Okubala 21:9) Mu ngeri y’emu, abantu bonna balina okukkiririza mu Mwana wa Katonda basobole okulokolebwa okuva mu kufa era bafune obulamu obutaggwaawo. Okusobola okulaga nti Yakuwa ye yakola enteekateeka eyo, Yesu agamba Nikodemu nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Bwe kityo, ng’ali mu Yerusaalemi era nga wayiseewo emyezi nga mukaaga okuva lwe yatandika obuweereza bwe, Yesu akiraga kaati nti ye kkubo abantu mwe balina okuyitira okufuna obulokozi.
Yesu agamba Nikodemu nti: “Katonda teyatuma Mwana we ku nsi kugisalira musango.” Ekyo kitegeeza nti teyamutuma kusalira bantu musango gwa kuzikirizibwa. Wabula yatumibwa “ensi esobole okulokolebwa okuyitira mu ye.”—Yokaana 3:17.
Jjukira nti Nikodemu azze eri Yesu ekiro olw’okuba atidde abantu. N’olwekyo Yesu afundikira ng’amugamba nti: “Ekisinziirwako okusala omusango kye kino nti ekitangaala [nga kino kitegeeza Yesu; engeri gye yeeyisaamu n’ebyo by’ayigiriza] kizze mu nsi naye abantu baagadde ekizikiza mu kifo ky’ekitangaala, kubanga ebikolwa byabwe bibi. Kubanga oyo akola ebintu ebibi akyawa ekitangaala era tajja eri kitangaala, ebikolwa bye bireme okuvumirirwa. Naye oyo akola eby’amazima ajja eri ekitangaala, ebikolwa bye biryoke birabike nga bituukagana n’ebyo Katonda by’ayagala.”—Yokaana 3:19-21.
Kati kiri eri Nikodemu, Omufalisaayo era omusomesa mu Isirayiri, okufumiitiriza ku ebyo by’awulidde ebikwata ku kifo Yesu ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda.