YIGIRIZA ABAANA BO
Peetero ne Ananiya Baalimba—Kiki Kye Tuyigamu?
Okulimba kwe kwogera ekintu ky’omanyi nti si kituufu. Wali olimbyeko?—a N’abantu abamu abakulu abaagala Katonda baali balimbyeko. Oyinza okuba ng’olina abantu b’omanyi aboogerwako mu Bayibuli abaalimba. Omu ku bo ye Peetero, eyali omu ku batume ba Yesu 12. Ka tulabe ensonga lwaki yalimba.
Yesu bw’amala okukwatibwa, atwalibwa mu maka ga kabona omukulu. Ekiseera kya matumbi budde. Peetero atuuka mu luggya lwa kabona omukulu nga teri n’omu amutegedde. Bw’asembera awali omuliro, omuwala akola ewa kabona omukulu amutegeera, era amugamba nti: “Naawe obadde ne Yesu.” Olw’okutya, Peetero agamba nti tabadde naye.
Bayibuli egamba nti oluvannyuma “omuwala omulala n’amulaba,” n’agamba nti: “Omusajja ono yabadde ne Yesu.” Peetero addamu okwegaana. Oluvannyuma lw’akaseera katono, abalala bagenda Peetero w’ali ne bamugamba nti: “Mazima ddala oli omu ku bo.”
Olw’okutya okungi, Peetero alimba omulundi ogw’okusatu ng’agamba nti: “Omuntu oyo simumanyi!” Enkoko ekookolima. Yesu atunuulira Peetero, era Peetero ajjukira Yesu kye yamugambye nti: “Enkoko eneeba tennakookolima, ojja kunneegaana emirundi esatu.” Peetero atulika n’akaaba. Yejjusa olw’ekyo ky’akoze!
Ekintu ng’ekyo kiyinza okukutuukako?— Oyinza okuba ng’oli ku ssomero, abaana ne batandika okwogera ku Bajulirwa ba Yakuwa. Omu ku bo n’agamba nti: “Tebakuza nnaku za mazaalibwa.” Omulala n’agattako nti: “Tebayimba luyimba lwa ggwanga.” Oba okyali awo omulala n’agamba nti: “Tebakkiririza mu Yesu, kubanga tebakuza Ssekukkulu.” Oluvannyuma omu ku bo n’akubuuza nti, “Toli Mujulirwa wa Yakuwa?” Onoomuddamu otya?—
Kikwetaagisa okweteekateeka nga bukyali osobole okuddamu obulungi ng’embeera ng’eyo ezzeewo. Peetero yali teyeeteeseteese. Bwe yapikirizibwa, yalimba! Naye, yeenenya era Katonda yamusonyiwa.
Ananiya ye Mukristaayo omulala eyalimba. Naye ye Katonda teyamusonyiwa, era teyasonyiwa ne mukyala we ayitibwa Safira. Safira yateesa n’omwami we ne balimba. Ka tulabe ensonga lwaki Katonda teyabasonyiwa.
Oluvannyuma lw’ennaku kkumi nga Yesu amaze okuddayo mu ggulu, abantu nga 3,000 babatizibwa mu Yerusaalemi. Abantu bangi bavudde mu nsi ez’ewala okujja ku mbaga ya Pentekooti, era oluvannyuma lw’okufuuka abayigirizwa ba Yesu baagala okusigala ebbanga eriwerako bongere okuyiga ebikwata ku Katonda. N’olwekyo abamu ku bayigirizwa ba Yesu bakozesa ssente zaabwe okulabirira abantu abo.
Ananiya ne mukyala we batunda ebimu ku bintu byabwe basobole okufuna ssente ezinaayamba abantu abaali baakabatizibwa. Ananiya bw’aleeta ssente eri abatume, abagamba nti aleese ssente zonna ezivudde mu bintu bye batunze. Naye alimba! Ssente ezimu azisigazza! Katonda asobozesa Peetero okumanya nti Ananiya alimba, era Peetero amugamba nti: “Tolimbye bantu wabula olimbye Katonda.” Amangu ago, Ananiya agwa wansi n’afa! Oluvannyuma lw’essaawa nga ssatu, mukyala we naye ajja. Nga tategedde kituuse ku mwami we, naye alimba era agwa wansi n’afa.
Kiki kye tuyigamu? Kikulu nnyo okwogera amazima buli kiseera! Kyokka, ffenna tusobola okukola ensobi, naddala bwe tuba tukyali bato. Tekikusanyusa okukimanya nti Yakuwa akwagala era nti ajja kukusonyiwa nga bwe yasonyiwa Peetero?—Naye kijjukire nti twetaaga okwogera amazima. Kyokka singa tulimba, tusaanidde okwegayirira ennyo Katonda atusonyiwe. Peetero ateekwa okuba ng’ekyo kyennyini kye yakola, era Katonda yamusonyiwa. Bwe tufuba obutaddamu kulimba, naffe Katonda ajja kutusonyiwa!
Soma mu Bayibuli yo
a Bw’oba osoma n’omwana, siriikiriramu awali akasittale omuleke awe endowooza ye.